Jump to content

Damiano Giulio Guzzetti

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

Damiano Giulio Guzzetti (yazaalibwa 15 Omwezi ogwomusanvu 1959), musaasserodooti mu ekeleziyz katulika enzaalwa y'e Yitale era aweereza ng'omusumba w'essaza ly'obukatuliki ery'e Moroto, mu Uganda, okuva nga 20 Omwezi ogwokubiri 2014. [1]

Obuvo bwe n’obusaaserodooti

[kyusa | kolera mu edit source]

Guzzetti yazaalibwa nga 15 Omwezi ogwomusanvu 1959, mu kabuga k'e Lombardy, mu ssaza ly'obukatuliki ekkulu ery'e Milan, mu bukiikakkono bwa Yitale . Yayatula era n'alangirira mu lujjudde nga mmemba w'abaminsani abeegattira mu kibiina kya Kkomboni (Comboni Missionaries) ab'omutima gwa Yeezu nga 25 Omwezi ogwokutaano 1985. Yakuba ebirayiro eby’olubeerera / ebyobulamu bwe bwonna eby’Abaminsani abeegattira mu kibiina kya kkomboni ( Comboni Missionaries) nga 27 Omwezi ogwokusatu 1989. Yatuuzibwa ku bwa kabona nga 23 Omwezi ogwomwenda 1989. Yaweereza nga kabona w’ekibiina ky'abaminsani abeegattira mu kibiina kya ba Kkomboni ab'omutima gwa Yeezu okutuusa nga 20 Omwezi ogwokubiri 2014. [1] [2]

Yalondebwa okuba Omusumba w’essaza ly'obukatuliki ery'e Moroto nga 20 Omwezi ogwokubiri 2014 era n’atukuzibwa ng’omusumba e Moroto nga 24 Omwezi ogwokutaano 2014 nga yatukuzibwa Ssaabasumba Emmanuel Obbo, Ssaabasumba w'e Tororo, ng’ayambibwako Omusumba Henry Apaloryamam Ssentongo, Omusumba w’e Moroto ne Ssaabalabirizi Michael August Blume, Ssaabalabirizi atalina buyinza ow’e Alexanum. [1] [3]

Emmeeza y’okusikira e Moroto

[kyusa | kolera mu edit source]

Template:S-start Template:S-rel Template:Succession box Template:S-end Ebitiibwa by'ekereziya

Yasikira Omusumba w'eMoroto Yasikirwa

Henry 2014 okutuusa leero Aliko kati

Apaloryamam

Ssentongo

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. David M. Cheney (9 July 2019). "Bishop Damiano Giulio Guzzetti, MCCI: Bishop of Moroto, Uganda". Kansas City: Catholic-Hierarchy.org. Retrieved 11 August 2019.
  2. Comboni Missionaries Uganda (16 January 2018). "Consecration of Bishop Damiano". Kampala: Comboni Missionaries Uganda. Archived from the original on 11 August 2019. Retrieved 11 August 2019.
  3. Olandason Wanyama (26 May 2014). "Moroto Bishop Consecrated Amidst Challenges". Kampala: Uganda Radio Network. Retrieved 11 August 2019.

Ebijuliziddwa wabweru wa wikipedia

[kyusa | kolera mu edit source]

 

  1. 1 2 3 David M. Cheney (9 July 2019). "Bishop Damiano Giulio Guzzetti, MCCI: Bishop of Moroto, Uganda". Kansas City: Catholic-Hierarchy.org. Retrieved 11 August 2019.
  2. Comboni Missionaries Uganda (16 January 2018). "Consecration of Bishop Damiano". Comboni Missionaries Uganda. Archived from the original on 11 August 2019. Retrieved 11 August 2019.
  3. Olandason Wanyama (26 May 2014). "Moroto Bishop Consecrated Amidst Challenges". Uganda Radio Network. Retrieved 11 August 2019.