Jump to content

Daniel Kiganda

Bisangiddwa ku Wikipedia

Daniel Fred Kidega (yazaalibwa 1 Omwezi ogwekkumi 1973) munnayuganda munnabyabufuzi era yaliko omukubiriza w’olukiiko lw'omukago ogugatta amawanga g'obuvanjuba bw'Afirika nga yali mu ofiisi okuva mu Mwezi ogwekkumi n'ebiri 2014 okutuuka mu Mwezi ogwomukaaga 2017. [1] Mu Mwezi ogwomunaana 2020, yaweereza nga ssentebe w’ekkolero lya sukaari erya Atiak Sugar Factory, mu Disitulikiti y’e Amuru, gavumenti ya Uganda gyeyalinamu emigabo 40 ku buli 100. [2]

Obuvo bwe n’okusoma kwe

[kyusa | kolera mu edit source]

Yazaalibwa mu ddwaaliro lya St. Mary's Hospital Lacor, mu kibuga Gulu nga 10 Omwezi ogwekkumi n'ebiri 1973. Yasomera ku ssomero lya Christ the King Demonstration School e Gulu ku misomo gye egy'omutendera gwa wansi ogwa pulayimale. Kitaawe, Dusman Okee Sr. (5 Omwezi ogusooka 1942 – 3 Omwezi ogusooka 2016), era ye taata wa Norbert Mao . [3] Yakyuka n’agenda ku ssomero lya Ntare mu Mbarara ku misomo gye egya siniya. Yasomera ku yunivasite y'e Kyambogo, mu kiseera ekyo ng'eyitibwa Kyambogo Polytechnic. Yatikkirwa okuva e Kyambogo ne dipulooma mu mu birungo n'eminnyo egikozesebwa mu kutabula ebint by'enjawlo ng'eddagala n'ebirungo neminnyo gy'ebitonde(Biochemistry) . Oluvannyuma yeegatta ku yunivasite ya Uganda Christian University e Mukono, n’atikkirwa ddiguli esooka mu nzirukanya ya zi bizinensi . Oluvannyuma yasomera mu yunivasite y'e Lund mu Lund Sweden, n’afuna dipulooma mu busuubuzi bw'omutendera gw'ensi yonna ne ddiguli eyokubiri mu busuubuzi bw'omutendera gw'ensi yonna. [4]

Kidega yali mukulembeze w’abayizi mu myaka gya 1990, n’alinnya okutuuka ku ddaala lya Ssentebe w’olukiiko lw’abavubuka mu ggwanga. Yakola ng'omuwandiisi ow'ekyama ow'omumyuka wa Pulezidenti wa Uganda okuva mu 2000 okutuuka mu 2001. Daniel Fred Kidega yali mmemba ku kibinja kya Pulezidenti Museveni ekyamuwenjezanga akalulu mu ggwanga mu 2001. Yaweerezaako nga omubaka wa Palamenti mu Palamenti ey'omusanvu okuva mu 2001 okutuuka mu 2006, ng'omukiise w'abavubuka w'eggwanga ow'abavubuka. Ono mmemba wa lukiiko olwokuntikko (National Executive Council -NEC) olukiiko olusembayo waggulu olw'ekibiina ky’ebyobufuzi ekiri mu buyinza ekya National Resistance Movement . Yali mmemba ku kibinja kya pulezidenti Museveni ekyamunoonyeza akalulu mu gwanga mu 2011. Yasooka Okulondebwa mu olukiiko lw'omukago ogugatta amawanga g'obuvanjuba bw'Afirika (EALA) mu 2007 n’addamu okulondebwa ekisanja ekyokubiri mu 2012. [5]

Nga 19 Omwezi ogw'ekkumi n'ebiri 2014 yalondebwa nga tavuganyiziddwa ng'omukubiriza ow'okuna,ow'olukiiko lw'omukago ogugatta amawanga g'obuvanjuba bw'Afirika ng'adda mu bigere bya Margaret Zziwa owa Uganda, eyaggyibwamu obwesige olukiiko ku bigambibwa nti yali nantagambwako, atalina busobozi, atiisatiisa ba mmemba, n'ensonga endala". [6] Yaweereza ekisanja ekyasigalayo ekya gweyaddira mu bigere okutuusa mu Mwezi ogw'omukaaga 2017. [7]

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. Stephen Kafeero (28 December 2014). "Kidega on the daunting task as new Eala speaker". Daily Monitor. Kampala. Retrieved 14 August 2020.
  2. The Independent (19 July 2020). "Atiak sugar industry to begin production in August". The Independent (Uganda). Kampala. Retrieved 14 August 2020.
  3. Kiirya, Donald (4 January 2016). "Hundreds attend Mao father's funeral". New Vision. Kampala. Retrieved 5 January 2016.
  1. Stephen Kafeero (28 December 2014). "Kidega on the daunting task as new Eala speaker". Retrieved 14 August 2020.
  2. The Independent (19 July 2020). "Atiak sugar industry to begin production in August". Kampala. Retrieved 14 August 2020.
  3. Kiirya, Donald (4 January 2016). "Hundreds attend Mao father's funeral". Retrieved 5 January 2016.
  4. Kafeero, Stephen (28 December 2014). "Kidega On The Daunting Task As New EALA Speaker". Retrieved 17 February 2015.
  5. Joyce Namutebi (17 February 2015). "Uganda's EALA MPs for 2012–2017". Kampala. Archived from the original (Archived from the original on 17 February 2015) on 17 February 2015. Retrieved 14 August 2020.
  6. New Vision (19 December 2014). "Daniel Kidega Is New EALA Speaker". Retrieved 17 February 2015.
  7. Bobi Odiko (19 December 2014). "Right Honorable Kidega Elected Speaker of East African Legislative Assembly". Arusha, Tanzania: East African Legislative Assembly. Archived from the original (Archived from the original on 19 December 2014) on 19 December 2014. Retrieved 14 August 2020.

Kafeero, Stephen (28 December 2014). "Kidega On The Daunting Task As New EALA Speaker". Daily Monitor (Kampala). Retrieved 17 February 2015.

  1. Joyce Namutebi (17 February 2015). "Uganda's EALA MPs for 2012–2017". New Vision. Kampala. Archived from the original (Archived from the original on 17 February 2015) on 17 February 2015. Retrieved 14 August 2020.
  2. New Vision (19 December 2014). "Daniel Kidega Is New EALA Speaker". New Vision. Kampala. Retrieved 17 February 2015.
  3. Bobi Odiko (19 December 2014). "Right Honorable Kidega Elected Speaker of East African Legislative Assembly". Arusha, Tanzania: East African Legislative Assembly. Archived from the original (Archived from the original on 19 December 2014) on 19 December 2014. Retrieved 14 August 2020.

Template:EAC Speakers