Jump to content

Christopehr Henry Muwanga Barlow

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

Christopher Henry Muwanga Barlow (yazaalibwa nga 1 Ogwokutaano 1929 – 20 Ogwomunaana 2006) yali mutontomi Munnayuganda, amanyiddwa nnyo olw'ekitontome kye Okuzimba Eggwanga "Building the Nation". Y'omu ku baafuna emidaali gya Uganda Golden Jubilee mu 2013 nga Uganda ejaguza emyaka 50 egy'obwetwaze.

Obuto bwe n'okusoma kwe

[kyusa | kolera mu edit source]

Yazaalibwa nga 1 Ogwokutaano 1929, mu maka ga John ne Maliza Barlow, Henry Barlow yasomera ku King’s College Budo (okuva mu 1936–1948), gye yakugukira mu cricket ne lawn tennis. E Budo Barlow gye yazuulira ebitontome. Yeegatta ku Makerere University College (okuva mu 1949–1953), n’atikkirwa diguli esooka ya BA (London). Y’omu ku bayizi 13 abaasooka okutikkirwa n'okuwebwa diguli. Emabegako yunivasite eno yali egaba dipulooma zokka. Oluvannyuma yakola dipulooma mu by’enfuna by’ebyobulimi ku Balliol College, Oxford University (okuva 1959–1960).

Obuwereza mu Gavumenti

[kyusa | kolera mu edit source]

Ng’atandika ng’omukozi mu kitongoole ky’obwegassi mu 1954, Barlow yalinya mangu ng’ayita mu madaala g’abakozi ba gavumenti n’afuuka Omuwandiisi ow’enkalakkalira mu 1963, nga wayise omwaka gumu nga Uganda efunye obwetwaze. Oluvannyuma lw’okukola mu minisitule za gavumenti eziwerako, yasindikibwa ku lukiiko olufuzi olwa Lint Marketing Board nga ssentebe era dayirekita omuddukanya wa boodi. Ekyo kyaliwo mu Gwoluberyeberye 1971, omwezi gwe gumu Idi Amin gwe yakwatiramu obuyinza. Mu 1976 Barlow yalekulira emirimu gya gavumenti era okukkakkana ng’agenze e Addis Ababa, Ethiopia, okufuuka omuwandiisi omukulu ow’ekibiina kya African Association for Public Administration and Management. Yakomawo mu Uganda mu 1981, okuddamu okwegatta ku bakozi ba gavumenti ng’omuwandiisi ow’enkalakkalira mu ofiisi ya pulezidenti era akulira abakozi ba gavumenti. Barlow yawummula emirimu gya Gavumenti mu 1987. Oluvannyuma lw’okuwummula, yaweereza nga mmemba w’akakiiko akanoonyereza ku bakozi ba gavumenti mu Zimbabwe aka Zimbabwe Public Service Review Commission (okuva mu 1987–1989). Era yasigala ng’akola emirimu gy’okwebuuzibwako n’obuzirakisa, ate mu kiseera kye kimu ng’akola omulimu gwe yali ayagala ennyo mu bulamu bwe, ogw'ebitontome. Wadde nga yatuuka ku buwanguzi, ng’omuddukanya w'emirimu gya gavumenti era ng’omuwandiisi, Barlow yakuuma ekitiibwa kya wansi naddala oluvannyuma lw’okuwummula emirimu gya gavumenti. Yasigala ebweru w’ebyobufuzi, ng’oggyeeko mu 1994, lwe yeesimbawo ku lukiiko lwa Ssemateeka olwa Constituent Assembly e Makindye East.

Wadde yatandika okuwandiika mu makkati g’emyaka gya 1940, ng’akyali muyizi e Budo, ekitabo kye eky’ebitontome, Building the Nation and Other Poems, kyasooka kufulumizibwa mu 2000, kumpi nga wayise emyaka 55. Naye ne bwe zaali tezinnaba kufulumizibwa nga nkuŋŋaanye wamu, ebitontome bya Barlow naddala "Okuzimba Eggwanga (Building the Nation)", byali byafuna dda obuganzi eri abaagazi b'ebitontome mu Uganda n'ebweru w'eggwanga era nga bulijjo byafulumira mu bitabo ebiwandiikibwamu n'ebitabo ebisomesebwa. Ebitontome bye kkumi na bina emabegako byali bifulumiziddwa wansi w’omutwe Of Feathers and Dead Leaves mu 1989.

Byakoze ebifulumiziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]

Ebitontome ebikuŋŋaanyiziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  • Of Feathers and Dead Leaves and Other Poems, Harare: Sapes Trust, 1989.  
  • Building the Nation and Other Poems, Kampala: Fountain Publishers, 2000.  ISBN 9970021915

Ebitabo ebikuŋŋaanyiziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]

    Ebijuliziddwa wabweru wa Wikipedia

    [kyusa | kolera mu edit source]

    Lua error: Invalid configuration file.