Colin Chapman (omukugu mu by'amazike) .
Colin A. Chapman pulofeesa mu yunivaasite ya Vancouver Island University mu British Columbia, Canada . Okugatta ku ekyo, munnakibiina kya Royal Society of Canada, Omusomesa ow’ekitiibwa mu Makerere University ey'omu Uganda, Mmemba ku kakiiko akanoonyereza n’okuzuula akayitibwa Committee of Research and Exploration mu National Geographic, [1] era Associate Scientist mu kibiina ekikuuma ebisolo by’omu nsiko mu New York. Nga tannafuna kifo kye mu McGill University, yali mu University of Florida mu Department of Zoology okuva mu 1993 okutuuka mu 2004. Amanyiddwa mu nsi yonna olw’okunoonyereza kwe okumala emyaka 30 n'omusobyo okwali kukwata ku mbeera z'amazike, okukwasaganya obungi bw'ago, eby'endya, and n'enkukakyuka mu ndwadde n’olw’okuyamba mu kugakuuma mu nsi yonna.
Ye Dayirekita wa Pulojekiti y’enkima e Kibale; pulojekiti ey’ekiseera ekiwanvu mu kkuumiro ly'ebisolo erya Kibale National Park, mu Uganda gye yatandika mu 1989, ng’azimbira ku biwandiiko bya Thomas Struhsaker okuva mu Duke University eyakolera mu Kibale okuva mu 1970 okutuuka mu 1987. [2] Pulojekiti eno essira esinga kulissa ku mbeera z'amazike n'engeri y'okugakuuma, naye era erina ekitundu eky’amaanyi ennyo eky'ekenneenya enkyukakyuka z’ebibira, omuli n’ezo ezivugibwa enkyukakyuka y’embeera y'obudde, omuwendo gw’enjovu, n'okukyuka kw’ebibira. Ttiimu y’abanoonyereza b’akoze nabo era essira balitadde nnyo ku ngeri z’okukuuma ebibira, omuli okuzzaawo ebibira, okuzzaawo omuwendo gw’ebisolo, okwawulamu, enkwatagana wakati w’abantu n'amakuumiro, okusaasaana kw’endwadde z’ebisolo, n’akakwate akaliwo wakati w’okugaba obujjanjabi n’okukuuma ebisolo.
Obuto n’okusoma kwe
[kyusa | kolera mu edit source]Chapman yazaalibwa mu Edmonton, Alberta e Canada, era diguli ze zonna (Esooka, Eyookubiri , n'Eyookusatu) yaziggya mu University of Alberta era n’afuna diguli eyookusatu oba Ph.D, wansi w’obukulungaizibwa kwa Dr. Linda Fedigan, John Addicott, ne Jan Murie. Yagenda mu maaso n’akola Post-doc ne Louis Lefebvre mu ssomo lya Biology mu McGill University n’oluvannyuma ne Richard Wrangham mu ssomo erikwata ku bantu oba Anthropology mu Harvard University . Bwe yali tannagenda mu Harvard yakola okunoonyereza ku nsolo eziri mu kika ky'amazike mu Caribbean (St. Kitts) ne Costa Rica, kyokka bwe yali mu Harvard yatandika okunoonyereza ku kkuumiro ly'ebisolo erya Kibale National Park, Uganda.
- ↑ "Grants Program". National Geographic Society.
- ↑ Box, Hilary; Butynski, Thomas M.; Chapman, Colin A.; Lwanga, Jeremiah S.; Oates, John F.; Olupot, William; Rudran, Rudy; Waser, Peter M. (2008-01-29). "Thomas T. Struhsaker: Recipient of the Lifetime Achievement Award of the International Primatological Society 2006". International Journal of Primatology (in Lungereza). 29 (1): 13–18. doi:10.1007/s10764-007-9155-3. ISSN 0164-0291. S2CID 31433764.