Jump to content

Christine Akullo

Bisangiddwa ku Wikipedia

Christine Akullo (yazaalibwa 23 Omwezi ogwomukaaga 1990) munnayuganda omuddusi w'embiro z'abaliko oblemu ng'avuganyiza mu nsengeka ya T13 . Akullo yawangulira Uganda zaabu mu misinde gya mmita 100 egy'ensengeka ya T13 mu mizannyo gya All Africa Games egyali mu Maputo Mozambique mu 2011 kw’ossa ne All Africa Games eza 2015 . [1] N'era yeeyakwatira Uganda bendera mu mizannyo gya olympics w'abaliko obulemu ow'ebiseera by'omusana (Summer Paralympics) mu London . [2]

Obuvo bwe n'okusoma kwe

[kyusa | kolera mu edit source]

Akullo yazaalibwa mu Aboke, mu disitulikiti y’e Soroti, Uganda eri bazadde be Joseph Ayom ne Jennet Rose Agiro. Oluvannyuma lw’okukwatibwa omusujja gw'ensiri mu 1998, yazibamu ku maaso. [3] [2]

Wakati wa 1996 ne 2004, yafuna obuyigirize bwe obw'omutendera gwa wansi ku ssomero lya pulayimale erya Namatala Primary School mu disitulikiti y’e Mbale . Oluvannyuma yeegatta ku ssomero lya ba muzibe erya St Francis Madera School for the Blind mu Soroti mu 2006 n'amaliriza emisomo gye egy'omutendera gwa siniya ey'omukaaga ( A-Level ) mu 2011. [4] [1] Wano awaka , yaweererwa kitongole kya Child Fund International era kyategeebwa nti yali agenda kwegatta ku yunivasite y'e Makerere mu Mwezi ogwomwenda 2012 okusoma ddiguli ye esooka mu ssaayansi w'ebyemizannyo (Sports Science). [1] Omwaka 2015 wegwatuukira , Akullo yali abeera mu ggombolola y'e Morungatuny disitulikiti y'e Amuria .

Omuzannyo ogw'emisinde / ogw'embiro

[kyusa | kolera mu edit source]

Yeegatta ku ttiimu y’eggwanga mu 2007 wadde ng’ensonda endala zigamba nti yatandika omuzannyo gw'emisinde / ogw'embiro z'abaliko obulemu mu 2010 ng’ali mu Soroti . [3] Yeetaba mu mpaka za disitulikiti eza babinywera eziwerako mwe yavuganya mu mmita kikumi (100) ebikumi ebiri (200) n'ebikumi ebina (400). [1]

Okusinziira ku lupapula lw'amawulire olwa Daily Monitor , emisinde gye egy’ensi yonna egyasooka gyali mu 2010 mu mpaka za Great Lakes e Nairobi , Kenya, gye yawangula zaabu mu mmita ekikumi (100 metres), mmita ebikumi ebibiri (200 metres) , ne mmita ebikumi ebina (400 metres) . [1] Ekyo yakigobereza n'omudaali gwa zaabu mu mpaka z'abakazi ez'ensengeka ya T13 eza mmita ekikumi (100 metres) ez'akamalirizo mu mizannyo gy'Afirika egyategekebwa mu Maputo Mozambique

Mu 2015, Akullo yaddukira obutikitiki / sikonda 13.34 okuwangula omudaali gwa zaabu omulala mu mpaka z'akamalirizo ez’abakazi ez'ensengeka ya T13 100m mu mizannyo gy'Afirika egyategekebwa mu Brazzaville. [2] Oluvannyuma mu 2017, yayingira n'avuganya mu nsengeka za T13, F13 100 ne 400m mu mpaka z'ensi yonna ez'emisinde / embiro z'abaliko obulemu mu London. [5]

Oluvannyuma Akullo yakiikirira Uganda mu mpaka za 2019 ez'ensi yonna ez'abaliko obulemu mu Dubai mu mwezi ogwekkuminoogumu ogw'omwaka ogwo mweyamaliriza mu kifo ekyokutaano mu mbiro ezomulundi ogwokubiri eza T13 100m mu mpaka ezikulembera ez'akamalirizo nekiyimiriza okuyitamu kwe. [6]

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. "Knee injury fails to dash Akullo's London dream". Daily Monitor. Retrieved 2020-08-26.
  2. Vision Reporter (17 September 2015). "Akullo wins gold for Uganda at African Games". www.newvision.co.ug. Archived from the original on 2020-06-30. Retrieved 2020-08-26.
  3. "Christine Akullo – Athletics | Paralympic Athlete Profile". International Paralympic Committee. Retrieved 2020-08-26.
  4. "Para-athletes in Addis Ababa for coaching course". Daily Monitor. Retrieved 2020-08-26.
  5. Esiku, Gabriel (5 September 2014). "Gold medallist wants another chance". www.newvision.co.ug. Retrieved 2020-08-26.
  6. Katende, Norman (14 September 2011). "3 Gold". www.newvision.co.ug. Retrieved 2020-08-26.
  7. "Uganda's Emong wins historic World Para Athletics gold". The Independent Uganda. 2017-07-16. Retrieved 2020-08-26.
  8. "Year ender- Para-sport: Mubajje, Kukundakwe shone, Emong fell". Daily Monitor. Retrieved 2020-08-26.

Ebijuliziddwa wabweru wa Wikipedia

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. 1 2 3 4 5 "Knee injury fails to dash Akullo's London dream". Daily Monitor. Retrieved 2020-08-26.
  2. 1 2 3 Vision Reporter (17 September 2015). "Akullo wins gold for Uganda at African Games". www.newvision.co.ug. Archived from the original on 2020-06-30. Retrieved 2020-08-26. Cite error: Invalid <ref> tag; name ":0" defined multiple times with different content
  3. 1 2 "Christine Akullo – Athletics | Paralympic Athlete Profile". International Paralympic Committee. Retrieved 2020-08-26.
  4. "Para-athletes in Addis Ababa for coaching course". Daily Monitor. Retrieved 2020-08-26.
  5. "Uganda's Emong wins historic World Para Athletics gold". The Independent Uganda. 2017-07-16. Retrieved 2020-08-26.
  6. "Year ender- Para-sport: Mubajje, Kukundakwe shone, Emong fell". Daily Monitor. Retrieved 2020-08-26.