Jump to content

Clive Okoth

Bisangiddwa ku Wikipedia

    Captain Clive Okoth (yazaalibwa circa 1982) Munnayuganda omuvuzi w'ennyonyi, akola nga kapiteeni mu kkampuni ya Uganda National Airlines Company, kkampuni y'ennyonyi eya Uganda ekola ku by'okwetikka, ku nnyonyi ya CRJ 900, okutandika n'Ogwokunan gwa 2019. [1]

    Obuto bwe n'okusoma kwe

    [kyusa | kolera mu edit source]

    Okoth yazaalibwa mu Uganda. Oluvannyuma lw’okusoma amangu ng'ali mu masomero ga Uganda, yagenda mu maaso n’okutendekebwa mu ttendekero ly’ennyonyi erya East African Civil Aviation Academy e Soroti, mu Ttundutundu Ly'obuvanjuba bwa Uganda. Oluvannyuma yafuna okutendekebwa okulala okw'okuvuga ennyonyi ebweru w’eggwanga. Alina layisinsi y'okuvuga ezikola ssente ne layisinsi ya ICAO ey'okuvuga ennyonyi mu y'eby'entambula . [2]

    Omulimu Okoth gwe yasooka okukola, nga yaakava mu ssomero ly’ennyonyi, gwali mu kkampuni ya Air Uganda kati etakyaliwo. Bwe yali eyo, yaweerezaako nga First Officer ku nnyonyi ya CRJ200 era n’afuuka Kapiteeni ku nnyonyi nga kkampuni y’ennyonyi eyo tennaggalawo. Air Uganda bwe yaggalawo mu 2014, yagenda mu kkampuni ya Arik Air Limited, esangibwa ku kisaawe ky’ennyonyi e Lagos, mu kibuga Lagos ekya Nigeria. Mu Arik Air, Okoth yaweereza nga Kapiteeni ku nnyonyi ya CRJ700, CRJ900 ne CRJ1000. [1] [2] [3]

    Mu 2018, yapangisibwa kkampuni y’ennyonyi eya Uganda Airlines eyali ezuukusiddwa . Y’omu ku bakozi b’okunnyonyi eyavuga ennyonyi ebbiri ezasooka ezaava e Mirabel, Quebec, Canada, okutuuka Entebbe, Uganda, mu Gwokuna 2019. [1] [2] We bwatuukira mu Gwokutaano 2019, Okoth yali akuŋŋaanyizza essaawa kumpi 6,000 ez’okuvuga mu kasenge k’abavuzi, ng’alina essaawa ezisukka mu 2,000 ez’ovuga mu kasenge k’abavuzi b’ennyonyi ya CRJ900. [4] We bwatuukira mu Gwekkumineebir 2019, yali avuga ennyonyi ya CRJ 200, MD 87, CRJ 900 ne CRJ 1000 . Mu kiseera ekyo, yali kapiteeni w’ennyonyi asinga obuto mu bakozi b’ennyonyi ya Uganda Airlines. [2]

    Ku Uganda Airlines y’omu ku ba kapiteeni abaasooka okuvuga ennyonyi ya CRJ900 kkampuni eno be yapangisa mu 2019. Yeetaba mu kutandikawo kkampuni ya Uganda National Airlines empya mu 2019. Yali ku bavuzi b’ennyonyi abaatuusa ennyonyi za CRJ ezaasooka mu Gwokuana 2019. Okuva olwo yeenyigira mu kuddukanya ennyonyi za CRJ. Akola nga Kapiteeni omutendesi w'aba First Officers n’abagenda okubeera ba Kapiteeni ku nnyonyi ya kkampuni eno eya CRJ900. [3]

    Captain Okoth era avuzeeko ku nnyonyi ezakkirizibwa okubiika nga bwe ziraga eby'obulambuzi eby'enjawulo okuva ku kisaawe ky'ennyonyi Entebbe okuyita mu bitundu bya Uganda eby'enjawulo mu nnyonyi ya UR - nga ye nannyini y'ennyonyi ya CRJ900. [5]

    Obulamu bwe ng'omuntu

    [kyusa | kolera mu edit source]

    Ebijuliziddwa wabweru wa wikipedia

    [kyusa | kolera mu edit source]

    Ebijuliziddwa wabweru wa wikipedia

    [kyusa | kolera mu edit source]
    1. 1 2 3 https://nilepost.co.ug/2019/04/23/pilot-of-new-uganda-bombardier-jet-i-am-proud-of-my-country-today/
    2. 1 2 3 4 https://en.wikipedia.org/wiki/The_Observer_(Uganda)
    3. 1 2 https://businessfocus.co.ug/meet-clive-okoth-a-decorated-uganda-airlines-pilot-managing-crj-fleet-training-local-crew/
    4. "Archive copy". Archived from the original on 2019-06-21. Retrieved 2025-10-02.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
    5. https://ugandaradionetwork.net/story/uganda-airlines-scenic-flights-targeting-first-time-travelers-boosting-revenues