Jump to content

Daniel David Ntanda Nsereko

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

Daniel David Ntanda Nsereko (yazaalibwa 27 Ogwekkuminogumu 1941) Munnayuganda, mulamuzi era omukugu mu by'amateeka. Yali mmemba w’olukiiko olujulira mu kkooti y’ensi yonna (ICC) okuva mu 2008 okutuuka mu 2012, era mu kiseera kino akola ng’omulamuzi ku kkooti ey’enjawulo eya Lebanon .

Obuto bwe n'emisomo gye

[kyusa | kolera mu edit source]

Nsereko ava mu maka agalimu abaana mwenda. Kitaawe Obadiah Busulwa yali musomesa era omubuulizi mu kkanisa y’Abakulisitaayo, okutuusa lwe yafuuka Omu Adiventi mu 1950. Nsereko yabatizibwa mu kkanisa ya Seventh-day Adventist Church mu 1960, ng’ali mu siniya. [1]

Nsereko yafuna diguli ye mu mateeka eya LLB okuva mu University of East Africa, MCJ okuva mu Howard University School of Law, ne LLM ne JSD okuva mu New York University School of Law . [2]

Emirimu gye nga munnamateeka

[kyusa | kolera mu edit source]

Nsereko yasunsulwa era n'alondebwa ku ICC mu 2007. [3] [4] Mu 2009, yakubiriza okujulira kw'omusango ogwavunaanibwa Germain Katanga . [5] Mu 2012, yali kitundu ku kakiiko akasinga obungi mu musango gwa ICC ogukwata ku buzibu obwabalukawi e Kenya mu 2007–2008 . [6] [7] Yafuuka omulamuzi w’olukiiko olw'ekeeneenya obujulizi olwa Lebanon mu Gwokusatu 2012. [8] [9] Mu kiseera kino mmemba ku kakiiko akawabula ku kulonda abalamuzi mu ICC.

Nsereko mmemba ku lukiiko lw'abawabuzi olwa Crimes Against Humanity Initiative Initiative, pulojekiti y’ekitongole ky’amateeka ekya Whitney R. Harris World Law Institute ku Washington University School of Law e St. Louis okuteekawo endagaano esooka mu nsi yonna ku kutangira n'ebibonerezo ku misango egikolebwa ku bantu.

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. https://dialogue.adventist.org/1749/daniel-d-ntanda-nsereko
  2. "Archive copy". Archived from the original on 2023-10-21. Retrieved 2025-08-08.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  3. https://allafrica.com/stories/200707180696.html
  4. https://www.icc-cpi.int/sites/default/files/NR/rdonlyres/9A9CD715-1651-4A5E-B0E6-9201EC07EF07/277059/ICCASP620_VolI_Part_I_English.pdf#page=12
  5. "Archive copy". Archived from the original on 2021-09-28. Retrieved 2025-08-08.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  6. https://en.wikipedia.org/wiki/American_Journal_of_International_Law
  7. "Archive copy". Archived from the original on 2022-01-22. Retrieved 2025-08-08.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  8. http://www.naharnet.com/stories/en/33133
  9. https://en.wikipedia.org/wiki/The_Daily_Star_(Lebanon)

Ebijuliziddwa w'abweru wa Wikipedia

[kyusa | kolera mu edit source]

Lua error: Invalid configuration file.