Jump to content

David Serwadda

Bisangiddwa ku Wikipedia
David Serwadda
Munnayuganda omusawo, munoonyereza ku by'obulamu era akulira eby'obujjanjabi Kyusa Wikidata
Omuntu Kyusa Wikidata
Ekikulamusajja Kyusa Wikidata
Ensi y’o­bu­tuu­zeYuganda Kyusa Wikidata
Erinnya eri­wee­redd­waDavid Kyusa Wikidata
Yazaa­lib­wa nga1 Gusooka 1959 Kyusa Wikidata
Gy'a­zaal­waYuganda Kyusa Wikidata
Ennimi z'amanyiLungereza Kyusa Wikidata
Omulimuphysician, researcher Kyusa Wikidata
Field of workSiriimu Kyusa Wikidata
Omukozesassomero ly'eby'obulamu by'abantu bonna mu Makerere yunivasite Kyusa Wikidata
Gyeya­so­me­raSsettendekero wa Makerere, Johns Hopkins Bloomberg School of Public Health, ebbanguliro ly'abasawo erya Makerere University, Ssettendekero wa Makerere Kyusa Wikidata
GyabeeraMunyonyo Kyusa Wikidata
Ebbanga ly'a­ko­led­de (oku­tan­di­ka)1984 Kyusa Wikidata
Affi­lia­tionHIV Prevention Trials Network Kyusa Wikidata
Awaadi z'afunyeFellow of the Uganda National Academy of Sciences Kyusa Wikidata

David M. Serwadda musawo Munnayuganda, munoonyereza ku by'obujjanjabi, eby'ensoma era mukugu mu by'obulamu. Mu kiseera kino ye Pulofeesa w’ebyobulamu eby'olukale mu Makerere University School of Public Health, erimu ku bbanguliro lya Makerere University College of Health Sciences, ebbanguliro ly'abasawo erya Makerere University. Serwadda era mmemba eyatandikawo ekibiina kya Accordia Global Health Foundation ekya Academic Alliance .[1]

Obuto bwe n’obuyigirize

[kyusa | kolera mu edit source]

Yazaalibwa mu Kampala, ekibuga ekikulu ekya Uganda. Serwadda yasomera ku Namilyango College[2] ery’abalenzi bokka, erisangibwa mu Disitulikiti y’e Mukono, okuva mu 1972 okutuuka mu 1977. Mu 1978, yayingira Makerere University School of Medicinegye yafunira Diguli mu busawo n'okulongoosa eya Bachelor of Medicine ne Bachelor of Surgery, n’atikkirwa mu 1983. Yagenda mu maaso n’afuna diguli ey'okubiri mu by’obusawo, ng’akuguse mu by’obusawo bw’omunda, era okuva mu yunivasite e Makerere, mu makkati ga 1980. Oluvannyuma yafuna Diguli ya Master of Science ne Master of Public Health, byombi okuva mu Bloomberg School of Public Health mu Johns Hopkins University e Baltimore, Maryland, Amerika.[3]

Ku ntandikwa y'emyaka gya 1980, Serwadda y'omu ku basawo abaasooka mu Uganda okutegeera obulwadde obupya obwaleetera abalwadde okukogga okutuuka ku sayizi etali ya bulijjo.[4] Obulwadde buno obupya, mu kusooka obwayitibwa Slim Disease, bw'amanyibwa nga siriimu / mukenenya . Abadde munoonyereza akulembedde mu by'obulwadde bwa siriimu mu mawanga agali mu Bukiikaddyo bwa Afirika. Afulumiza eby'ava mu kunoonyereza kwe mu bitabo by’obusawo bingi n’ebitabo ebirala ebifulumizibwa banne. Abadde mu nkuŋŋaana nnyingi ez’eggwanga, ez’ebitundu n’ez’ensi yonna ng’omuweereza n'omukubiriza ku nsonga eno.[5]

Mu 1990, yalondebwa okuba Dayirekita w’ekitongole ky’ebyobulamu e Makerere mu kiseera ekyo. Yaweereza mu kifo ekyo okutuusa mu 2007 lwe yakuzibwa n'aweebwa ekifo ky'omukulu w'essomero lya Makerere University School of Public Health oluvannyuma lw'ettendekero lino okukyusibwa ne lifuuka ebbanguliro lya yunivasite y'e Makerere University College of Health Sciences . Oluvannyuma yalekulira obwa Diini w’essomero ly’ebyobulamu, kyokka akyagenda mu maaso n’okusomesa n’okukola okunoonyereza mu kifo kye nga Pulofeesa w’ebyobulamu. Serwadda mukulu mu ttendekero lya Uganda National Academy of Sciences.[6]

Emirimu gye egy'okunoonyereza

[kyusa | kolera mu edit source]

Ng’omunoonyereza ku by’obusawo abadde y'enyigira mu kunoonyereza kwa ssaayansi okuwerako ng’ebimu ku byo biwandiikiddwa mu lukalala wansi;

  • Obulwadde bwa siriimu n'enkolagana y'obulwadde obukwata mu bukyala n'obuwuka obusangibwamu. (eky'awandiikibwa awamu) ky'afulumizibwa mu lupapula lwa Lancet .[7]
  • Okutangira okusaasaana kw'endwadde z’ekikaba nga mukenenya mu Uganda: okugezesa mu bantu babulijjo (eyawandiikibwa awamu) ky'afulumizibwa mu lupapula lwa Lancet .[8]
  • Abakugu mu by’obulamu mu kyasa ekipya: okukyusa eby'enjigiriza okunyweza enkola z’ebyobulamu mu nsi ey'esigama ku bannaabwe (bawandiisi wamu) mu Lancet .[9]
  • Omuwendo gw’akawuka n’okusaasaana kw’ebika ebitali bimu eby’akawuka akaleeta mukenenya Type 1. (yawandiikibwa wamu) era nga yafulumizibwa mu kitabo ekiyitibwa New England Journal of Medicine .[10]
  • Okukomolebwa kw’abasajja olw’okuziyiza okusaasaana kwa akawuka ka siriimu mu basajja mu Rakai, Uganda: okugezesebwa okwakolebwa ku bantu ab'enjawulo. (ky'awandiikibwa abawandiisi babiri) eky'afulumizibwa mu lupapula lwa Lancet.[11]
  • Emiwendo gy’okusiiga akawuka ka siriimu buli Coital Act, okusinziira ku ddaala ly'okusigibwa akawuka ka siriimu, mu Rakai, Uganda. (omuwandiisi omulala) eky'afulumizibwa mu Journal of infectious diseases.[12]
  • Obusobozi bw’okusiigibwa akawuka ka siriimu buli kikolwa ky’okwegatta mu bafumbo, abafumbo ng'omu alina akawuka n'abatalina kawuka ka siriimu mu Rakai, Uganda. (omuwandiisi omulala) eyafulumizibwa Lancet.[13]

Ebikwata ku muntu

[kyusa | kolera mu edit source]

Serwadda mufumbo eri mukyala we Deborah Serwadda, taata w’abaana basatu abakulu.

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. https://web.archive.org/web/20141226184404/http://www.accordiafoundation.org/what-we-do/infectious-diseases-institute-uganda/ugandan-academic-alliance/index.html
  2. http://www.monitor.co.ug/artsculture/Reviews/691232-1371714-12071cmz/index.html
  3. "Archive copy". Archived from the original on 2022-12-01. Retrieved 2025-07-12.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  4. Serwadda, D. et al (1985) Slim disease: A new disease in Uganda and its associations with HTLV-III infection, The Lancet, Vol.326, Issue. 8460, pp. 849-852
  5. https://www.ncbi.nlm.nih.gov/books/NBK209745/
  6. https://web.archive.org/web/20150302002902/http://ugandanationalacademy.org/fellow_profile.php
  7. https://doi.org/10.1016%2FS0140-6736%2897%2901063-5
  8. https://doi.org/10.1016%2FS0140-6736%2898%2906439-3
  9. https://www.thelancet.com/article/S0140-6736(10)61854-5/fulltext
  10. https://doi.org/10.1056%2FNEJM200003303421303
  11. https://www.sciencedirect.com/science/article/pii/S0140673607603134
  12. https://doi.org/10.1086%2F429411
  13. https://www.thelancet.com/journals/lancet/article/PIIS0140-6736(00)04331-2/fulltext

Ebijuliziddwamu eby’ebweru

[kyusa | kolera mu edit source]

Template:Scholia

Lua error: Invalid configuration file.