Cotilda Nakate Kikomeko
Cotilda Nakate Kikomeko ye Minisita wa Social Services era ofiisi ya Nnaabagereka mu Bwakabaka bwa Buganda.[1][2][3][4] Yaliko omukulu w’essomero lya Trinity College Nabbingo okuva mu 2002 okutuuka mu 2018.[3][5] Era yakola nga ssentebe w’ekibiina ekigatta abasomesa mu disitulikiti y’e Wakiso.[6]
Emirimu
[kyusa | kolera mu edit source]Nakate aweereza Obwakabaka bwa Buganda nga minisita wa Social Services ne ofiisi ya Nnaabagereka. Yali wakusatu mu baddugavu abakakulira essomero lya Trinity College Nabbingoera yaweereza okumala emyaka 16 (2002 - 2018). Yali omu kubammemba 17 abaalondebwa ku kakiiko aka White paper okeetegereza alipoota y’akakiiko ka Rwendeire Vistitation ku Makerere.[7] Yali ssentebe w'akakiiko k'eby'enjigiriza mu Bwakabaka bwa Buganda era yakola ne Minisitule y'eby'enjigiriza n'emizannyo.[8] Yali ssentebe w’abakulira amasomero ga siniya mu Uganda.[7]
Omukululo
[kyusa | kolera mu edit source]Ono aweereddwa ekitiibwa kya Owekitibwa mu Bwakabaka bwa Buganda . Ekitiibwa "Owekitibwa," ekifunzibwa nga "Owek.", kitiibwa kya nnono mu Bwakabaka bwa Buganda ekiraga obukulu bw'ekifo eky'ekitiibwa. Ekitiibwa kino yemu ku nkola engazi ey’ebitiibwa mu Bwakabaka bwa Buganda, ng'essira liteekebwa ku nsengeka y’eby'obuwangwa n’amakulu g’emirimu gy’obukulembeze mu bantu bannayuganda. Abantu abamanyifu ababadde n’engule eno kuliko Owek. Charles Peter Mayiga ne Owek. Ezekerial Tenywa Wako, bombi abakoze kinene mu bukulembeze n’eby'obuwangwa bya Buganda.
Laba ne
[kyusa | kolera mu edit source]Ebijuliziddwa
[kyusa | kolera mu edit source]- ↑ https://en.wikipedia.org/wiki/Trinity_College_Nabbingo
{{cite web}}: Empty citation (help) - ↑ https://en.wikipedia.org/wiki/Trinity_College_Nabbingo
- 1 2 https://en.wikipedia.org/wiki/Trinity_College_Nabbingo
- ↑ https://en.wikipedia.org/wiki/Trinity_College_Nabbingo
- ↑ https://en.wikipedia.org/wiki/Trinity_College_Nabbingo
- ↑ https://en.wikipedia.org/wiki/Trinity_College_Nabbingo
- 1 2 https://en.wikipedia.org/wiki/Ministry_of_Education_and_Sports_(Uganda)
- ↑ https://en.wikipedia.org/wiki/Ministry_of_Education_and_Sports_(Uganda)