Jump to content

Cotilda Inapo

Bisangiddwa ku Wikipedia
Cotilda Inapo
Omuntu Kyusa Wikidata
Ekikulamukyala Kyusa Wikidata
Ensi y’o­bu­tuu­zeUganda Kyusa Wikidata

Cotilda Inapo mukyala kazanyirizi ,Munnayuganda ng'aweza emyaka egisukka mu kkumi mu bwa [1] kazanyirizi n'okusanyusa. Yeegatta ku kkomedi ey’ekikugu mu 2009 ng’omukyala eyasooka okumanyibwa mu butongole mukuzannya komedi mu Uganda [2] mubwangu nafuuka wa buli lunaku ne The Crackers—nga emizannyo gyayo gyalagibwa nga “Mic Check” comedy show ku NTV ne NBS okuva mu 2010 okutuuka mu 2013. ne NBS okuva mu 2010 okutuuka mu 2013

Cotilda yamaliriza Pulayimale mu ssomero lya Hormisdallen primary school e Kamwokya. Yagenda mu maaso n'emisomo mu Gayaza High school gye yafunira ebbaluwa ye eya Uganda Certificate of Education. Yagenda mu maaso n’asoma A-levels mu ssomero lya Uganda Martyrs Senior Secondary School Namugongo, n’afuna satifikeeti ye eya Uganda Advanced Certificate of Education. Oluvannyuma yeewandiisa mu yunivasite y’e Makerere, gye yafunira diguli ya ssaayansi Kompyuta. [3] Mu 2022 yafuna satifikeeti mu kukola firimu za Digital mu NetStudios Africa [4] wamu ne Mastercard Foundation .

Mu 2013, Cotilda yatandikawo Queens of Comedy Uganda, omukutu ogwasooka mukukuza abazannyi ba firimu abakyala, okubayambako okuzuula eddoboozi lyabwe erya kkomedi n’okukulaakulana mu mulimu ogusingamu abasajja.

Mu mwaka gwe gumu(2013), era yafuuka omuteesiteesi wa pulogulamu ekyenkya ku Galaxy FM 100.2, omukutu gw’abavubuka ogusinga mu Kampala, obuwereeza bweyakola okutuusa mu 2015. Mu kiseera kino yasunsulwamu okuvuganya ku ngule z'abakyala abasinga okuzannya komedi mu mpaka za Zzina Awards.

Mu kiseera kye kimu 2013 gwe mwaka gwe yafuuka dayirekita w’obuyiiya era omuwandiisi omukulu owa Anne Kansiime, omukyala asinga okuzannya komedi mu Afirika omulimu gwe yakola okutuusa mu 2018. Anne Kansiime

2014 okutuuka mu 2017 yali muzannyi wa bulijjo era omu ku badayirekita mu Comedy Files, comedy unit abazannyanga buli wiiki ku Theatre La Bonita mu Kampala, Uganda.

Mu 2015 yali muteesiteesi wa pulogulaamu ya "Anne Kansiime n'omusomesa Mpamire butereevu e Malawi" era nga ye mutegesi wa pulogulaamu ya "Extreme Comedy" e Kenya.

Mu 2015 wansi w’omukutu gwe ogwa Queens of Comedy yatwala abakyala mu pulogulaamu ya Queens of Comedy nga bavuganya ne Kings of Comedy eyali e Kigali.

Mu 2016, she co founded creative stamp ekitongole ky’okulanga n’ebitone.

Mu 2016 okutuuka mu 2017 yali copywriter, script editor era omulabirizi wa kampeyini ya DSTV eyalimu Anne Kansiime okumala omwaka mulamba nga brand ambassador waabwe.

Mu 2018 yali co-creator era omuyambi wa dayirekita wa Girl from Mparo - sitcom eya Anne Kansiime.

Okuva mu 2018, agaziyizza emirimu gye mu by’emikono ng’akola firimu, okutegeka ebivvulu, n’okugenda mu kulambula kwa kkomedi okwetoloola ensi yonna. Omuntu ono azannye ekifo kya "Sarah" mu firimu "Leila" nga kwotadde ne "Ann" mu muzannyo gwa Pearl Magic oguliwo kati "Damalie."

Abadde azannya mu bivvulu bya kkomedi mu Zambia, Kenya ( Churchill Show ), Nigeria (Night Of A Thousand Laughs wamu n'abazannyi nga Basketmouth mu 2012) ne Malawi (eyategekebwa ne Teacher Mpamiire ne Anne Kansiime), Bungereza, Botswana, Namibia, South Africa, Rwanda, Tanzania ne Zimbabwe.

Mu 2024, Cotilda yatongoza My Favorite Stories Podcast, mwatulira n’abantu ab’oku abanene okugabana emboozi zaabwe ezisinga okujjukirwa. Ebitundu bye ebibiri ebyasooka byalimu ba comedians Daniel Omara ne Don Andre.

Mu Gwokusatu 2025 kiraabu ya kkomedi eyasooka mu Uganda Cotilda mw’aweerereza ng’omu ku badayirekita; Laughing Maraboustork comedy club yatongozebwa.

Era yasunsulwamu okuvuganya ku ngule ya Female Standup Comedian of the year mu mpaka za Africa Golden Awards eza 2025.

Omukutu gwe ku yintaneeti ye "CotildaTheComedian" ku Instagram, Facebook, TikTok, X ne "Cotilda Comedy Africa" ku YouTube.

Cotilda alina omwana ow’obulenzi.

Okukwata firimu

[kyusa | kolera mu edit source]
 
Year Title Role Platform Notes
2010 Christmas in Kampala Herself NTV Uganda Feature Film for TV
2016 Girl from Mparo Co-creator and assistant director UBC, DStv – Pearl Magic Sitcom
2017 It’s Business Unusual Script Writer and supervisor DStv – Pearl Magic DSTV Anne Kansiime Brand Ambassador campaign
2023 Leila Sarah-Supporting Actress NetStudios Africa Feature Film
2023–Present Damalie Ann - Supporting Actress DStv – Pearl Magic Drama TV Series

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. ↑ "Just Asking: Cotilda Inapo". 7 January 2021.
  2. ↑ "Cutting through with comedy: Cotilda Inapo on the craft of writing". 27 September 2024.
  3. ↑ "Cotilda, the lone female stand-up comedian - Sqoop - Get Uganda entertainment news, celebrity gossip, videos and photos". 27 May 2012.
  4. ↑ "Capacity Building and Skills Training | netstudios Africa".