Jump to content

David Wakikona

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

David Wandendeya Wakikona munnayuganda muvuzi wa nnyonyi era munnabyabufuzi, eyasooka okuweereza mu kabineti ya Uganda nga Minisita Omubeezi Ow’obukiikakkono bwa Uganda okuva nga 2 Ogwomukaaga 2006 okutuuka nga 27 Ogwokutaano 2011 ne Minisita Omubeezi Ow’eby'obusuubuzi n’Ebinti By’edda okuva mu Gwokutaano 2011 okutuuka Gwomukaaga 2016). [1] Era yali Omubaka wa Paalamenti omulonde eyali akiikirira Manjiya County mu Disitulikiti y’e Bududa okuva mu 2001 [2] okutuuka mu 2016.

Obulamu bwe n’okusoma

[kyusa | kolera mu edit source]

Wakikona yazaalibwa mu Disitulikiti y’e Bududa nga 26 Ogwekuminoogumu 1950. Mu 1971, yafuna layisinsi y’okuvuga ennyonyi ez’obusuubuzi okuva mu kitongole ky’ennyonyi ekya East African Civil Aviation Authority, mu kiseera ekyo nga kisinziira ku kisaawe ky’ennyonyi e Soroti . Mu 1993, yaweebwa Dipuloma mu by’okutambuza n'okudukanyi ennyonyi okuva mutendekero lya CASI e Beirut. Omwaka ogwaddako, yafuna Dipuloma mukudukanya emirimu gya Gavumenti okuva mutendekero lyerimu. Mu 1995, ekitongole ky’ensi yonna ekitendeka abaddukanya ennyonyi mu Canada, kyamuwa Dipuloma mu by’Okuddukanya Ennyonyi. Mu 1999, yafuna diguli y'Emisomo egy'enjawulo mu by’ennyonyi okuva mu Yunivasite y’e Western Sydney mu Australia. Mu 2007 yaweebwa diguli ya Misomo Egy'enjawulo egikwatagana ku By'okudukanya Emirimu gya Gavumenti n'Okugirabirira okuva mu Yunivasite y'e Nkumba . [2]

Okuva mu 1991 okutuuka mu 1992, Wakikona yaweereza nga eyali Akulira okugaba ebisaanyizo n'okulondoola Entambula y'ennyonyi mu kitongole ky’ennyonyi ekya Civil Aviation Authority of Uganda. Okuva mu 1993 okutuuka mu 1998, yaweereza ng'eyali akulira etendekero ly’ennyonyi erya East African Civil Aviation Academy, era erimanyiddwa nga Soroti Flying School, mu Soroti,mu Buvanjuba bwa Uganda. Okuva mu 1999 okutuuka mu 2000, yakola nga eyali Akulira ba Maneja mu kampuni y'ennyonyi eya Uganda Air Cargo, kampuni ya gavumenti ey'ennyonyi ezitambuza emigugu.[3] Mu 2001, yayingira eby'obufuzi, n'avuganya ku kifo kya paalamenti okukiikirira Manjiya County mu Disitulikiti y'e Bududa. Yawangula, [4] n’addamu okulondebwa mu 2006 n’addamu okulondebwa mu 2011. Nga 1 Ogwomukaaga 2006, yalondebwa okuba Minisita Omubeezi owa Bukiikakkono bwa Uganda mu ofiisi ya Ssaabaminisita, [1] ekifo kye yalimu okutuusa mu Gwokutaano 2011. Mu nkyukakyuka mu kabineti eyakolebwa nga 27 Ogwokutaano 2011, yakyusibwa nga Minisita Omubeezi Ow'eby'Obuzuubuzi n'Ebintu by'Edda. [2] Yadda mu bigere bya Gagawala Wambuzi mu kifo ekyo, eyali yasuulwa okuva mu Kabineti. [5]

Nga beetegekera okulonda kwa bonna okwa 2016, Wakikona yawangulwa John Baptist Nambeshe mu kalulu ka National Resistance Movement akasalawo anaakwatira ekibiina bendera ku ani eyali agenda okukiikirira Manjiya County, era ekyavaamu teyavuganya mu kulonda kuno. Oluvannyuma lw’okulonda kuno, mu Gwomukaaga kwa 2016 Wakikona yasikizibwa Michael Werikhe Kafabusa ku bwa Minisita Omubeezi Ow’eby'obusuubuzi .

Wakikona yafuuka semwandu mu 2017. [6] Ali mu kibiina ky’eby'obufuzi ekya National Resistance Movement . Kigambibwa nti alina obwagazi obw'enjawulo mu nsonga eza zigenda mu maaso nga kwekuli n'omupiira .

Ebijuliziddwaamu

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. 1 2 Mukasa, Henry (2 June 2006). "Cabinet Ministries Allocated". Archived from the original on 11 December 2014. Retrieved 19 March 2015. Cite error: Invalid <ref> tag; name "Allocated" defined multiple times with different content
  2. 1 2 3 "Profile of David Wanendeya Wakikona, Member of Parliament for Manjiya County, Bududa District". Parliament of Uganda (POU). 2011. Retrieved 19 March 2015. Cite error: Invalid <ref> tag; name "About" defined multiple times with different content
  3. The Work History of David Wakikona
  4. Etengu, Nathan (24 February 2005). "Mbale Demands Luweero Compensation". Archived from the original on 2 April 2015. Retrieved 20 March 2015.
  5. "Comprehensive List of New Cabinet Appointments & Dropped Ministers". Facebook.com. 27 May 2011. Retrieved 19 March 2015.
  6. Rwamasyoro, Steven (27 February 2017). "Ex Trade Minister Wakikona's wife has died". Trumpet News. Archived from the original on June 25, 2024. Retrieved 3 June 2017.

Ewalala w'oyinza okubigya

[kyusa | kolera mu edit source]