David Kibikyo
David Lameck Kibikyo mukugu mu by’enfuna, eby’ensoma n’okuddukanya eby’ensoma mu Uganda. Y'aamyuka cansala (Vice Chancellor) wa Busoga , [1] yunivasite ey'obwannannyini. Yalondebwa mu mwaka gwa 2014, ng’adda mu bigere bya Pulofeesa Christopher Bakwesegha eyawummula. [2] [3]
Ensibuko n’obuyigirize
[kyusa | kolera mu edit source]Alina diguli esooka mu bya ssayansi mu by’enfunan'eyookubiri mu by'emikono, mu by'enkola y'ebyenfuna n'enteekateeka zombi okuva mu yunivasite e Makerere, era nga ya gavumenti esinga obukadde n’obunene mu Uganda. Alina diguli eyookubiri mu mateekag'ensi yonna (Public International Law), gye yafuna okuva mu Kampala International University . Diguli ye ey'obusawo mu by'obufirosoofo(Doctor of Philosophy) mu by’enfuna yagifuna okuva mu yunivasite ya Roskilde mu Denmark. [1] [4]
Omulimu
[kyusa | kolera mu edit source]Nga tannatuuka mu kifo ky’alimu kati, yaweerezaako nga pulofeesa omuyambi avunaanyizibwa ku kunoonyereza n’okukakasa omutindo mu ttendekero ly’e Kigali Institute of Management . Nga tannakola ekyo, yaweereza nga dayirekita, mu ttendekero lye limu. Emabegako, yaliko akulira essomero ly’ebyenfuna n’ebibalo ebikozesebwa mu yunivasite ya Kampala International University . Ekyo nga tekinnatuuka, yaliko omumyuka w’omukulu w’essomero ly’ebyenfuna n’obusuubuzi mu yunivasite y’emu. [4]
Laba na bino
[kyusa | kolera mu edit source]Ebiwandiiko ebikozesebwa
[kyusa | kolera mu edit source]- 1 2 "Busoga University Governance". Busoga University (BU). 2014. Archived from the original on 30 January 2015. Retrieved 31 January 2015.
- ↑ Gulumaire, Andrew (10 May 2013). "Busoga University Vice Chancellor Announces Retirement". Uganda Radio Network (URN). Retrieved 31 January 2015.
- ↑ "Busoga University Appoints New Vice Chancellor". Uganda Campus Times. 25 July 2014. Retrieved 31 January 2015.
- 1 2 "New Vice Chancellor, Deputy Vice Chancellor Appointed". Busoga University (BU). 2014. Archived from the original on 22 March 2015. Retrieved 31 January 2015.