Christopher George Frederick Frampton Melmoth
Christopher George Frederick Frampton Melmoth yali munnabyabufuzi era omusomesa omunna Uganda era yakola nga Minisita w’ebyensimbi mu Uganda okuva mu 1956 okutuuka mu 1961 era okuva mu gwo'kusatu 1962 okutuuka mu gw'okunna 1962.[1][2] Yali Minisita w’ebyensimbi eyasooka mu mulembe gwa mefuga ga Uganda.[3] Lawrence Sebalu yeya mudira mu bigere okuva mu gwomusavu 1961 okutuuka mu gwokusatu 1962.[2]
Obulamu n’emirimu gwe
[kyusa | kolera mu edit source]Melmoth yazaalibwa mu Uganda mu kiseera ky'amatwale ga Bungereza . Omulimu gwe ogw’ebyobufuzi gwatandika mu myaka gya 1950, mu kiseera ky’enkyukakyuka okuva mu bufuzi bw’amatwale ga Bungereza okudda mu bwetwaze. Yalondebwa okuba Minisita w’ebyensimbi mu 1956, ekifo kye yalimu okutuusa mu 1961. Mu kiseera kye yamala, yakola omulimu munene okukyusa ey’ebyenfuna uganda n’okuteekateeka eggwanga okufuna obwetwaze. Oluvannyuma lw’ekiseera ekitono nga avudde mu ofiisi, yaddamu okulondebwa nga Minisita w’ebyensimbi mu gwokusatu 1962, n’aweereza omulundi ogw’okubiri okutuusa mu gwokunna1962.[2]
Ebijuliziddwa
[kyusa | kolera mu edit source]- ↑ "Ministry of Finance, Planning and Economic Development (Uganda) - Wikipedia | Download Free PDF | Economies | Government". Scribd (in Lungereza). Retrieved 2024-06-13.
- 1 2 3 "Uganda’s finance ministers since independence". New Vision (in Lungereza). Retrieved 2024-06-13. Cite error: Invalid
<ref>tag; name ":1" defined multiple times with different content - ↑ "Budget Reforms in Uganda: From Vision to Reality - A Personal Account". PFM (in Lungereza). 2010-09-01. Retrieved 2024-06-13.