Cyril Handley Bird
| Ekikula | musajja | |
|---|---|---|
| Erinnya eriweereddwa | Кирилл | |
| Yazaalibwa nga | 3 Gwamukaaga(Ssebaaseka) 1896 | |
| Olunaku lwe yafa | 27 Gwakusatu(Mugulansigo) 1969 | |
| Omulimu | civil servant | |
| Awaadi z'afunye | Commander of the Order of the British Empire, Knight Bachelor | |
Sir Cyril Handley Bird, CBE (yazaalibwa nga 3 Ogwomukakkaga 1896 – 27 Ogwokusatu 1969) yali musuubuzi era munnabyabufuzi Omuzungu. Yaweereza ku lukiiko olufuzi olwa Uganda Legislative Council okuva mu 1947 okutuuka mu 1955, nga tannalondebwa kubeera Minisita w’ebyobusuubuzi n’emirimu mu Uganda eyasooka (1955 okutuuka mu 1958) wansi w’enkola ya baminisita eyasooka mu ggwanga eryo.[1]
EmiIlimu gye
[kyusa | kolera mu edit source]Cyril Handley Bird yazaalibwa nga 3 omwezi gwomukaaga1896, mutabani wa Herbert Handley Bird;[2][3] mutabani wa kabona w’Abangereza, Herbert (amanyiddwa nga Handley Bird) yali muminsani eyasooka okuva e Bristol okugenda e Canada ku ntandikwa y’emyaka gya 1880, naye mu 1888 n’ageion née Miller; omulimu gwe eyo gnda e Buyindi, gye yeegattibwako omugole we n’oluvannyuma mukyala we Marwali gwa buwanguzi nnyo era yasobola okukyusa Abayindi abatabalika nga tannafa mu Bombay mu 1938.[4]
Cyril Handley Bird yasomera mu St Lawrence College nga tannasoma mu yunivasite y'e Bristol. Yaweereza mu kibiina kya British Red Cross Society mu Ssematalo I,[2] ng'akolera mu Bufalansa.[5] Oluvannyuma yagenda mu Afrika, n’akola ng’omusuubuzi mu Nigeria okuva mu 1920, n’oluvannyuma n’akola ng’omusuubuzi mu Buvanjuba bwa Afrika okumala emyaka kumpi 30 okuva mu 1924.[2] Yaweereza nga pulezidenti w’ekibiina ekigatta abasuubuzi mu Uganda okuva mu 1942 okutuuka mu 1946, n’oluvannyuma n’abeera mmemba ku lukiiko lw’amasannyalaze olwa Uganda okuva mu 1948 okutuuka mu 1955; Bird yali alondeddwa ku lukiiko lwa Uganda Legislative Council mu 1947 era naye yaweereza okutuusa mu 1955, lwe yalondebwa okuba Minisita w’ebyobusuubuzi n’emirimu mu August eyo. Yava mu gavumenti mu October 1958, era n’aweebwa ekitiibwa kya knight omwaka ogwo (nga yalondebwa okuba Commander of the Order of the British Empire emyaka esatu emabega). Era yali abadde konsula ow'ekitiibwa mu Bubirigi okuva mu 1937 okutuuka mu 1955.[2][6]
Sir Cyril yafa nga 27 omwezi gwokusatu 1969, n’aleka nnamwandu, Signa Elaine Handley née Garside n’omuwala omu.[2] Yayogerwako mu lupapula lwa The Times nga "omusuubuzi ow'ekitiibwa", "omusuubuzi omugezi ow'obwesiimbu obw'amaanyi".[5]
Ebitabo eby’edda
[kyusa | kolera mu edit source]- "Empapula za Sir Cyril Handley Bird", Bodleian Library, Yunivasite y'a Oxford (ennamba ya GB 0162 MSS.Afr.s.1674). 1 ekibokisi ky’empapula, 1943–1959.
Ebijuliziddwa
[kyusa | kolera mu edit source]- ↑ "Uganda Central Government: First Ministers Announced", The Times (London), 1 August 1955, p. 5.
- 1 2 3 4 5 "Bird, Sir Cyril Handley", Who Was Who (online edition, Oxford University Press, December 2007). Retrieved 25 March 2018.
- ↑ Debrett's Peerage, Baronetage, Knightage, and Companionage (Kelly's Directories, 1963), p. 1010.
- ↑ "Papers of Handley Bird (University of Manchester)", JISC Archives Hub. Retrieved 25 March 2018.
- 1 2 "Sir Handley Bird", The Times (London), 7 April 1969, p. 8.
- ↑ "Obituary", The Times (London) 2 April 1969, p. 12.