Jump to content

Daudi Migereko

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

Daudi Migereko (yazaalibwa nga 26 Ogwomukaaga 1956) munnabyabufuzi, Munnayuganda era yaweerezaako nga minisita w'ettaka, amayumba n'enkulaakulana y'ebibuga mu kabineeti ya Uganda . Yalondebwa ku kifo ekyo nga 27 Ogwokutaano 2011. Yadda mu bigere bya Omara Atubo, eyasuulibwa okuva mu kabineeti. Mu nkyukakyuka ezaakolebwa mu kabineeti mu 2016, Pulezidenti yamugya mu kifo kino n’amusikiza Betty Amongi . [1] Okuva nga 16 Ogwokubiri 2009 okutuuka nga 27 Ogwokutaano 2011, yaweerezaako nga akwasaganya eby'empisa ku ludda lwa Gavumenti mu Paalamenti ya Uganda . Nga tannatuuka mu kifo ekyo, yali Minisita w’amasannyalaze n’eby’obugagga eby’omu ttaka mu kabineeti. [2] Migereko yali yakiikirira Esazza lye Butembe, Disitulikiti y'e Jinja mu palamenti okuva mu 2006 okutuuka mu 2016, ekifo kye yawaayo eri Nelson Lufafa ey'awangula ekifo kino mu kulonda kwa bonna okwa 2016.

Obuto bwe n'emisomo gye

[kyusa | kolera mu edit source]

Migereko yazaalibwa nga 26 Ogwomukaaga 1956 mu Disitulikiti y’e Jinja. Yatikkirwa diguli eya Bachelor of Arts ne Dipuloma mu by’enjigiriza okuva ku Ssettendekero wa Makerere . Wabula Diguli ye ey'okubiri mu by'entambula, okuteekateeka n'ebyakitunzi yagifunira mu Yunivasite y’e California, Santa Barbara, mu Amerika. [3]

Ebyafaayo ku mirimu gye

[kyusa | kolera mu edit source]

Wakati wa 1986 ne 2001, yaliko dayirekita w’emirimu mu kkampuni ya Intraco Uganda Limited, bizinensi ey’obwannannyini. Mu kiseera kye kimu, era yaweerezaako nga dayirekita ku lukiiko olufuzi olwa FINCA, kkampuni ya Uganda ewola ensimbi . Mu 1996, yalondebwa okukiikirira Essazza ly'e Butembe, Disitulikiti y'e Jinja mu Paalamenti. Okuva olwo abaade nga alondebwa mu kifo eky. [4]

Mu 2001, Daudi Migereko yaweerezaako ng'omumyuka wa dayirekita mu ofiisi ya Kaminsona w’ebyobufuzi mu ggwanga mu gavumenti. Wakati wa 2001 ne 2005, yaweerezaako nga Minisita omubeezi ow’amasannyalaze n’eby’obugagga eby’omu ttaka. Mu 2005, yalondebwa okubeera Minisita w’ebyobusuubuzi, eby’obulambuzi n’amakolero, gye yaweerereza okutuusa mu 2006.

Mu 2006, yalondebwa okuba minisita w’amasannyalaze n’eby’obugagga eby’omu ttaka, ekifo kye yakuuma okutuusa nga 16 Ogwokubiri 2009 lwe yalondebwa okubeera omukwasi w'empisa. Mu nkyukakyuka ezaaliwo mu kabineeti nga 27 Ogwokutaano 2011, yaddamu n'aweebwa emirimu mu Minisitule y’ebyettaka n’enkulaakulana y’ebibuga nga minisita wa kabineti omujjuvu. [5]

Okulondebwa okulala

[kyusa | kolera mu edit source]

Mu 2008, Migereko yalondebwa okubeera mmemba ow’ekitiibwa mu kibiina ekivuananyizibwa ku masanyalaze agava mu mazzi ekya Internationala Hydropower Association(IHA). IHA egenderera okutumbula enkulaakulana ey’olubeerera eya pulojekiti z’amasannyalaze g’amazzi. Migereko yasiimiddwa olw’omulimu ogw’enjawulo gwe yakola mu kitongole kino mu tendera gw'e ggwanga n’ensi yonna. [6]

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]

Ebijuliziddwa w'abweru wa Wikipedia

[kyusa | kolera mu edit source]