Cow's trotter
Ekigere ky'ente ekifumbiddwa lyerinya ly'oyinza okukiwa. Ebisaliddwa bikozesebwa mu mere ey’enjawulo okwetoloola ensi yonna, naddala mu bika by'emere y'okulukalu lwa Asia, Afrika, Bufalansa, ne Caribbean.[1] Emere y’omu Latin Amerika nayo ekozesa ebigere by'ente ku mmere ey’ekinnansi eziwerako.
Ng’oggyeeko ente, ebigere by'ebisolo ng'embuzi, endiga n’embizzi nazo zisobola okuliibwa ne zikozesebwa mu mere emu ey’enono.
Enyinyonyola
[kyusa | kolera mu edit source]
Ebigere by'ente tebirinaamu ennyama byonna oba enyama; okuggyako amagumba n’obugere obwakula ng’engalo, kasinga kuberako diba, emisuwa n’ebinywa eby'ekute. Mu mere, ebigere ebisale sale okusinga bitwalibwa ng’eby’omuwendo olw’obutonde bwabyo obw’enjawulo obugonvu nga kuliko engeri y'ebintu ebiserera nga binyirikita wabula nga osobola okukigaala engeri gyekiri nti kibeera kigoonda nadala emisuwa n'ediba, era supu abivaamu abeera mulungi nadala mu magumba. Wadde kiri kityo, okusobola okukifuna nga kigonda bulungi, olina okukifumba okumala ebanga eriwera, oba okukozesa kuuka eya puleesa okumala ebbanga eddene ng’ofumba, oba pressure cooker eyinza okukozesebwa mu kaseera kano, nga eno eba egenda kugya amazzi okuva mu bigere bino okugenda mu ssupu.
Mu by'obuwangwa, mu mere y’Amawanga g’Omubugwanjuba, ekigere tekitera kuliibwa, tebitera kutekebwa mu nnyama y’ente esaliddwa mu biseera bya bulijjo, nga batera kwekaanya magulu gokka. Nga wadde kiri kityo, ekitundu ekisaliddwa kitera okuteekebwamu ng’ekimu ku bitundu by’ennyama y’ente.
Mu [./Indonesian_cuisinehttps://en.wikipedia.org/wiki/Indonesian_cuisine mere y’e Indonesia], ekigere ky'ente kitwalibwa ng'ebimu kubisinga okubawomera. Gulai tunjang oba gulai kaki sapi by'ebimu kubirungo ebitekebwa mu kigere ky'ente nga kimanyikiddwa mu kutekebwa mu mere ya Padang. Soto kaki sapi kika kya ssupu wa Soto abeera alungiddwa n'ebirungo ng'atekeddwamu ebinywa, amagumba ag'ekute n'ediba okuva ku lususu lw'ekigere ky'ente. Ssupu ono yettanirwa nnyo mu Indonesia naddala mu mere ya Betawi.
Ebika by'emere
[kyusa | kolera mu edit source]
- Caldo de Mocotó, ssupu w'ekigere ky’ente e Brazil, eyettanirwa ennyo mu Bitundu by'Omubukiikakkono bw'omubuvanjuba
- Situloberi y’ebigere by’ente mu Jamaica
- El Hergma/Hargma (الهركمة) oba El-Ker'ine/Ker3ine (الكرعين) mu mawanga ga Maghreb (Tunisia, Algeria, Morocco). Ekika ky'emere y’ekinnansi omubeera ebigere by’ente, obuyana oba ekyana ky’endiga nga kuliko omusingi ogwefananyiriza ensigo ya kawo ne ssupu w'amazzi alimu ebirungo.
- Gulai tunjang, ekirungo ky'ekigere ky’ente eyitibwa mu mere ya Minangkabau mu Indonesia
- Kare-kare mu Philippines esobola okukozesa ekigere ky'ente
- Kaware' ( كوارع ) mu Misiri
- Khash mu Armenia, Azerbaijan ne Iran, era emanyiddwa nga pacha mu Iraq ne Butuluuki
- Makongoro mu Tanzania
- Mangqina/Mazondo mu Zimbabwe
- Mão de vaca, mu mere ey’ekinnansi ey’e Cabo Verde, ye ssupu w’ekigere ky'ente akolebwa nga bakozesa ensigo ezefaananyiriza kawo. [ <span title="This claim needs references to reliable sources. (November 2021)">okujuliza kwetaagisa</span> ]
- Mie kocok, ssupu w’enyama y'ente mu Indonesia ow'amakolooni, alimu ssupu w’enyama y'ente ow'amazzi nga talimu kintu kyonna, ebinywa by'enyama y'ente oba ebitundu by’ebigere by'ente ebisalidwa saliddwa n'ebijanjalo ebiriko obukoola wamu n'enyama ekoleddwa ng'obupiira.
- Nkwobi mu Nigeria
- Paya mu Pakistan
- Sagol mu mere y’e Korea
- Soto mie ssupu w'akulooni amanyikiddwa nga Bogor akozesa ebigere by'ente ebisaliddwa saliddwa okuva mu Indonesia.
- Soto kaki sapi, ssupu w'ekigere ky'ente ow'ebirungo mu mere y'e Indonesia
- Thlakwana mu South Africa.[2][3]
- Yam tin khwai mu mere y’e Thailand, ssupu atekeddwamu ebirungo era ssupu akaawa mu Bukiikakkono bwa Thailand akolebwa okuva mu kigere ky'embogo ey’omu mazzi.
Laba ne
[kyusa | kolera mu edit source]Ebijuliziddwa
[kyusa | kolera mu edit source]- ↑ Williams, Hazelann (2 October 2012). "Sole food: the eating of feet. Feet are the foundation of many a good meal from the Caribbean to China". The Guardian.
- ↑ https://www.regoseatery.wordpress.com/2019/04/05/ditlhakwana/amp/date
- ↑ https://meplusfood.com/