Jump to content

Chwa I owa Buganda

Bisangiddwa ku Wikipedia
Chwa I owa Buganda
Yali kabaka w'obwakabaka bwa Buganda owookubiri. Yafuga mu kyasa ky'ekkumi n'ennya Kyusa Wikidata
Omuntu Kyusa Wikidata
Ekikulamusajja Kyusa Wikidata
Noble titleKabaka Kyusa Wikidata
Gy'a­zaal­waYuganda Kyusa Wikidata
FatherKato Kintu Kyusa Wikidata
Replaced byKimera of Buganda
 Ttembo owa Buganda
  Kiggala of Buganda Kyusa Wikidata
ReplacesKato Kintu Kyusa Wikidata

Chwa I Nabakka (era liwandiikibwa nga Ccwa) yali Kabaka wa Buganda . Yafuga wakati w’ekyasa eky’ekkumineena. Yeeyali Kabaka wa Buganda ow'okubiri.

Okulinnya kwe ku Nnamulondo

[kyusa | kolera mu edit source]

Yali mutabani wa Ssekabaka Kato Kintu, nga yeeyali Kabaka wa Buganda eyasooka, eyafuga ku ntandikwa y’ekyasa eky’ekkumineena. Namasole we yali Nambi Nantuttululu, ow’ekika ky'Engeye. Yalinnya ku Nnamulondo oluvannyuma lw’okufa kwa kitaawe. Ekibuga kye yakikuba ku kasozi Bigo .

Obulamu bwe obw’obufumbo.

[kyusa | kolera mu edit source]

Yawasa abakyala babiri:

  • Nnaabakyala Nakku, Kaddulubaale, muwala wa Walusimbi ow' effumbe. Oluvannyuma lw’okufa kwa Kabaka Chwa I, yafumbirwa Ssebwana eyali akuuma Nnamulondo.
  • Nakiwala muwala wa Ssemwanga ow'e ngonge.
  • Omulangira Kalemeera, nga nnyina yali Nakiwala. Kalemeera yagobwa mu Buganda n’awalirizibwa okunoonya obubudamo mu Bunyoro, ku biragiro bya kitaawe. Mu Bunyoro, Kalemeera yasuzibwa mu mbuga ya kojja we, Omukama Winyi I ow’e Bunyoro. Eyo, yayenda ku mukyala Wannyana muwala wa Mugalula Buyonga, Omuhima, Omukyala omukulu owa kojja we. Omukwano guno gwavaamu omwana ow’obulenzi; omu, Omulangira Kimera Walusimbi .

Emyaka gye egyasembayo

[kyusa | kolera mu edit source]

Kabaka Kintu [1]yava ku namulondo nga yeesiimidde n’asenga e Magonga. Kigambibwa nti yabula. N’okutuusa leero, ebifo we yafiira era ne we yaziikibwa tebimanyiddwa. Oluvannyuma lw’okufa kwe, waddawo ekiseera nga Nnamulondo njerere wansi wa katikkiro Walusimbi n’omusika we, Ssebwaana. Embeera eno yali bweti okutuuka mu 1374.

Emmeeza y’obusika.

[kyusa | kolera mu edit source]
Yasikira

Kato Kintu

Kabaka wa Buganda

wakati w'ekyasa ky'ekumi n'ennya

Yasikirwa

Kimera Walusimbi

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. shaping the Society Christianity and Culiture: Special Reference to the African Culture of Buganda, Author House, 2012, p. 94
  2. Kaggwa, Apollo; Kalibala, Ernest B. (1934). The Customs of the Baganda. p. 19.
  3. https://www.monitor.co.ug/uganda/special-reports/uganda-50/dindo-hill-home-of-buganda-s-first-man-1514508

Ebijuliziddwa wabweru wa wikipedia.

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. https://www.monitor.co.ug/uganda/special-reports/uganda-50/dindo-hill-home-of-buganda-s-first-man-1514508