Chrispas Kusiima
| Ekikula | musajja |
|---|---|
| Ensi y’obutuuze | Yuganda |
| Yazaalibwa nga | 10 Gwakuna(Kafuumuulampawu) 1993 |
| Omulimu | association football player |
| Azannyira mu Kiraabu | Uganda Cranes, Uganda Revenue Authority SC |
Crispas Kusiima (yazaalibwa nga 10 Ogwokuna 1993) Munnayuganda omuzannyi w'omupiira wa ow'ekikugu era azannya nga mukwasi wa ggoolo mu kiraabu ya Uganda Premier League URA . [1] [2]
Emirimu gye mu kiraabu
[kyusa | kolera mu edit source]Kiraabu y'omupiira mu Uganda Revenue Authority (URA FC)
[kyusa | kolera mu edit source]Mu mwaka gwa 2016, Kusiima yeegatta ku kiraabu y’omupiira eya Uganda Revenue Authority, wabula yalwana okufuna obudde bw’okuzannya olw’okuvuganya okw’amaanyi. Kino kyamuleetera okuva mu kiraabu eno asobole okufuna kiraabu egenda okumuwa obudde obw’okuzannya.[3] Oluvannyuma yeegatta ku kiraabu z'omupiira nga Tooro United football club mu sizoni y'omwaka gwa 2018/19,[4] Express Football club mu sizoni y'omwaka gwa 2020/21 gye yabayamba okuwangula engule ya Uganda Premier League mu mwaka gwa 2020/21, [5] [3] ne Gaddaffi football club mu sizoni y'omwaka gwa 2022/23, nga tannaba kwegatta ku Kitara football club .
Kiraabu y'omupiira eya Kitara (eya Royals) .
[kyusa | kolera mu edit source]Mu mwaka gwa 2023, Kusiima yeegatta ku kiraabu y’omupiira eya Kitara era emanyiddwa nga Royals, gye yayamba okutuuka mu bifo bitaano ebisooka mu liigi n’okuwangula ekikopo kya Stanbic Uganda ekyasooka ekyanyweza ekifo mu mpaka za CAF Confederation Cup.[3] Mu sizoni ya Uganda Premier League 2024/25, Kusiima yazannya emipiira abiri mu musanvu n'okuteeba clean sheets kkumi na mukaaga ekyamufunira engule ya Golden Glove Award.[3] Kusiima yazannyira mu mipiira nkaaga mu ebiri ng'akuuma clean sheets amakumi asatu mu bbiri okuva mu sizoni ya Uganda Premier League 2022/23, 2034/24 ne 2024/25. Obutakyukakyuka buno bwamuviirako okulondebwa mu ttiimu ya Uganda Cranes eya wano nga beetegekera empaka z'amawanga ga Afrika ez'omwaka gwa 2024 . [3]
Kiraabu y'omupiira eya Uganda Revenue Authority (URA FC)
[kyusa | kolera mu edit source]Mu Gwomusanvu 2025, Kusiima yakomawo mu URA FC, ku ndagaano y'emyaka ebiri okuva mu Kitara football club.[1][5][3]
Emirimu gye okwetooloola ensi yonna
[kyusa | kolera mu edit source]Kusiima yasooka kulondebwa ku ttiimu y’eggwanga ey’omupiira eya Uganda eyeetaba mu mpaka za CHAN 2024.[3] Empaka z'amawanga ga Africa eza 2024 zategekebwa Uganda, Kenya, ne Tanzania okuva nga 2nd okutuuka nga 30th Ogwomunaana 2025.[6]
Kiraabu y'omupiira eya Express
[kyusa | kolera mu edit source]- Ekikopo kya Uganda Premier League 2020/21.[5]
Ogwassekinnoomu
[kyusa | kolera mu edit source]- Engule ya Golden glove mu sizoni ya Uganda Premier League 2024/25.[3]
Laba ne
[kyusa | kolera mu edit source]
Ebijuliziddwa
[kyusa | kolera mu edit source]- 1 2 Kule, Edwin Kyle (2025-07-30). "URA confirm signing of goalkeeper Chrispas Kusiima". Kawowo Sports (in American English). Retrieved 2025-08-20.
- ↑ Aheebwa, Brian (2025-08-06). "URA's Kitara Raid Continues". NBS Sport (in American English). Retrieved 2025-08-20.
- 1 2 3 4 5 6 7 8 Kazibwe, Hakim (2025-07-30). "Kusiima Returns to URA After Stellar Run at Kitara". NBS Sport (in American English). Retrieved 2025-08-20. Cite error: Invalid
<ref>tag; name ":1" defined multiple times with different content. - ↑ EDITOR, SHABAN LUBEGA | PML Daily DEPUTY (2019-08-28). "Tooro United confirms list of departures ahead of 2019/20 season". PML Daily (in American English). Retrieved 2025-08-20.
- 1 2 3 Kiyonga, Ismael (2025-07-31). "Buhimba unveil first signing, URA sign Kusiima". Uganda Premier League - Official Website (in American English). Retrieved 2025-08-20.
- ↑ Marsha, Ahmed (2025-07-28). "TotalEnergies CHAN 2024: Uganda Cranes Final Squad Named". FUFA: Federation of Uganda Football Associations (in American English). Retrieved 2025-08-22.