Jump to content

Davis Kamukama

Bisangiddwa ku Wikipedia
Kamukama Davis

Davis Kamukama Munnayuganda, munnbizinensi, omutandisi wa leediyo ya Ngabo FM era munnabyabufuzi mu kibiina kya National Resistance Movement . [1] Yalondebwa ku Paalamenti ya Uganda mu kulonda kwa bonna okwa 2021. [2] [3]

Mu Paalamenti ey’ekkuminemu, aweereza ku kakiiko akavunaanyizibwa ku by’obulimi, amakolero g’ebisolo n’obuvubi. [4]

Emirimu egy'e byobufuzi

[kyusa | kolera mu edit source]

Kamukama yalonze tikiti ya NRM okwesimbawo ku kifo ky’omubaka mu Paalamenti akiikirira Essaza lya Bunyangabu oluvannyuma lw’okumegga Minisita w’ebyokwerinda eyaliko era omubaka mu Paalamenti, Adolf Mwesige Kasaija mu kalulu k'ekibiina. [5] [6] Kamukama yafunye obululu 22,445 ate Kasaija n'afuna obululu 18,067. [7] [8] Oluvanyuma lw'okuwangula mu kalulu k'ekibiina, okujulira kwatwalibwa eri ssaabawandiisi wa NRM ng'awakanya empapula za Kamukama ez'obuyigirize naye Kamukama yakkirizibwa abakulira ekibiina ere yeyongerayo mu kalulu k'abonna era n'awangula ekifo ky'omubaka mu Paalamenti akiikirira Essaza lye Bunyangabu. [9] [10]

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]