Crispin Kaheru
| Ekikula | musajja |
|---|---|
| Ensi y’obutuuze | Yuganda |
| Yazaalibwa nga | 1983 |
| Omulimu | human rights defender |
Crispin Kugiza Kaheru ( yazaalibwa 20,Ogwokusatu 1983) mulwanirizi wa ddembe lya buntu munnayuganda, mu kiseera aweereza ku bukulembeze bw’akakiiko kano nga mmemba ku kakiiko akavunaanyizibwa ku ddembe ly’obuntu mu Uganda . [1] [2] [3] [4] [5] [6] [7] [8]
Okusoma kwe
[kyusa | kolera mu edit source]Kaheru pulayimale yagisomera Ku Kabalega Primary School oluvannyuma n’agenda e Bungereza, gye yamalira emisomo gye egya siniya ng’ayita mu kusoma awaka. [1] Oluvannyuma yakomawo natuula ebigezo bye eby'omutendera gwa siniya eyookuna (Uganda Certificate of Education) ku Masindi Academy. [1] Oluvannyuma yeegatta ku Busoga College Mwiri ku kusoma kwe okwa satifikeeti ya siniya eyomukaaga (Uganda Advanced Certificate of Education) . [1] Mu 2005, yafuna ddiguli esooka mu byobufuzi okuva mu yunivasite y'e Makerere . [1] Mu 2009, yafuna dipulooma eddirira ddiguli essooka (Postgraduate Diploma) mu by'emirembe n'ebyokwerinda okuva mu yunivasite y'e Complutense University of Madrid . [1] Mu 2012, yatikkirwa ddiguli eyookubiri mu by'okuddukanya emirimu gya gavumenti n'okuddukanya emirimu okuva mu yunivasite y'e Makerere . [1] Mu 2018, yamaliriza omusomo ku kuyiga nga bwokola mu (Problem Driven Iterative Adaptation-PDIA) ku ssomero lya Gavumenti erya John F. Kennedy. [1] Okugatta ku misomo gye emitongole egyomukibiina, Kaheru yeetaba mu misomo gy’okutendeka enzirukanya y’ebyokulonda egyategekebwa African Union's Department of Political Affairs, the European Union's Election Observation and Democracy Support National Democratic Institute (NDI), International republican Institute (IRI), n'ekitongole kya Electoral Institute for Sustainable Democracy in Africa (EISA). [1] Mu 2003, yeetaba mu ttendekero lya East African Uongozi Summer Institute mu Yunivasite y’e Dar es Salaam. Mu 2005, yali mmemba ku kibinja ekyasooka mu nteekateeka ya British Council's Inter Action Leadership Programme. [1]
Ebyafaayo eby’obuntu n’eby’emirimu
[kyusa | kolera mu edit source]Yazaalibwa 20, Ogwokusatu 1983, mu disitulikiti y’e Masindi, eri bazadde be Micheal Stephen Kaheru ne Christine Namakula Kaheru. [1] Kitaawe yali addukanya mirimu gya gavumenti ate nnyina yali musomesa. [1] Mukyala we ye Jemimah Naburri gwe yasisinkana nga 20, Ogwokusatu 2005. Balina abaana babiri ab’obuwala okuli Crystal Kaheru ne Imara Kaheru. [1]
Kaheru yali munna kibiina kya Ford Foundation mu 2005, bweyali atandise gye yali atandise emirimu gye ku kakiiko ka Uganda ak’ebyokulonda[1] .Oluvannyuma yeegatta ku International Republican Institute (IRI) mu 2006 nga Program Assistant era n'akuzibwa n'afuulibwa Assistant Program Officer ne Program Officer mu ofiisi za IRI mu Uganda, Bangladesh, Pakistan ne Amerika wakati wa 2006 ne 2009. [1] Bwe yakomawo mu Uganda mu 2009, yeegatta ku Citizens' Coalition for Electoral Democracy in Uganda (CCEDU) . ng'omukwanaganya waayo era n’alekulira ekifo kye nga 11th October, 2019 oluvannyuma lw’okumala emyaka mwenda mu CCEDU. [1] [9] [10] [11] [12] [13]
memba ku lukiiko olufuzi olwa Media Focus International (MFI) okuva mu 2014, akakiiko k’ebyokulonda ak’ekibiina ekigatta bannamateeka abakyala mu Uganda (FIDA-U) okuva mu 2014, akakiiko akalondoola eby’okulonda mu kibiina ekigatta bannamateeka ekya ssemateeka wa Uganda (ULS) (2015/16), Citizens’ Election Observation Network – Uganda (CEON-U) (2015/16), n’omukago gwa Anti-Corruption Coalition of Uganda (ACCU) okuva mu 2013. [1] Mu 2023, yalondoola okulonda kwa pulezidenti mu Nigeria ng’omukugu mu by’okulonda eyeetongodde. [14] Yalondebwa pulezidenti wa Uganda ng'omu ku bakamisona mu kakiiko akavunaanyizibwa ku ddembe ly'obuntu aka Uganda Human Rights Commission . [4] [6] [7] [15]
Laba ne
[kyusa | kolera mu edit source]Ebijuliziddwa
[kyusa | kolera mu edit source]- https://ugandaradionetwork.net/story/crispin-kaheru-alekulidde-omukwanaganya-wa-gwanga-ccedu?districtId=577
- https://uganda.uk.com/tag/crispin-kaheru/ Omuntu w'abantu: Omuntu w'abantu:
- 1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14 15 16 17 Ivan, Mubiru (2019-10-08). "PROFILE: Who is Crispin Kaheru, the former CCEDU Coordinator?". Watchdog Uganda (in British English). Retrieved 2024-07-24.
- ↑ "Crispin Kaheru". Monitor (in Lungereza). 2020-11-22. Retrieved 2024-07-24.
- ↑ "Crispin Kaheru Archives". The Independent Uganda (in American English). Retrieved 2024-07-24.
- 1 2 KAZIBWE, KENNETH (24 August 2021). "Museveni appoints former Minister Lokodo, Crispin Kaheru to Human Rights Commission". Nile Post. p. 1. Retrieved 24 July 2024.
- ↑ "Crispin Kaheru Archives - Page 2 of 3". The Independent Uganda (in American English). Retrieved 2024-07-24.
- 1 2 "Parts of Beijing locked down due to fresh virus cluster". New Vision (in Lungereza). Retrieved 2024-07-24.
- 1 2 "Global forum tipped on people-centered democracy". PML Daily (in American English). Retrieved 2024-07-24.
- ↑ sabasabaupdates (2021-08-24). "I will 'Carefully' consider the proposal to serve on Human Rights Commission -Crispin Kaheru". Sabasaba Updates (in American English). Retrieved 2024-07-24.
- ↑ "Crispin Kaheru resigns as CCEDU National Coordinator". Monitor (in Lungereza). 2020-09-13. Retrieved 2024-07-24.
- ↑ "Crispin Kaheru | The Kampala Post". kampalapost.com. Retrieved 2024-07-24.
- ↑ Serugo, Geoffery (2019-10-08). "CCEDU boss Crispin Kaheru resigns after nine years at helm". Eagle Online (in British English). Retrieved 2024-07-24.
- ↑ "Breaking News: Crispin Kaheru Resigns from CCEDU". ChimpReports (in American English). 2019-10-08. Retrieved 2024-07-24.
- ↑ "Crispin Kaheru quits CCEDU". NTV Uganda (in Lungereza). 2021-05-29. Archived from the original on 2024-07-24. Retrieved 2024-07-24.
- ↑ "Uganda's Crispin Kaheru to observe Nigeria's presidential polls". NTV Uganda (in Lungereza). 2023-02-24. Retrieved 2024-07-24.
- ↑ "We need more human rights defenders - Kaheru". New Vision (in Lungereza). Retrieved 2024-07-24.