David Cecil

David Cecil, mufulumya wa katemba w'okusiteegi Omungereza.[1] Yakwatibwa mu Uganda olw'omuzannyo ogwali gwekuusa ku bisiyaga nga 17 Ogwomwenda 2012. [2]
Okukwatibwa
[kyusa | kolera mu edit source]Cecil ye yafulumya ffirimu emannyikiddwa nga The River and the Mountain nga yali ewandikiddwa Beau Hopkins omuwandiisi Omungereza mu Kampala, n'eragirirwa Angela Emurwon. Abazannyi bonna baali ba Bannayuganda. Omuzannyo gw'okusiteegi guno gwalimu ebisesa ng'era baagutegekera ku National Theatre mu kifo kya Uganda National Cultural Centre wabula nga ky'alina okukyusibwa oluvannyuma lw'Olukiiko lw'Amawulire olwa nga 16 Ogwomunaana 2012 okuwera omuzannyo guno mu lujjude.
Minisita wa Uganda ow’empisa yagamba nti omuzannyo guno “gwali gutumbuula ebisiyaga mu Uganda,” n’agattako nti, “Tujja kuteeka akazito ku muntu yenna agamba nti omuzizo guno gukirizibwa.” Cecil yateekebwa mu komera okulinaana Kampala nga 15 ne 16 Ogwomwenda. Kooti ya Uganda yamuyimbula ku kakalu ka kooti nga 17 Ogwomwenda oluvannyuma lw’okumuvunaana ku by’okuteeka omuzannyo guno ku siteegi, emisango egyatuuka ku kibonerezo ekiyinza okumuviraako okusibwa emyaka ebiri.[3][4]
Ekiwandiiko ekyali lisaba emisango egyaali givunaanibwa Cecil okugibwaawo, kyategekebwa aba Index on Censorship ne David Lan, nekitekebwaako emikono abantu abasoba mu 2500, okuli Mike Leigh, Stephen Fry, Sandi Toksvig ne Simon Callow.
Mu Gwomunaana 2013, omulamuzi yagoba emisango gyonna egyaali givunaanibwa Cecil. Mu Gwokubiri 2013, Cecil yaddamu okugalirwa poliisi ng’omuntu Minisitule y’Empisa gwe yali annyonyolwa ng'okubeera nti yali tabeereka naye. Oluvannyuma yagobwa mu ggwanga n'adizibwaayo ewabwe mu Bungereza.[5][6][7][8] Okugobwa kwe mu ggwanga kwakolebwa mangu nnyo era nga waliwo okweralikirira nti enkola entuufu ey’amateeka teyaliwo nga tebanaba kugoba. Chris Ward, omwogezi w'Ekitebe kya Bungereza mu Uganda yagamba nti waliwo "okweralikirira nti [Cecil] yagobwa mu nsi nga talina mukisa guwakanya kugobwa kuno". Yagatako nti abakungu ba Bungereza baali baali "bakutunulira engeri gye bayinza okuteesa ku nkola entuufu n'ab'obuyinza mu Uganda".[8][9][10]
Laba ne
[kyusa | kolera mu edit source]Ebijuliziddwaamu
[kyusa | kolera mu edit source]- ↑ Adams, Rachel (7 February 2013). "Uganda moves to deport British theatre producer David Cecil". The Guardian. London. Retrieved 7 December 2015.
- ↑ "I play a gay man in Uganda, where homosexuality is illegal". France 24. 17 September 2012. Archived from the original on 11 January 2013. Retrieved 2 January 2013.
- ↑ "Ugandan court releases British producer of gay play". The Guardian. London. 17 September 2012. Retrieved 2 January 2013.
- ↑ Mezzofiore, Gianluca (21 November 2012). "British Theatre Producer David Cecil to Face Jail in Uganda Over Gay Play". International Business Times. Retrieved 7 December 2015.
- ↑ Brown, Mark (15 February 2013). "Theatre producer deported by Uganda for gay play vows fight to return". The Guardian. London. Retrieved 7 December 2015.
- ↑ "Uganda 'deports' David Cecil, producer of gay play". BBC News. 12 February 2013. Retrieved 7 December 2015.
- ↑ "British theatre producer of play on homosexuality deported from Uganda". London: The Daily Telegraph. Reuters. 12 February 2013. Retrieved 7 December 2015.
- 1 2 Jones, Pete; Schenkel, Mark (12 February 2013). "Uganda deports British theatre producer over play exploring gay issues". The Guardian. London. Retrieved 7 December 2015.
- ↑ "Deportation 'crazy' says Uganda gay play producer - video". Channel 4 News. 13 February 2013. Retrieved 7 December 2015.
- ↑ "Uganda drops charges against British theatre producer David Cecil". ITV News. 2 January 2013. Retrieved 7 December 2015.