Cyprian Bamwoze
| Ekikula | musajja |
|---|---|
| Olunaku lwe yafa | 11 Gwakubiri (Mukutulansanja) 2019 |
Cyprian Kikuni Bamwoze (yazaalibwa nga 15 Ogwokutaano 1934) ye yali Bisopu wa Busoga eyasooka mu Uganda.[1]
Bamwoze yasomera ku Uganda Christian University e Mukono. Yaweebwa obusumba mu 1964.
Obulamu obw'omu buto n'okusoma
[kyusa | kolera mu edit source]Bamwoze yazaalibwa nga 15 Ogwokutaano 1934 eri Birusaani Munhanhanfu ne Budestiana Mukodha mu ggombolola y'e Kitayundhwa mu Disitulikiti y'e Kamuli.[2] Yasomera mu Naminage Primary school mu 1944 ate oluvannyuma n'agenda mu Kamuli Junior school nga tannaba kwegatta ku Busoga College Mwiri mu 1955.[2]
Mu 1960, Bamwoze yayingira okusoma eby'eddiini mu Mukono.[2] Oluvannyuma yagenda mu Bungereza okusoma eby'eddiini era n'aweebwa obwawule mu 1963.[2] Bamwoze era yalina diguli mu by'eddiini ne Firosoofa gye yafuna okuva mu Makerere University mu 1967.[2]
Omulimu gw'okola
[kyusa | kolera mu edit source]Yaweereza mu Bulabirizi bwa Namirembe okutuusa mu 1972 okutuusa lwe yalondebwa nga bisopu.[3] Bamwoze yatuuzibwa ku Bwabisopu nga Agusito 06, 1972 era n'atuuzibwa nga Bisopu asooka ow'Obulabirizi bw'Abasoga Anglican nga Agusito 13, 1972.[4] Bamwoze yawummula mu 1998 oluvannyuma lw'okubeera ku ntikko y'Obulabirizi okumala emyaka 26[5] era n'adda mu bigere bya Michael Kyomya.
Obulamu bw'omuntu ng'omuntu
[kyusa | kolera mu edit source]Bamwoze yali yawasa Beatrice Bamwoze era nga baazaala abaana 6.[2] Beatrice yafa mu 1986 era Bamwoze n'awasa Naome Bamwoze eyafa mu 2016.[6]
Obutakkaanya
[kyusa | kolera mu edit source]Nga Ssebutemba 22, 1992, Abakrisitaayo mu Busoga Diocese baatuula mu lukiiko mwe baayisiza okusalawo okw'obutaba na bwesige mu bukulembeze bwa Bamwoze.[7] Bamwoze yanenyezebwa olw'okukozesa obubi ensimbi n'obukulembeze obubi.[7]
Wabula, Bamwoze era yasiimibwa olw'okuba nga yali ayagala enkulaakulana mu kitundu kya Busoga mu kiseera kye nga bisopu.[8][9]
Okufa
[kyusa | kolera mu edit source]Yafa nga 11 Ogwokubiri 2019 oluvannyuma lw'okufuna obulwadde bwa Leukemia ku Uganda Cancer institute.[5][2]
Ebijuliziddwaamu
[kyusa | kolera mu edit source]- ↑ "Retired Bishop of Busoga Cyprian Bamwoze dead". Monitor (in Lungereza). 2020-09-27. Retrieved 2026-08-04.
- 1 2 3 4 5 6 7 Baleke, Trevor S. (2019-02-17). "Busoga's Pioneer Bishop, Bamwoze laid to rest". Eagle Online (in British English). Retrieved 2026-08-04.
- ↑ Crockford's Clerical Directory (in Lungereza). 2026-06-30.
- ↑ independent, The (2019-02-12). "Bishop Bamwoze's legacy lives on". The Independent Uganda: (in American English). Retrieved 2026-08-04.
{{cite web}}: CS1 maint: extra punctuation (link) - 1 2 "Retired Bishop of Busoga Cyprian Bamwoze dead". Monitor (in Lungereza). 2020-09-27. Retrieved 2026-08-04.
- ↑ "Mourners: Bishop Bamwoze's Legacy Lives On :". Uganda Radionetwork (in Lungereza). Retrieved 2026-08-04.
- 1 2 Reporter,, Vision. (New Vision). "Today in history: Bishop Cyprian Bamwoze accused of poor administration"". New vision. p. 1. Retrieved 2025-12-15.
{{cite news}}: Check date values in:|date=(help)CS1 maint: extra punctuation (link) CS1 maint: url-status (link) - ↑ Trust, Busoga (2019-05-10). "Bishop Cyprian Bamwoze 1933-2019". busoga-trust (in Lungereza). Retrieved 2026-08-04.
- ↑ Reporter,, Vision (15/12/2025). ""The life and times of Bamwoze"". New Vision. p. 1. Retrieved 15/12/2025.
{{cite news}}: Check date values in:|access-date=,|date=, and|archive-date=(help)CS1 maint: extra punctuation (link) CS1 maint: url-status (link)