Charles Onen
Charles Onen musaseroodoti, munnabyabufuzi munnayuganda era mmemba wa palaamenti okuva mu kitundu ky'e Gulu ey'obuvanjuba. Ono yalondeddwa mu paalamenti ng’eyeesimbawo ku ku bwa nnamunigina. [1] [2] [3] Mu paalamenti aweereza ku kakiiko k’amateeka. [4]
Omulimu
[kyusa | kolera mu edit source]Onen musaaserodooti eyaweereza ng’omukuumi owookubiri mu kkanisa ya Holy Rosary Parish Catholic Church. Yali musaseroodoti okumala emyaka munaana nga tannaba kwegatta ku byobufuzi . Omulabirizi w’essaza lye e Gulu John Baptist Odama John Baptist Odama, yamuwa ebbaluwa bbiri ez’okumulaabula alekere awo okwenyigira mu by’obufuzi nga bwe kiragirwa mu mateeka ga Kkanisa, naye Onen kigambibwa nti yagaana okuwulira okulabula kuno.. [5] Olwo Omulabirizi n’afulumya ekiragiro eky’okuyimiriza mumirimu gye ,egy’obusaserodooti nga bwe kirambikiddwa mu tteeka lya Canon 285. [6] [7] Onen yagenda mu byobufuzi ng’omuntu eyeetongodde era n’afuna okusunsulwa okwesimbawo mu kitundu ky'eBuvanjuba e Gulu t nga 15 Omwezi gwekkumi 2020. [8] Kampeyini za Onen, essira yaliteka ku bumu n’okutumbula embeera z’obulamu. Yawangula okulonda nasinga abamuvuganya bonna, omuli n’eyali asangiddwa ku ntebe. [9]
Ebijuliziddwa
[kyusa | kolera mu edit source]- ↑ "Gulu Archdiocese resolves tension between Priest, Acholi MPs over Covid-19 protest". The Independent Uganda (in American English). 2020-06-08. Retrieved 2021-09-18.
- ↑ "Priest canes parishioner in public". New Vision (in Lungereza). Retrieved 2021-09-18.
- ↑ "Onen Charles - 2021 General Election - Visible Polls". visiblepolls.org (in Lungereza). Retrieved 2023-02-09.
- ↑ URN. "Rules committee recommends minister Namuganza censure". The Observer - Uganda (in British English). Retrieved 2023-02-09.
- ↑ "Odama suspends priest over politics". Daily Monitor (in Lungereza). 12 October 2020. Retrieved 2021-09-18.
- ↑ Reporter, Independent (2020-10-08). "Rev. Fr Charles Onen suspended for indulging in politics". The Independent Uganda (in American English). Retrieved 2021-09-18.
- ↑ "Rev. Fr Charles Onen Suspended for Indulging in Politics". Uganda Radio Network (in Lungereza). Retrieved 2021-09-18.
- ↑ "Rev. Fr Charles Onen Nominated For Gulu East MP Seat, Vows Never To Give Chance To His Competitors". blizz.co.ug. Retrieved 2021-09-18.
- ↑ "Priest who defied his Bishop to become an MP". NTV Uganda (in Lungereza). 31 January 2021. Retrieved 2021-09-18.