Damalie Kisosonkole
Damalie Kisosonkole era amanyiddwa nga Damalie Nnakawombe Kisosonkole yazaalibwa mu 1929 eri CM Kisosonkole eyali ssaabaminisita ku mulembe gwa Kabaka Daudi Chwaa era nga ye nnyina wa Ham Mukasa, omukulu w’e Ssaza erye Kyaggwe.[1] Ye yali Omukyala wa Mutesa II nga ye mukulembeze wa Uganda wakati wa 1962 ne 1966.[2]
Obulamu bwe
[kyusa | kolera mu edit source]Yali mukyala (Nabagereka) eyasooka eri Buganda, Kabaka Eward Mutesa II eyafa mu 1969. [3][4] Damalie oluvannyuma yafa ku myaka 81 ku Olusooka nga 12 Ogw'omusanvu 2010 oluvannyuma lw’okulwalira ebbanga eddene mu ddwaaliro e Nakasero.[1] Yagattibwa ne Mutesa II ku Lwomukaaga 19, Ogw'ekkuminogumu 1948 mu Lutikko e Namirembe.[1] Yalina ebyafaayo eby’enjawulo ebyekuusa ku kutandikawo kw'eddwaaliro erye Mengo .[1] Baasooka kusisinkana mu King's College Buddo bombi gye baali basomera nga tebannafumbiriganwa.[1] Yaleka abaana babiri; Dorothy Nassolo Kabonesa aweereza mu minisitule y’eby'obulamu nga omuwandiisi omubeezi ne Henry Kalemeera akola ne kkampuni y’ennyonyi mu Bungereza. [1]
Okusoma
[kyusa | kolera mu edit source]Damalie yasomera pulayimale mu Buddo Junior School oluvannyuma n’ayingira mu King’s College Buddo oluvannyuma n’ayingira Shabon College mu Great Britain ng’omufirika eyasooka okubeera mu ttendekero lino.