Cleome gynandra
| Has use | enva, medicinal plant |
|---|---|
| Erinnya mu bufunze | C. gynandra |
| Taxon name | Cleome gynandra |
| Taxon rank | species |
| Parent taxon | Cleome |
| External data available at URL | https://www.gbif.org/dataset/93725bf2-6ada-47f9-bd5e-0e679e3d245e |
| Basionym of | Gynandropsis gynandra |
| Taxon range | Myanmar |
| Taxon author citation | L. |
| GRIN URL | https://npgsweb.ars-grin.gov/gringlobal/taxonomydetail.aspx?id=310634 |
Cleome gynandra kika kya Cleome ekikozesebwa ng'enva ndiirwa. Kimanyiddwa mu mannya mangi agamanyiddwa omuli ejjobyo, [1] emboga, eggobe, [2] ne stinkweed . [3] Kimuli kya nsiko ekibeerawo buli mwaka nga kizaalibwa mu Afirika naye nga kifuuse kya bulijjo mu bitundu bingi eby’obutiti obutono n’eby’obutiti n'ebbugumu mu nsi. [4]
Okunnyonnyola
[kyusa | kolera mu edit source]Cleome gynandra kimera kiyimiridde, nga kirimu amatabi agali mu buwanvu bwa sentimita 25 ne 60 . Okusinziira ku mbeera y’obutonde, esobola okutuukira daaka ku buwanvu bwa sentimita 150 . [5] Ebikoola byakyo by'eyawulamu obukola obulala obutono wakati we 3–7. Ebimuli by'akyo byeru, oluusi ne bikyuka ne bifuuka pinki bwe bikaddiwa. [6] Ebikoola n’ebimuli byombi biriibwa. Ebikoola byakyo bikaawa nnyo, oluusi nga entungo zaayo zaagala okufaana eza sukuma .
Ekibala kino kibeera kya siliki ekikutuka, nga kigonvu era nga kiringa ekikuta, era kipima mu buwanvu bwa sentimita 12 n'obugazi bwa milimita 8–10 . Mu kiseera ky’okwengera, langi y’ebikoola ekuyuka okuva ku kiragala okudda ku kyenvu n'oluvanyua kitaka bwe bikala. Bwe biba bikaze, ebikuta byabuluzubwamu mu buwanvu okugyamu ensigo. Buli silique esobola okubeeramu ensigo eziri wakati wa 100-150. Ensigo zino n'etooloovu, nzirugavu ate nga zirina akakuta akakluba era nga zipima 1.0-1.5 mm mu buwanvu. [5] : 1 . 4. 4. Ensigo za C. gynandra zirimu amafuta 17-19% . [7]
Cleome gynandra erina ekikolo kya ttaapu ekiwanvu nga kiriko enviiri z’ebikoola ate nga kirina ebikoola eby’okubiri bitono. [8]
Emigaso n'enkozesa
[kyusa | kolera mu edit source]

Mu bulamu bwa bulijjo, ebikoola n’enduli yakyo biriibwa nga bifumbiddwa oba nz'ezigattibwa mu nva. Ebikoola bino bitera okuliibwa mu mawanga agali mu Bukiikaddyo bwa Sahara, nga babikaza ne babitereka oluvannyuma ne bifumbibwa n'amata oba omuzigo okukendeeza ku bukaawu bwabyo. [9] Mu Kenya, Uganda ne Tanzania, ebikoola bifumbiddwa mu binyeebwa ebisekule .
Mu Bukiikakkono bwa Uganda kimanyiddwa nga Dek Akeo oba Akeyo . [10] Kiteekebwateekebwa nga bitokosebwa mu mazzi agookya nga gatabuddwamu ekipooli oba ebinyeebwa ebisekule. Kigabulwa n'emmere ey'enjawulo nga Akalo, akawunga, lummonde . Enva endiirwa zino z'anikibwa ne zikala okusobola kuterekebwa okumala ebbanga eddene n’okuzikozesa mu biseera eby’omu maaso ng’eddagala. Enva zino bagigabula mu bifo eby’okulya ne mu wooteeri z’omu kitundu kyokka nga zisinga kuliibwa mu Bukiikakkono bwa Uganda. [10] [11] [12]
Ekimera kino kya mugaso mu kulimira awamu n'ebimera ebirala olw’obutonde bwakyo obugoba ebiwuka n’okulwanyisa enkwa. [13] [14] Ebikoola birina eky’obugagga ekigoba, n'okusaanyaawo ebiwuka ebilya ebikola n'enkwa ( envunyu, amayanzi, n’enkulu). [15]
Mu Thailand ne Malaysia ebikoola bino mmere ey'ettanirwa ennyo nga bagiteekateeka n'amazzi g'omuceere n'ekibala ekimanyikuddwa nga phak sian dong . [16] Pickle y’emu era eriibwa mu masaza g’Obukiikakkono bwa Malaysia, era emanyiddwa nga jeruk maman . Essaza ly’e [./Negeri_Sembilanhttps://en.wikipedia.org/wiki/Negeri_Sembilan Negeri Sembilan] mu rendang maman, [17] ng’ebikoola bitabulwa wamu mu mata g'ebinazi okumala ekiseera ekiwanvu okutuuka ku mutendera gwe bagwagaliramu.
Ebikoola nabyo birina eddagala eriziyiza okuzimba naddala ng'olumiddwa ekiwuka. [4] Olw’obulungi bwayo obuziyiza okuzimba, oluusi bikozesebwa ng’eddagala. [18] Ebikoola n’ebimuli bya C. gynandra bibadde bikozesebwa mu ddagala ly’ekinnansi okujjanjaba embeera omuli obutwa mu mmere, endwadde z’okulumizibwa ebinwa by'omubiri, okuzimba, yinfekisoni za bakitiriya, [8] [19] [20] n’okusingira ddala embeera ez'ekuusa ku bulumi ng’okulumwa amannyo, okulumwa omutwe, okulumwa ekiwanga, okulumwa olubuto, okulumwa amatu, okulumwa ennyingo, okumenya amagumba, okulumwa obwoka mu baana n’okulumwa mu kifuba. [21] [22] [23] Mu Saudi Arabia, ebirungo bya C. gynandra bikozesebwa okujjanjaba obulumi obw’amaanyi n’okuziyiza okuzimba ebiva ku kulumwa enjaba. [24]
Ebirungo eby’enjawulo n’omugaso gw’ebiriisa
[kyusa | kolera mu edit source]Cleome gynandra alimu ekirungo kya beta-carotene, folic acid, ascorbic acid ne calcium bingi. Mulimu ne vitamiini E, iron ne oxalic acid. Okutwalira awamu, ebikoola bino birina puloteyini za 4.0%. 100 g za C. gynandra zirimu nga 1.4 g ez’obuwuzi obutazimbiddwa, 127–484 mg vitamiini C ne 0.76 mg zinki, 3.1-7.7 g puloteyina atasengejjezeddwa. Mulimu ebirungo nga ayani ne kalisiyamu byawukana okusinziira ku zooni okuva ku 1–11 mg, ne 213-434 mg mu kulondako. [8]
Ensigo za C. gynandra zirimu asidi z’amasavu nga asidi wa palmitic, asidi wa stearic, asidi wa oleic, ne asidi wa linoleic ne amino asidi omuli asidi wa glutamic, arginine, leucine, valine, glycine, ne proline. [25] [26]
Engeri gye zilimibwamu
[kyusa | kolera mu edit source]Cleome gynandra tatera kulimibwa. Ebikoola ebisinga bikungula okuva mu kimera ekisangibwa nga ky\emeza kyokka. Wabula okunoonyereza okumu ku bukodyo bw’okulima obusinga bukoleddwa. [5] [27]
Ettaka ery'etagibwa
[kyusa | kolera mu edit source]Cleome gynandra yeetaaga ettaka eggimu eriwanvu era eririmu amazzi amalungi. Kikula bulungi ku ttaka eritali ggumu/ kkalubo, nga lirimu humus mungi ate nga pH eri wakati wa 5.5 ne 7. [27]
Okusiga
[kyusa | kolera mu edit source]Mu kulima, okusaasaana kw’ekimera kukolebwa nga basiga ensigo. Okusinziira ku sayizi y'ensigo, obuwanvu obusimbiddwamu ensigo nsonga nkulu. Ensigo yetaaga okulima mu ngeri etali nnene (nga sentimita 15 wansi mu ttaka), okukoola omuddo n’okusalako amatabi amakadde okusobola okuba n’ettaka eddungi eritali kkalubo. Ensigo zisobola okusaasaanyizibwa mu ngeri etaali ya kyenkanyi nga ziweereza ku mpewo oba okusimibwa mu ngeri etali nnene mu nnyiriri eziri wakati wa sentimita 30 nga zawuddwa mu nyiriri ez'eyawudde sentimita 1 ebuziba. [5]
Okukoola
[kyusa | kolera mu edit source]Okukoola kwetaagisa mu ntandikwa y’okulima, ng’ebikoola bya C. gynandra bikyali bitono. Kisobola okukolebwa n’emikono oba n’ebyuma ebituufu, okukakasa okulima mu buwanvu obw'etagisa. [5]
Ebijimusa
[kyusa | kolera mu edit source]Ebigimusa ebyetagisa mu kulima kuno mulimu ebigimusa ebijjudde nitrogen nga bikozesebwa okukereya okumulisa kw'ebimuli, okuwangaaza okukula kw’ebimera n’okwongera ku muwendo n’obunene bw’ebikoola. [28] Okweyongera kw’amakungula kuba kwa maanyi nnyo nga nitrogen ng'atereddwamu mu ngeri yaayo ey’obutonde, wadde nga n’ebigimusa bya nayitrojeni ebitali biramu bikakasa okweyongera kw’amakungula. Okussaamu ebigimusa ebisemba kisinziira ku butonde bw’ettaka naye bisobola okutuuka ku ttani 30 buli yiika y’oluggya lw’ennimiro olw’obusa bwa nnakavundira oba okutuuka ku 120 kkiro/ha y’ebigimusa ebitali biramu. [29]
Okufukirira
[kyusa | kolera mu edit source]Okusobola okuvaamu amakungula amalungi, C. gynandra yeetaaga amazzi g’ettaka agamala mu kiseera kyonna eky’okukula kw’ebimera. Okufukirira enfunda eziwera era nga kufugibwa ky'etaagisa era kulina okusalibwawo okusinziira ku ngeri ettaka gye likwatamu amazzi. Okufukirira ennyo kiyinza okuvaako okufiirwa amakungula olw’obutaziyiza mataba. [5]
Okukungula
[kyusa | kolera mu edit source]Okukungula kuyinza okukolebwa mu ngeri bbiri ez’enjawulo. Esooka erimu okusimbula ddala ekimera kyonna n’okukoolako ebikoola byokka okuva ku nduli. Ekirala, okukungula emirundi mingi kuyinza okukolebwa nga osala ekitundu eky’oku ntikko eky’ekimera n’okukung’aanya ebikoola ebya waggulu. Enkola eno ey'okubiri eyamba okwongera okukula kw’ebikoola eby’ebbali n’okulwawo okumera ebimuli, okwongera ku kiseera ky’okumera. [5] [27]
Ennimiro
[kyusa | kolera mu edit source]Ebigimusa n’amazzi bwe biteekebwamu mu ngeri esaanidde, kigambibwa nti amakungula agakuŋŋaanyiziddwa gasobola okutuuka ku t 30 buli yiika. [27]
Okulwanyisa ebiwuka n’endwadde
[kyusa | kolera mu edit source]Cleome gynandra ameluse ng’ayita mu butonde so si kulonda kwa muntu okusobola okufuna amakungula amangi. Kino kigifuula naddala okugumira obuwuka obw'enjawulo. [5] Wabula ebiwuka bino bye bisangibwa ku muddo guno Pentatomids (Agonoselis nubilis), Enzige (Schitocera gregaria), flea beetles (Phylloreta mashonana), cabbage sawfly (Athalia spp), bugs (Nezara spp and Bagrada spp.), cotton jassids (Empoasca spp.), nematodes (Meloidogyne spp.). [8] [30]
- ↑ http://www.dict.cc/english-german/Shona+cabbage.html
- ↑ https://npgsweb.ars-grin.gov/gringlobal/taxonomydetail.aspx?id=310077
- ↑ http://raisingislands.blogspot.com.au/2015/11/natural-pesticides-from-common-weed.html
- 1 2 "Archive copy". Archived from the original on 2023-05-31. Retrieved 2026-02-21.
{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link) - 1 2 3 4 5 6 7 8 Waithaka, Kimani; Chweya, James A. (1991).
- ↑ http://www.plantzafrica.com/plantcd/cleomegynandra2.html
- ↑ Aparadh, V. T.; Naik, V. V.; Karadge, B. A. (2012).
- 1 2 3 4 Chweya, James A.; Mnzava, Nameus A. (1997).
- ↑ https://en.wikipedia.org/wiki/Andrea_Pieroni
- 1 2 Opio, Bobson (2023-04-11).
- ↑ Nakaziba, Rebecca; Anyolitho, Maxson Kenneth; Amanya, Sharon Bright; Sesaazi, Crispin Duncan; Byarugaba, Frederick; Ogwal-Okeng, Jasper; Alele, Paul E. (2021-07-15).
- ↑ https://www.newvision.co.ug/news/1129332/magnetism-northern-ugandan-dishes
- ↑ Engels, Johannes M.M. Engels (2002).
- ↑ https://www.farmersweekly.co.za/farm-basics/how-to-crop/cultivating-cleome/
- ↑ Mnzava, N (1990).
- ↑ "ผักเสี้ยน สรรพคุณและประโยชน์ของผักเสี้ยน 29 ข้อ !". Archived from the original on 2016-08-15. Retrieved 2015-09-01.
- ↑ Lim May Lee (8 October 2017).
- ↑ https://pfaf.org/user/Plant.aspx?LatinName=Cleome+gynandra
- ↑ Meda N.T.R. (2013-02-28).
- ↑ Mishra, S. S.; Moharana, S. K.; Dash, M. R., eds
- ↑ Keding, G.; Weinberger, K.; Swai, I.; Mndiga, H., eds
- ↑ Sridhar, Nimmakayala; Kiran, Bondada V. V. S. Surya; Sasidhar, Donthamsetti Tharaka; Kanthal, Lakshmi Kanta (2014-03-30).
- ↑ Urso, Valeria; Signorini, Maria Adele; Tonini, Matteo; Bruschi, Piero (2016-01-11).
- ↑ Al-Asmari, Abdulrahman; Manthiri, Rajamohamed Abbas; Abdo, Nasreddien; Al-Duaiji, Fawzi Abdullah; Khan, Haseeb Ahmad (2017).
- ↑ Mnzava, N. A. (1990-01-01).
- ↑ Sen Gupta, A.; Chakrabarty, M. M. (1964).
- 1 2 3 4 https://prota.prota4u.org/protav8.asp?h=M11,M14,M15,M16,M18,M23,M25,M26,M27,M28,M34,M36,M4,M6,M7,M8,M9&t=Cleome,gynandra,cleome&p=Cleome+gynandra#Description
- ↑ Staff Reporter (2020-09-08). "Cultivating cleome". Farmer's Weekly (in American English). Retrieved 2023-12-03.
- ↑ Schippers, R. R. (2000).
- ↑ Mashamaite, Chuene Victor; Manyevere, Alen; Chakauya, Ereck (2022).