Jump to content

Charles Oluka

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

Charles Oluka (yafa nga 29 gw'oluberebere 2025) yali muserikale ku ddaala lya Brigadier general[1] mu ggye lya Uganda People's Defence Force (UPDF). Yali Dayirekita w’ekitongole ky’ebyokwerinda munda mu ggwanga, okuva nga 8 Ogwekkumi 2020 okutuusa lwe yafa nga 29 ogwoluberebere 2025.[2] Nga tannakola ekyo, yaweerezaako nga Dayirekita w’obuweereza obw’ekikugu mu kitongole kino ekikessi okutuusa mu 2018.[3]

Omulimu gwe mu magye.

[kyusa | kolera mu edit source]

Nga 8 ogwekkumi 2020, omukulembeze w'eggwanga Yoweri Museveni yamulonda nga Dayirekita omukulu ow’ekitongole ekivunaanyizibwa ku by’okwerinda munda mu ggwanga.[4] Yadda mu bigere bya Colonel Kaka Bagyenda, nga bali wamu n’omumyuka we Don Mugimba, ne bawummuzibwa ku bifo byabwe.

ISO wansi wa Brig Gen Oluka era yali wankizo nnyo mu kukwata abamenyi b’amateeka abeenyigira mu bulumbaganyi bw’amasasi obwali mu kibuga Masaka ekinene ekyaleka abantu kumpi 30 nga battibwa wakati w'ogwomusaavu n'ogwomwenda 2021. Bulijjo yabeerangawo mu lutuula olwe byokwerinda buli lwe wabangawo ekikolwa ky’obumenyi bw’amateeka ekyetaaga okufuba awamu.

Omumyuka wa Oluka ye Taban Amin, omu ku batabani b’eyali pulezidenti wa Uganda Idi Amin.[2][5]

Oluka yafiira mu Kampala nga 29 ogwoluberebere 2025.[6]

Nebino bikulu.

[kyusa | kolera mu edit source]

Ensengeka y’okusikira.

[kyusa | kolera mu edit source]

Template:S-start Template:S-mil Template:S-bef Template:S-ttl Template:S-aft Template:End

Ebijuliziddwa.

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. "Museveni promotes ISO boss Charles Oluka, 395 others". observer.ug. 1 February 2024.
  2. 1 2 Asiteza, Remmy (29 January 2025). "Uganda's ISO Director Brig Gen Charles Oluka dead". Daily Express. Archived from the original on 29 January 2025. Retrieved 29 January 2025.
  3. Risdel Kasasira and Andrew Bagala (9 October 2020). "Why Museveni sacked ISO boss Kaka, deputy". Retrieved 10 October 2020.
  4. Kazibwe, Kenneth (9 October 2020). "Museveni appoints new ISO boss to replace Col.Kaka". Nilepost News (in Lungereza). Retrieved 25 May 2024.
  5. "Ex-President Idi Amin's Son Taban Named Deputy ISO Boss". Business Focus Uganda. 10 October 2020. Retrieved 10 October 2020.
  6. ISO Director General Brig Gen Charles Oluka Dead

Ebijuliziddwa wa bweru wa wikipedia.

[kyusa | kolera mu edit source]