Jump to content

Charles Olaro

Bisangiddwa ku Wikipedia

  

Charles Olaro
Omuntu Kyusa Wikidata
Ekikulamusajja Kyusa Wikidata
Ensi y’o­bu­tuu­zeUganda Kyusa Wikidata
Erinnya eri­wee­redd­waCharles Kyusa Wikidata
Gy'a­zaal­waNgora Kyusa Wikidata
Ennimi z'amanyiLungereza Kyusa Wikidata
Omulimusurgeon Kyusa Wikidata

Charles Olaro Munnayuganda omusawo omukulu omukugu mu kulongoosa, mu by’obulamu mu bantu, era nga ye Dayirekita w’ebyobulamu mu Minisitule y’ebyobulamu mu Uganda.[1][2][3]

Obuto n'okusoma kwe

[kyusa | kolera mu edit source]

Olaro yazaalibwa mu Disitulikiti y’e Ngora mu Uganda. Yasomera ku Ngora Primary School nga tanaba kwegatta ku Manjasi High School mu 1982 okusoma siniya eyokuna. Yasoma siniya eyomukaaga ku ssomero lya Namilyango College, era ne yewandiisa mu yunivasite e Makerere okusoma obusawo mu 1988.[4]

Olaro yatikkirwa diguli mu by’obusawo n'okulongoosa (MBChB) okuva mu yunivasite y’e Makerere mu 1994. Oluvannyuma yaddayo ku yunivasite y’e Makerere mu 1996 n’atendekebwa eby’okulongoosa n’afuna diguli eyookubiri mu by’obusawo (MMed) mu kulongoosa mu 1999. Yafuna ne diguli eyookubiri mu by’okuddukanya empeereza y’ebyobulamu ne diguli eyookubiri mu by’okuddukanya bizinensi (MBA) okuva mu kitongole ekiddukanya emirimu mu buvanjuba n’obugwanjuba bwa Afrika (ESAMI).[2][4]

Olaro yatandika omulimu gwe nga Medical Officer mu ddwaaliro lya Lacor e Gulu oluvannyuma n'akola nga Senior House Officer mu ddwaliro lya Mulago National Referral Hospital. Okuva mu Gwokuna 2001 okutuuka mu Gwomukaaga 2008, yali Medical Superintendent era Consultant Surgeon mu Arua Regional Referral Hospital nga tannafuuka Medical Superintendent mu Fort Portal Regional Referral Hospital mu Gwomusanvu 2008 okutuuka mu Gwekkumi 2010.[1][5][4][3]

Okuva mu 2010 okutuuka mu 2017, Olaro yaweereza nga Dayirekita w’eddwaliro era omusawo omukulu omukugu mu kulongoosa mu ddwaaliro lya Fort Portal Regional Referral Hospital. Mu 2017, yalondebwa okuba Dayirekita w’obuweereza mu bujjanjabi mu Minisitule y’ebyobulamu era ku nkomerero y’omwaka ogwo n’afuuka Dayirekita w’obuweereza bw’okuwonya, ekifo kye yalimu okutuusa mu 2025.[5][4][6]

Mu Gwekkuminoogumu 2024, yali akola nga dayirekita w’ebyobulamu mu Minisitule y’ebyobulamu mu Uganda nga tannafuukira ddala dayirekita w’ebyobulamu mu Gwokuttaano 2025.[1][5][4][7]

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. 1 2 3 "Dr. Charles Olaro - Ministry of Health - Uganda". Ministry of Health - Uganda (in American English). Archived from the original on 2025-11-11. Retrieved 2026-07-23.
  2. 1 2 Musenze, John (2026-04-01). "People: Dr Olaro becomes Clarke University's first Professor of Practice". New Vision. Retrieved 2026-08-10.
  3. 1 2 Muhimba, Samuel (2025-05-15). "Museveni appoints Charles Olaro as director of Health Services". Nilepost News (in Lungereza). Retrieved 2026-07-23.
  4. 1 2 3 4 5 https://endowment.mak.ac.ug/pages/standing-tall-at-the-helm-of-ugandas-health-system/
  5. 1 2 3 "Museveni names Dr. Charles Olaro health services chief". Pulse Uganda (in Lungereza). 2025-05-15. Retrieved 2026-07-23.
  6. ↑ "Liberian VP roots for home-grown solutions". Monitor (in Lungereza). 2023-02-15. Retrieved 2026-07-23.
  7. ↑ "Accurate data key for policy and development - Experts". Monitor (in Lungereza). 2025-02-03. Retrieved 2026-07-23.