Jump to content

Chris Akena

Bisangiddwa ku Wikipedia
Chris Akena
omuntu
Ekikulamusajja Kyusa
Yazaalibwa nga18 Gwamunaana(Muwakanya) 2002 Kyusa
Omulimuassociation football player Kyusa
Ekifo ky'azannya/ obumanyimidfielder Kyusa
Azannyira mu KiraabuGreek Super Cup, Apollon Pontou F.C., Uganda Cranes, Aspire Academy, Shabab AlAhli Dubai Club Kyusa
Omuzannyoomupiira ogw'ebigere Kyusa

Chris Pius Akena (yazaalibwa 18 Ogwomunaana 2002) Munnayuganda omuzannyi w'omupiira ogw'ekikugu era azannya nga attacking midfielder oba right winger mu kiraabu ya Spain Unión Deportiva Las Zocas ne ttiimu y'eggwanga lya Uganda.[1]

Okuzannyira kiraabu

[kyusa | kolera mu edit source]

Akena mu buvubuka bwe omupiira yagutandikira mu Proway Sports Academy mu Uganda nga tannegatta ku Aspire Academy e Qatar mu 2016. Mu 2017, y'egatta ku Maroons eya Uganda Premier League ate mu 2021 n’akola endagaano ne Shabab Al Ahli Club gye yawangulira liigi ya UAE U21 pro ne UAE youth league nga tannaba kwegatta ku UAE kiraabu y’omutendera ogwokubiri Al Rams Club mu Gwoluberyeberye 2023 n’afuuka Munnayuganda eyasooka okuzannya omupiira gwa pulofeesono mu UAE. Oluvannyuma yagenda mu maaso n’azannyira mu Bulaaya bwe yassa omukono ku ndagaano ya mwaka gumu ne kiraabu ya Buyonaani ey’omutendera ogw’okusatu Megas Alexandros Agias Marinas mu sizoni ya 2023/24 oluvannyuma ne y'egatta ku Apollon Pontus nga 31 Ogwoluberyeberye, kiraabu ey’ebyafaayo mu Super League Greece 2 sizoni yonna eya 2023–24.[2][3] Mu Gwomusanvu 2024 Akena Chris y'egatta ku Gor Mahia erina likodi ya liigi ya Kenya emirundi 21 ku ndagaano ya myaka ebiri.[4] . Oluvannyuma yeegatta ku kiraabu ya Spain eya Unión Deportiva Las Zocas mu Preferente de Tenerife, wadde nga yazannya sizoni 19 ez’omuddiring’anwa mu Primera Federación.

Okuzannyira ku ddaala ly'ensi yonna

[kyusa | kolera mu edit source]

Mu Gwekkumineebiri 2021, Akena yafuna okuyitibwa omulundi gwe ogw’olubereberye ku ttiimu y’eggwanga ey’omupiira eya Uganda eyali egenda okuzannya emipiira ebiri egy’ensi yonna egy’okwegezaamu ne Gabon wamu ne Mauritania.[5] Wabula yasooka kuzannya nga 21 Ogwoluberyeberye 2022 ne ttiimu y'eggwanga ey'omupiira eya Iraq ku kisaawe kya Al Shohada International Stadium mu kibuga Baghdad.[6][7][8]

Ebibalo ku ddaala ly’ensi yonna

[kyusa | kolera mu edit source]
Uganda
Omwaka Apps Goolo
2022. 2022 2. 2. 0.
Okugatta 2. 2. 0.

Ebibalo bituufu okuva omupiira ogwazannyibwa nga 31 Ogwokusatu 2023 [1]

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. 1 2 "Chris Akena (Player)". www.national-football-teams.com.
  2. Isabirye, David (January 16, 2023). "Chris Pius Akena: Ugandan midfielder joins top club in United Arab Emirates". Kawowo Sports.
  3. "Soccer: Chris Akena". www.soccerstand.com.
  4. "Gor Mahia sign Ugandan offensive midfielder Akena". Citizen Digital (in Lungereza). 3 July 2024. Retrieved 13 July 2024.
  5. Isabirye, David (December 27, 2021). "Uncapped Akena eager for Uganda Cranes debut after surprise call-up for UAE build ups". Kawowo Sports.
  6. Isabirye, David (January 22, 2022). "Uganda Cranes fall to Iraq in Baghdad | International Build Up". Kawowo Sports.
  7. Nsereko, Issa (January 16, 2023). "Ugandan Cranes midfielder Akena completes move to Al Rams Football Club". Nimsport Uganda.
  8. "Chris Akena (Akena C.) - Career Stats - Flashscore.com". www.flashscore.com.

Ebijuliziddwa wabweru wa wikipedia

[kyusa | kolera mu edit source]