Clement Kiggundu
| Ekikula | musajja |
|---|---|
| Ensi y’obutuuze | Yuganda |
| Yazaalibwa nga | 3 Gwamukaaga(Ssebaaseka) 1928 |
| Gy'azaalwa | Masaka |
| Olunaku lwe yafa | 12 Gusooka 1973 |
| Place of death | Yuganda |
| Cause of death | assassination |
| Omulimu | Catholic priest, editor, journalist |
| Omukozesa | Munno |
Faaza Clement Kiggundu (3 Ogwomukaaga 1928 – 12 Ogw'oluberyeberye 1973) yali musaaserodooti munnayuganda mu Uganda era eyakola ng’omusunsuzi w’olupapula lw’amawulire. [1] Yali avunaanyizibwa ku Munno, olupapula lw’amawulire olwa buli lunaku mu lulimi Oluganda. [2] [3] [4] Yafuna okuwulirizibwa olw'okuwandiika kwe okutaalimu kubikkako nga Pulezidenti Idi Amin ali mu buyinza. Yattibwa mu gw'oluberyeberye1973, era ensonda okuva mu kiseera ekyo, wamu n’okunoonyereza okwakolebwa oluvannyuma, zigamba nti ba agenti b’ebyokwerinda mu gavumenti be baali bavunaanyizibwa. [5] [6]
Obuto bwe n’obusaserodooti
[kyusa | kolera mu edit source]Faaza Kiggundu yazaalibwa nga 3Ogwomukaaga 1928 mu Kisaawa, Kalungu mu Disitulikiti y’e Masaka . Yatuuzibwa mu 1958 n’asindikibwa mu paariisi y'e Kikira n’oluvannyuma Paarisi y'e Kyamulibwa oluvannyuma lw’emyaka 2. [5]
Eby'amawulire ne Munno
[kyusa | kolera mu edit source]Yeegatta ku lupapula lw’amawulire olw’Abakatuliki olwa Munno ng’omuwandiisi mu 1961 n’afuuka omuwandiisi waalwo mu 1964. Munno lwerwali olupapula olufulumizibwa buli lunaku olukulembera olw’Eklezia Katolika. [5] Mu 1968 yakola emisomo gy’okwezza obuggya egy’amawulire mu Amerika, olwo n’adda mu Uganda okuddamu okuweereza ng’omusunsuzi era omuddukanya wa Munno. [3] [5]
Omwaka gwa 1972 nga guggwako Munno yakola eggulire nga livumirira okutulugunya kwa gavumenti , omwali okwemulugunya kw’abakyala mu lujjudde ku kubuzibwawo, n’okunnyonnyola ku kugobwa kw’Abayindi okuva mu Uganda. Ebyogerwa nebyaddako oluvannyuma bikwataganya eggulire lino okwongera obunkenke ku lupapula ne ku Kiggundu. [5] [7]
Okufa
[kyusa | kolera mu edit source]Kiri nti ekyavaako okufa kwe kyali kyekuusa ku ggulire lyeyafulumya mu Munno nga 9, ogwekkuminoogumu 1972, mweyavumirira ekya Pulezidenti Iddi Amin okugoba Abayindi bonna okuva mu ggwanga. Mu kulwanirira Abayindi abaagobwa, Fr. Kiggundu yakiremerako nti abo bonna abaagobwa tebaali basuubuzi bokka, wabula mwalimu abakyala, abaana n’abakadde. “Kiri nga mu South Africa,” ku bikwata ku nkola y’obusosoze mu langi. [5]
Nga 12 Ogw'oluberyeberye 1973 Faaza Kiggundu yawambibwa mu masekkati ga Kampala. Emmotoka ye eyokeddwa n’omulambo byasangibwa kumpi ekibira ky’e Namanve, mayiro nga 9 ku 10 okuva mu kibuga, nga 14 Ogw'oluberyeberye. Okwekebejja kwabasawo abakugu okw'omulambo kwalaga obubonero bw’okutugibwa n’ekiwundu ky’amasasi. Ensonda eziwera ziraga nti abakozi b’ebyokwerinda mu gavumenti be bavunaanyizibwa. [1] [5] [8]
Okuziika kwe kwali ku Lutikko y'e Lubaga nga 16 Ogw'oluberyeberye 1973. [9]
Laba ne
[kyusa | kolera mu edit source]Ebijuliziddwa
[kyusa | kolera mu edit source]- 1 2 "Amin operatives kill journalist over being critical of government". Monitor (in Lungereza). 2021-01-09. Retrieved 2025-09-08. Cite error: Invalid
<ref>tag; name ":2" defined multiple times with different content. - ↑ "Opponents not always traitors". New Vision. Retrieved 2025-09-08.
- 1 2 "The dark history of Uganda's media and past governments". Monitor (in Lungereza). 2021-01-09. Retrieved 2025-09-08. Cite error: Invalid
<ref>tag; name ":1" defined multiple times with different content. - ↑ "Bishop Ssentongo lived a simple life". Monitor (in Lungereza). 2020-09-10. Retrieved 2025-09-08.
- 1 2 3 4 5 6 7 "Comboni". www.comboni.org. Retrieved 2025-09-08. Cite error: Invalid
<ref>tag; name ":0" defined multiple times with different content. - ↑ VI OLAT I ONS OF HUMAN RIGHTS AND THE RULE OF LAW IN UGANDA
- ↑ “Sometime you may leave your husband in Karuma Falls or in the forest there”: a gendered history of disappearance in Idi Amin's Uganda, 1971–79
- ↑ The Catholic News Archive
- ↑ "18th September 2020 – Comboni Missionaries". combonimissionaries.co.uk. Retrieved 2025-09-08.