Dani Wadada Nabudere
| Ekikula | musajja | |
|---|---|---|
| Ensi y’obutuuze | Uganda | |
| Erinnya eriweereddwa | Dani, Wadada | |
| Yazaalibwa nga | 15 Gwakkuminebiri(Ntenvu) 1932 | |
| Gy'azaalwa | Budadiri | |
| Olunaku lwe yafa | 9 Gwakkuminogumu(Museenene) 2011 | |
| Place of death | Wanale Division | |
| Ennimi z'amanyi | Lungereza | |
| Omulimu | munnamateeka, economist, political scientist, munnabyabufuzi, Minisita | |
| Ekifo ky'alimu | Justice Minister of Uganda | |
Dani Wadada Nabudere (15 Ogwekkumineebiri 1932 – 9 Ogwekkuminoogumu 2011) yali Munnayuganda omuyivu, Omulwanirizi w'enkolagana mu mawanga ga Africa, munnamateeka, munnabyabufuzi, omuwandiisi, munnasaayansi w'ebyobufuzi, era omukugu mu nkulaakulana. Mu kiseera we yafiira, yali Pulofeesa mu Yunivasite y’Obusiraamu era nga ye dayirekita w’ekitongole kya Marcus Garvey Pan-Afrikan Institute,e Mbale mu Uganda.
Omulimu gwe ogw’ebyobufuzi, ogw’amagezi n’ogwabantu mu bitundu gw'amala ekiseera ekyasukka mu kitundu ky’ekyasa ng’akola emirimu gya gavumenti. Yali mwogezi, mukubiriza w'abantu era nga muwandiisi wa bitabo bingi. Mu nsonga ze yawandiikako mwalimu obusobozi bw'abantu okufuna emmere emala, emirembe, ensibuko z’okumanya, omulimu gwa Africa mu kwongera obuntu bulamu mu nsi, okuyiga mu bulamu bwonna, obwegassi okusala ensalo, ebyenfuna mu byobufuzi by’ensi yonna, Obulwanirizi bw'enkolagana mu mawanga ga Africa, okulwanirira ebiruubirirwa ebyawamu, obwenkanya mu kutegeera, ebifo awaggyibwa okumanya mu bantu, enfuga ey’okuzzaawo, ebyenfuna, n’obwenkanya.
Pulofeesa Nabudere yali Minisita w’obwenkanya owa Uganda mu 1979 ate Minisita w’ebyobuwangwa, enkulaakulana y’abantu, n’okuddaabiriza Uganda mu 1979–1980 mu Gavumenti ya Uganda ey’ekiseera eya UNLF . Yali Pulezidenti w’ekibiina ekigatta bannassaayansi w’ebyobufuzi mu Africa ekya African Association of Political Science eyasooka [1]era omumyuka wa pulezidenti w’ekibiina ekigatta bannanssaayansi w'ebyobufuzi mu nsi yonna ekya International Political Science Association (IPSA) okuva mu 1985 okutuuka mu 1988. [ <span title="This claim needs references to reliable sources. (February 2024)">citation needed</span> ] Ye yali mutandisi era omukulu w’ettendekero lya Marcus Garvey Pan-Afrikan Institute (MPAI), Mbale, Uganda. Mu myaka kkumi egyasembayo egy’obulamu bwe, Nabudere yali yakola ku ky’okutandikawo ebibiina by’abantu aba wansi okuyamba abantu b’omu byalo n’okusitula amaloboozi gaabwe ku nsonga ezikwata ku bulamu bwabwe. [2]
Obuto n’okusoma kwe
[kyusa | kolera mu edit source]Dani Wadada Nabudere yazaalibwa nga 15 Ogwekkumineebiri 1932, e Budadiri, Uganda, mu maka g’oku kyalo Bumayamba e Buyobo. [3]
Nabudere yasomera Bugisu oluvannyuma n'amaliririza ku ssomero lya Aggrey Memorial College e Bunamwaya. Yafuuka omukozi ku post wandiisi wa posta okumala emyaka egiwerako, nga tannasaba kusoma mateeka mu Bungereza . [4] Ku ntandikwa y'emyaka gya 1960 yagenda e Bungereza okusoma amateeka, era n'afuna Diguli esooka mu Mateeka mu 1963, era n'akkirizibwa nga Barrister at Law, mu Lincoln's Inn, London. [3] [5]
Emirimu gye
[kyusa | kolera mu edit source]Mu kibiina kya Uganda Independence movement
[kyusa | kolera mu edit source]Nabudere yalinnya mu byobufuzi by’eggwanga mu myaka gya 1960. Ng’akyali muyizi e London mu 1961, yali mmemba ku kakiiko akafuzi ak’ekibiina ekigatta abayizi ba Uganda ekya United Kingdom Uganda Students Association ng’ali wamu ne Yash Tandon, Ateker Ejalu, Chango Machyo, ne Edward Rugumayo, nga bonna oluvannyuma baalina okukola ekinene mu byafaayo bya Uganda. Ekibiina kya UGASA kyali ky'enyigira mu kuyamba okusitula ebirowoozo by'obufuzi mu bavubuka Bannayuganda abasoma oba abakolera e Bungereza ne mu Bulaaya. Ekimu ku bikulu ebyakolebwa ekibiina kino kwe kunoonya ababaka ba palamenti ya Bungereza nga Uganda efuna obwetwaze. [6] [7]
Okulwanirira eddembe mu gavumenti ya Obote
[kyusa | kolera mu edit source]Bwe yakomawo okuva e Bungereza mu 1964, yatandika okukyayibwa mu kibiina kya Uganda People's Congress oba UPC. UPC kyali kibiina kya Bannayuganda ekitaavanga ku nsonga. Ssaabawandiisi waayo mu kiseera ekyo, John Kakonge, yalina enkolagana ennene ne bannabyabufuzi abaali bakkiririza mu mwenkanonkano mu bantu bonna, era ng’alina abavubuka bangi abaali bamukkiririzaamu mu kibiina, nga mu bo mwe mwali Nabudere. Mu lukungaana lw’ekibiina e Gulu mu 1964, ab'okukkono baawangulwa Milton Obote n’obukulembeze bw’ekibiina obukulu. [8]
Era yali, mukkiriza mu ndowooza y'aba Marxist ey'omwenkanonkano mu bantu b'eggwanga, eyitibwa ey'aba Komunisiti mu kiseera gavumenti ya UPC mu kiseera ekyo, bwe yali ewakanyizibwa ng'abantu bawakanya endowoooza eyo. Mu 1965 yagobwa mu kibiina nga bali wamu ne Kirunda Kivejinja, Jaberi Bidandi-Ssali, ne Kintu Musoke . Kyokka ne bwe yagobwa mu UPC, Nabudere yasigala ng’avuganya ekiwayi kya Obote nga mugumu wamu ne banne. Mu kiseera kye kimu, Nabudere ne Raiti Omongin baali baakakola ekibiina ky’Abamao ekyasooka mu Uganda. Mu kiseera ekyo, Nabudere naye yali akoze kinene mu nteeseganya z'okwegatta wakati wa Zanzibar ne Tanganyika .
Obote bwe yaggyawo ebibiina by’obufuzi n’alangirira eggwanga ery’ekibiina ekimu mu 1969, Nabudere yagwa mu buzibu bwe yagenda mu maaso n’okulwanirira ebibiina. Emabegako mu 1963, yali yatondawo ekibiina kya bannakyewa e Mbale ekyayitibwanga Uganda Vietnam Solidarity Committee nga omulimu gwakyo gwali gwa kukola kampeyini ez’okulwanyisa obufuzi bwa America n’obulumbaganyi bwayo mu Vietnam.
Mu Gwomwenda 1965, Nabudere yavunaanibwa omubaka wa Palamenti ya Uganda okutegeka "olukwe lw'abakomunisiti" okuggyako gavumenti. Mu Gwekkuminebiri 1969, oluvannyuma lw’okugezaako okutta Obote mu lukungaana lwa UPC, Nabudere (n'abalala) baakwatibwa ne bateekebwa mu kaduukulu mu mateeka ag’amangu. Yayimbulwa ku nkomerero y'Ogwekkumineebiri1970.
Wansi wa gavumenti ya Idi Amin
[kyusa | kolera mu edit source]Idi Amin bwe yakwata obuyinza mu Gwolubereberye 1971, Bannayuganda abawerako ku ludda oluwakanya baasalawo okukolagana ne gavumenti ya Amin, kyokka mu bbanga ttono ne baggwaamu essuubi, era okutandika ne Rugumayo, abawerako ne balekulira gavumenti eno mu 1972. Nabudere yalondebwa Idi Amin mu 1971 nga ssentebe wa East Africa Railways and Harbors ng’asinziira e Nairobi,Kenya, wabula mu 1974 mu kuwakanya obukambwe bwa Amin yalekulira n’agenda e Tanzania gye yafuuka omu ku bakulembeze b’ekibiina ekyali kirwanyisa Amin. [6]
Emyaka gya 1970: Okuwangangusibwa e Dar Es Salaam n'Okukubaganya ebirowoozo
[kyusa | kolera mu edit source]Ng’omusomesa, Nabudere yali wa nkizo nnyo mu kukubaganya ebirowoozo oba dibeeti waakiri ez'emirundi esatu egy’amaanyi mu by’obufuzi n’eby’enjigiriza mu Yunivasite y’e Dar es Salaam ku nkomerero y’emyaka gya 1960 n’emyaka kkumi egy’omu gy'o 1970. [9] Okukubaganya ebirowoozo kuno okwalimu okuyigiriza, kwayatiikirira era kwagobererwa nnyo mu kiseera ekyo, era kwatondebwawo mu mulembe gw’amawanga ga Africa agaali gaakafuna obwetwaze, ng’abakulembeze b’ebyobufuzi nga Julius Nyerere, Kwame Nkrumah, oba Sekou Touré, n’abasomesa nga Nabudere, Mamdani, oba Cheikh Anta Diop bonna bameggananga n’okutumbula, ensonga ezaakwatnfga ku miramwa okwali Obumu mu Africa, Omuwenkanonkano mu bantu bonna, n'endowooza z'okuba N'obumu mu Mawanga ga Africa, oba okukwata endowooza y’enkulaakulana ey’amawanga g’ebweru mu mbeera za Afirica. [10]
Dibeeti eyasooka yali ekwata ku Tanzania, ekkubo mwe yali edda n’engeri gye yali eyinza okulaga ekkubo eri Africa yonna okutuuka ku kigendererwa ekisembayo eky'obumu. Okusinga yali ku kubaganya birowoozo mu bagumu mu Tanzania, oluusi nga beegattibwako abalala okuva ebweru wa Tanzania nga Walter Rodney ne Nabudere. [11]
Ey'okubiri yali ya kukubaganya birowoozo okusinga mu Bannayuganda abasomesa mu yunivasite eno naddala mu kitongole kya Sayansi w’Ensi, ku ngeri enjigiriza ebaddewo mu misomo gyabwe gy’eyinza okusoomoozebwa n’okukyusibwa okulaga embeera n’embeera z’Afirika. [6]
Eyokusatu yali ya kukubaganya birowoozo okusinga wakati w'aBannayuganda ku "Kasozi" nga Makerere University bwe yayitibwanga, era abaali babeera mu buwanganguse mu Buvanjubabwa Africa oluusi ne beegatta n'abalala ne bwe baali ebweru w'o Buvanjuba bwa Africa. [12] Ekintu kino erudda kyaluŋŋamizibwa ekitabo kya Nabudere ekya ‘Imperialism and Revolution in Uganda’ (1980) n’okuwa ebirowoozo ku kitabo ekyo okwakolebwa Mahmood Mamdani, Harkishan Bhagat, ne Karim Hirji . Oluvannyuma okukubaganya ebirowoozo kuno kwaddamu okufulumizibwa ng’ekitabo ekyayitibwa ‘The Dar es Salaam Debate on Class, State and Imperialism’ (1982), ekyatereezebwa Yash Tandon, nga ennyanjula yakolebwa Mohammad Babu, Marxist eyali omumanyifu mu okuva e Zanzibar. [13] ' Okukubaganya ebirowoozo' kwalina omugaso mu by'obwongo, mu kusomesa era n'ebyobufuzi n'obukodyo eri Uganda naye ne Africa n'ensi endala ezitannakulaakulana . [14] Amakulu g’okukubaganya ebirowoozo kuno, okwali kukwese nga kugenda mu maaso, geeyoleka bulungi mu myezi egyasooka egya 1979, ng’ensonga ezo zennyini zifuna ekifo eky’omugaso mu by’obufuzi oluvannyuma lwa Amin okulumbwa Tanzania mu Gwekkumineebiri 1978 . Tanzania yagaana obulumbaganyi buno kyokka mu kiseera ekyo Pulezidenti wa Tanzania Julius Nyerere yafuna obuzibu mu kusalawo. Yeeyongereyo e Kampala, n'amagye ge bwe gatyo mu ngeri entuufu gafuuke "amagye agaawamba", oba agezeeko okuteekawo oludda lw'ebyobufuzi olwa Uganda olulina obumu olutaaliwo okutwala obuyinza bwa gavumenti? Yasalawo ku ekyo ekisembyeyo. Wabula okuteekawo obumu bw’enjuyi ezaali zitakwatagana mu Uganda ky'ali kirooto kyantiisa. [6]
Ekibinja ky’abantu bana n’ekibiina kya Uganda National Liberation Front
[kyusa | kolera mu edit source]Mu kuddamu okunyumya ku kiseera ky’ekibiina ky’ebyobufuzi ekya Uganda National Liberation Front (UNLF), kyali kibiina ky’ebyobufuzi Bannayuganda abaali mu buwanganguse kyebeegattiramu okugoba Amin. Prof. Edward Rugumayo, eyafuuka ssentebe w’olukiiko olufuzi olwa UNLF, agamba nti Nabudere yakola kinene nnyo mu kutondawo ekibiina kino ekyali eky’okununula abantu. Ekibiina kya UNLF bwe kyatandikibwawo olukiiko olufuzi olwamanyibwa nga National Consultative Council (NCC), Nabudere yalondebwa okuba ssentebe w’akakiiko kaalwo ak’ebyobufuzi. Yafuuka omukulembeze ow'enkizo mu NCC, ng’ali wamu ne Edward Rugumayo, Yash Tandon, ne Omwony Ojwok . Okutwalira awamu baali bamanyiddwa nga ‘Akabinja k'abana oba The Gang of Four’, [15] : 128, 128 . 135. Nga erinnya baaliggya ku kabinkja k'aba China abaali abakomunisiti akaali kayitibwa Gang of Four akaayamba ennyo mu kuteekawo enkyukakyuka mu China gye baayita Chinese Cultural Revolution. [16]
Mu gavumenti ya UNLF ey’ekiseera, Nabudere yalondebwa emirundi ebiri okubeera minisita wa gavumenti: mu 1979 yali Minisita w’ebyamateeka ate okuva mu 1979 okutuuka mu 1980, Minisita w’ebyobuwangwa, enkulaakulana y’abantu n’okuddaabiriza abantu. [16]
Gavumenti ya UNLF eyasooka ku mulembe gwa Pulezidenti Yusuf Lule yamala ennaku mukaaga ku munaana zokka. Mu Gwomwenda 1979, yaggyibwa mu buyinza n’akalulu k’okuggyamu obwesige akaatwalibwa mu palamenti ey’enkyukakyuka, era NCC eyakubirizibwa Edward Rugumayo, n'emuggyako mu demokulasiya, n’asikizibwa Pulezidenti Godfrey Binaisa . Enfuga ya Binaisa olwo yeeyaggyibwa mu buyinza akakiiko k’amagye aka UNLF akaakulemberwa Paulo Muwanga ne Yoweri Museveni, era kirabika kaawagirwa Tanzania.
Emyaka gya 1980 n’egyaddirira NRM
[kyusa | kolera mu edit source]Okuwamba gavumenti kw’amagye okwaliwo nga 12 Ogwokutaano, 1980 kwasuula Binaisa ne kuteekaPaulo Muwanga mu buyinza, era kwaleeteera Nabudere okuddukira mu buwanganguse, nga n’abalala abasatu abaali mu ‘kabinja ka gang of four'. [6]
Mu 1982 Nabudere yagenda e Helsingør mu Denmark ng'asomesa mu ssomero lya Folk High School . Guno gwe gumu ku myaka gye yasinga okuvaamu ebibala ng’omuyivu. Yawandiika ekiwandiiko eky’emiko egisukka mu 300 ekiyitibwa ‘The Rise and Fall of Money Capital’, ekyafulumizibwa mu 1990 wansi w’ekibiina ekyali kiyitibwa Africa in Transition, ekibiina eky'atandikibwawo ab’oluganda Yash Tandon ne Vikash Tandon . Okwekenenya ssente okuddamu okutunula mu Marx, Engels, Hilferding, Rosa Luxemburg, ne Keynes, bonna abajja wansi w’okukubaganya ebirowoozo kwa Nabudere. Nabudere yakola okwekenneenya ebyafaayo ku kusituka kwa ssente nga ssente (nga kwawukana ku nkulaakulana yaayo nga kapito), era n’akola okulagula nti ssente zijja kutuuka ekiseera ziwangule kapito n’oluvannyuma zisisinkane okugwa kwazo ng’ekintu eky’okuwola. Kino mu butuufu kye kyaliwo mu myaka ekkumi egyasooka egy'ekyasab kya 21, eky'amanyibwa mu mulembe gwaffe nga "financialization of capital". Kino Nabudere yali yakisuubira dda mu kiseera kye eky’okunoonyereza n’okuwandiika mu Helsingør. Oluvannyuma, ekitabo kino kyafulumizibwa Fahamu, nga kifunziddwa era ne kituumibwa, ‘The Crash of International Finance-Capital and Its Implications for the Third World’ (2009), nga Yash Tandon ye yawandiika ennyanjula. [6] [17]
Nabudere yabeera mu buwanganguse okutuusa mu 1993 Pulezidenti Museveni lwe yamuyita okudda mu ggwanga abeere mu lukiiko lwa Ssemateeka oba Consituent Assembly (CA). [18]
Mu kukomawo kwe, Nabudere, yafuuka omuvumirira wa Museveni ow'amaanyi. Mu bbanga lya CA, Nabudere emirundi mingi yakulembera abakiise b’Olukiiko ku walkouts nga tebakkiriziganya na bammemba ba CA abalala. Era yeegatta ne Aggrey Awori ne bakola ekibiina kya National Caucus for Democracy (NCD), ekibiina ekyali kiteeka CA ku bunkenke. [ <span title="Dead link tagged November 2017">enkolagana enfu ey'olubeerera</span> ]
Ettendekekero lya MPAI ne Afrikology
[kyusa | kolera mu edit source]Nabudere yatandikawo ettendekero lya Marcus Garvey Pan-Afrikan Institute (MPAI) e Mbale mu Uganda, ng'ekigendererwa kyalyo kyali kya kutondawo tterekero ly'okumanya ku ssaayansi wa Africa, firosofe, obusawo n'okumanya okulala ku Africa okw'edda kye yayita "Afrikology". [19] MPAI oluvannyuma yali ya kukulaakulana efuuke yunivasite, nga ye Chancellor-Designate eyasooka. [6] [20]
Okufa kwe
[kyusa | kolera mu edit source]Oluvannyuma lw’okulwala obulwadde bwa sukaali ne puleesa, Nabudere yafiira mu maka ge mu budde bw'okumakya nga 9 Ogwekkuminoogumu 2011. Yasikirwa mukyala we ne mutabani we n’abalala. [21]
Ebiwandiiko bye ebimanyiddwa
[kyusa | kolera mu edit source]Ebitabo bye
[kyusa | kolera mu edit source]- The Political Economy of Imperialism, 1976, Tanzania Publishing House and Zed Press, London;
- Essays on the theory and practice of Imperialism, 1979, Onyx Press, London;
- Imperialism in East Africa, 1980, Zed Press, London (in two volumes);
- Imperialism and Revolution in Uganda, 1980, Onyx Press, London;
- The Crash of International Finance Capital and its implications for the Third World, SAPES Trust, 1989, Harare, Zimbabwe;
- Democracy and the One-Party State in Africa, Institut Für Afrika Kunde, Hamburg, Germany, 1989; yayambibwako P. Meynes mu kutereeza;
- The Rise and Fall of Money Capital, 1990, Afrika in Trust, Harare/London;
- Uganda Referendum 2000: Winners and Losers, Monitor Publications, Kampala;
- Pan-Africanism and Integration in Africa, 2002, SAPES Publications, Harare, Zimbabwe, yayambibwako Ibbo Mandaza mu kutereeza;
- The Global Capitalist Crisis and the Way Forward for Africa, Kampala, 2009.
- The Crash of International Finance Capital and its implications for the Third World, kyaddamu okufulumizibwa Ufahamu, London, 2009.
- Afrikology, Philosophy, and Wholeness: An Epistemology, Africa Institute of South Africa, PRETORIA, Ogwokubiri 2011.
Ebiwandiiko ebirala Ebyalondebwa
[kyusa | kolera mu edit source]- Government should be clear on Obote
- Development theories, knowledge production and emancipatory practice Chapter in 'The development decade? economic and social change in South Africa, 1994–2004', Vishnu Padayachee,
- The Crash of International Finance-Capital and its Implications for the Third World Archived 2023-08-05 at the Wayback Machine
- Brave Faces Won't Resolve New Crisis
Ebijuliziddwa
[kyusa | kolera mu edit source]- ↑ https://www.jstor.org/stable/42003279
- ↑ https://books.google.com/books?id=9QqHFqR3NqgC
- 1 2 https://www.parliament.go.ug/cmis/views/dea3dd9d-1a1e-41a5-82ab-e75033267734%253B1.0
- ↑ https://web.archive.org/web/20241202014441/http://archive.observer.ug/specials/prison/prison200611231.php
- ↑ https://www.oxfordreference.com/display/10.1093/acref/9780195382075.001.0001/acref-9780195382075-e-1485
- 1 2 3 4 5 6 7 https://web.archive.org/web/20160304100437/http://www.pambazuka.net/en/category.php/obituary/83570 Cite error: Invalid
<ref>tag; name "pambazuka.net" defined multiple times with different content. - ↑ http://www.newvision.co.ug/mobile/Detail.aspx?NewsID=629966&CatID=417
- ↑ https://www.jstor.org/stable/42003279
- ↑ https://lg.wikipedia.org/wiki/Special:ContentTranslation?from=en&to=lg&page=Dani+Wadada+Nabudere#:~:text=View-,These%20academic%20and%20political%20debates%20were%20much%20discussed%20in%20the%20academic,active%20in%202021%2C%20and%20continue%20to%20publish%20on%20these%20same%20questions.,-Issues
- ↑ https://www.cambridge.org/core/journals/african-issues/article/abs/from-panafricanism-to-socialism-the-modernization-of-an-african-liberation-ideology/6EFC759EB50451771317CD0C6E196224
- ↑ https://www.jstor.org/stable/721632
- ↑ https://www.monitor.co.ug/uganda/magazines/people-power/talkback-is-govt-finally-giving-in-to-policy-reversal-on-liberalisation--3529400
- ↑ https://www.equatorschool.org/wp-content/uploads/2021/07/Debates-on-State-Class-and-Imperialism-1-of-5-by-Yash-Tandon-z-lib.org_.pdf
- ↑ https://www.equatorschool.org/wp-content/uploads/2021/07/Debates-on-State-Class-and-Imperialism-1-of-5-by-Yash-Tandon-z-lib.org_.pdf
- ↑ https://lg.wikipedia.org/wiki/Special:ContentTranslation?from=en&to=lg&page=Dani+Wadada+Nabudere#:~:text=View-,Mutibwa%2C%20Phares%20Mukasa.%20Uganda%20since%20independence%3A%20A%20story%20of%20unfulfilled%20hopes.%20Africa%20World%20Press%2C%201992.,-Issues
- 1 2 http://www.lse.ac.uk/international-development/Assets/Documents/PDFs/csrc-working-papers-phase-two/wp27.2-collapse-war-and-reconstruction-in-uganda.pdf Cite error: Invalid
<ref>tag; name "Golooba-Mutebi" defined multiple times with different content. - ↑ https://scienceopen.com/hosted-document?doi=10.1080/03056244.2012.688646
- ↑ https://web.archive.org/web/20160304035601/http://independent.co.ug/obituary/4-obituary/4914-prof-nabudere
- ↑ https://en.wikipedia.org/wiki/Wayback_Machine
- ↑ https://pdfproc.lib.msu.edu/?file=/DMC/African+Journals/pdfs/political+science/volume8n1/ajps008001002.pdf
- ↑ https://www.monitor.co.ug/uganda/news/national/prof-nabudere-is-dead-1503136
- Simon, D. (2012). "Remembering Dani Wadada NabudereDavid SimonDavid Simon".
- Ssemutooke, J. (2012). "Dani Nabudere, the constantly critical don." Retrieved August 2015, 2015, from .
- Tandon, Y. (2012). "Nabudere: An uncompromising revolutionary". Archived from the original on 2016-03-04..
- Sserunjogi, E. M. (2011-11-22). "Professor Nabudere, Marxist father of Afrikanism dies". Archived from the original on 2016-03-04.