Culton Scovia Nakamya
Culton Scovia Nakamya (yazaalibwa 1993) Munnamawulire wa TV, omulwanirizi w'eddembe ly'eby'amawulire era omutandisi wa "Her Story Uganda".[1][2] Yakola ne BBS Terefayina(TV) okutuusa mu 2024.[1] Yakola nga omusasi wa NTV Uganda ng'asinziira mu Disitulikiti y'e Luweero . Ye mwana owookubiri addirira asembayo nga bwebazaalibwa omusanvu.[2]
Obulamu obwasooka n'okusoma
[kyusa | kolera mu edit source]Mu kiseera kino Nakamya asoma diguli ey'okubiri mu kikula ky’abantu, emikutu gy’amawulire n’obuwangwa mu London School of Economics and Political Science nga avujirirwa sikaala ya Cheveningmu kibinja kya 2024–2025.[3] Yagenda mu Makerere Institute for Social Development, Uganda Film and Television Institute, Balibaseka Secondary School, St. Andrews Primary School, ne St. Pius Naddangira Primary School.
Yayanjula alipoota y'essomero mu maaso g'omumyuka wa Pulezidentimu kiseera ekyo Gilbert Bukenya eyalagibwa ku UTV ( Uganda Broadcasting Corporation kati) ng'ali mu kibiina eky'omukaaga. Olugendo lwe olw'ebyamawulire yalutandikira ku leediyo y'omukitundu esangibwa e Kiwok nga agezesebwa mu 2013.
Emirimu
[kyusa | kolera mu edit source]Yakola nga ne BBS Terefayina (TV) okutuusa mu 2024, yakola nga omusasi wa NTV Uganda ng'asinziirira mu Disitulikiti y’e Luweero. Ye mutandisi wa "Her Story Uganda", eyebuuzibwako ku by'empuliziganya era omutendesi w'ebyokwerinda bya digito .[2] Yakwatibwa mu kulonda kwa bonna okwa 2021 bwe yali ku mulimu ng'alaga ebyali ku eyali avuganya ku bwapulezidenti Robert Kyagulanyi amanyiddwa nga Bobi Wine mu Disitulikiti y'e Kalangala.[4]
Obulamu bwe
[kyusa | kolera mu edit source]Anyumirwa nnyo okukwata vidiyo, okukola ku leediyo n'okulunda embizzi . Awomerwa nyo omuceere n'ennyama y'embizzi .
Awaadi n’okusiimibwa
[kyusa | kolera mu edit source]- Yawangula sikaala ya Chevening Award okugenda e Bungereza mu 2024.[5]
- Yawangula empaka z’okukola lipoota ku bibuga n’okusenga abantu mu 2024.[6]
- Yawangula ekirabo kya Inspiring Female Journalist mu 2023 okuva mu kitongole kya African Center for Media Excellence.[7][6]
- Yasiimibwa aba Rotaract Club eye Lubaga mu 2023. [8]
- Yasiimiddwa ekitongole kya Bannamawulire ekya YMCA Buwambo Campus.
Ebijuliziddwa
[kyusa | kolera mu edit source]- 1 2 https://en.wikipedia.org/wiki/BBS_Terefayina
- 1 2 3 https://en.wikipedia.org/wiki/BBS_Terefayina
- ↑ https://en.wikipedia.org/wiki/Chevening_Scholarship
- ↑ https://en.wikipedia.org/wiki/Digital_security
- ↑ https://en.wikipedia.org/wiki/Pork
- 1 2 https://en.wikipedia.org/wiki/Pork
- ↑ https://en.wikipedia.org/wiki/Pork
- ↑ https://en.wikipedia.org/wiki/Rotaract_Club