Deborah Kasente
Deborah Hope Kasente Munnayuganda omuwandiisi era omuyivu ng'esira asinga kuliteeka ku ddembe ly'abakyala. Ono y'omu ku baatandikawo esomo ly'Abakyala n'Ekikula ky'Abantu mu Makerere University.
Eby'enjigiriza
[kyusa | kolera mu edit source]Kasente alina diguli mu by’enjigiriza n’Olungereza okuva mu Makerere University era yafuna diguli ey'okubiri okuva mu Kenyatta University gye yasomera eby'enjigiriza ebikwatagana ku ndowooza z'abantu. [1]
Emirimu
[kyusa | kolera mu edit source]Kasente akola nga omumyuuka w'omukenkufu mu by'emisomo gy’abakyala n’eby’ekikula ky’abantu mu Makerere University era ye ssentebe w’ekibiina ekigatta Abakyala ba Yunivasite ekya Uganda Association of University Women. [1]
Mu 1985 yeetabye mu lukungaana lw'abakyala olwali lumannyikiddwa nga Third United Nations Women’s Conference olwali e Nairobi. Mu lukungaana luno, yakola enteekateeka ne Eleanor Maxine Ankrah ne Victoria Mwaka okwongera okulakulanya embeera y’abakyala mu Uganda. [1] Baakomawo mu Uganda nga wabulayo wiiki emu Milton Obote aggyibwe mu buyinza. Kasente, ng'ali ne Eleanor Maxine Ankrah ne Victoria Mwaka baasalawo nti balina okutwala mu maaso emboozi ekwata ku ddembe ly’abakyala okusuka ensonga ezikwata ku famire zokka okutuuka ku bwenkanya mu kikula ky’abantu mu bugazi era oluvannyuma lw’okwebuuza okw’amaanyi ne basisinkana n’okumannya okwamaanyi eri ekirowoozo kino, baatandikawo ekibiina ky’abakyala mu ggwanga.[1] Ekibiina ky’abakyala kyasalawo okutondawo Action for Development (ACFODE) n’esomero ly’Abakyala n’Ekikula ky’Abantu mu Makerere University mu 1991 [1] Kasente yakulembera kaweefube w’okutongoza esomero lino n’okusonda ssente z’esomero lino. [1]
Nga memba w'ekibiina kya Forum for Africa Women Educationalists, Kasente yakulembera okwebuuza okwali mu Mawanga g'Omubuvanjuba bwa Afrika mu pulojekiti za Yunivasite y'e Cape Town Equal Opportunity Research Project mu 1995 ng'ekimu ku bitundu bya kaweefube w'okutandikawo etendekero lya African Gender Institute. [2]
Ekibiina kya Action for Development kisigala nga kjyekisinga okubeera ekinenene nga kyegatibwaamu abakyala mu Uganda.[1]
Mu 1998 Kasente yawandiika ku bituli mu ntambula y’obubaka mu Uganda, ng’okunoonyereza okulungi ku nsonga z’ekikula nekwafulumizibwa ng'era tekwatuuka ku balina buyinza kuteeka bintu mukola. [3]
Ebitabo ebirondeddwamu
[kyusa | kolera mu edit source]- Institutionalizing Gender Equality in African Universities: The Case of Women’s and Gender Studies at Makerere University Template:Webarchive Feminist Africa, 2002[4][5]
- Gender studies and gender training in Africa, Development in Practice, Vol. 6, No. 1 (Feb., 1996), pp. 50–54 (5 pages), Published By: Taylor & Francis, Ltd., Template:JSTOR[6]
- Deborah Kasente (2012) Fair Trade and organic certification in value chains: eby’okuyiga okuva mu kwekenneenya ekikula ky’abantu okuva mu kutunda emwaanyi ebweru w’eggwanga mu Uganda, Ekikula Ky'abantu n'Enkulakulana, 20:1, 111-127, Template:Doi
- Chapter 2 (Gender and Expansion of Nontraditional Agricultural Exports in Uganda) of Shifting Burdens Gender and Agrarian Change Under Neoliberalism published in 2002 by Kumarian Press ISBN 9781565491434
Ebijuliziddwaamu
[kyusa | kolera mu edit source]- 1 2 3 4 5 6 7 Adrianna L. Ernstberger (April 2020). "A Room, A Chair A Room, A Chair, and A Desk: Founding Voices of Women's and Gender Studies in Uganda". Bridgewater State University. Archived from the original on 7 April 2021. Retrieved 2022-04-04.
- ↑ Radloff, Jenny (1995). "Instituting African Gender Links". Agenda: Empowering Women for Gender Equity (26): 91–94. doi:10.2307/4065931. ISSN 1013-0950. JSTOR 4065931.
- ↑ Readings in Gender in Africa. (2005). United Kingdom: Indiana University Press. p38
- ↑ Adrianna L. Ernstberger (April 2020). "A Room, A Chair A Room, A Chair, and A Desk: Founding Voices of Women's and Gender Studies in Uganda". Bridgewater State University. Archived from the original on 7 April 2021. Retrieved 2022-04-04.
- ↑ Linda E. Lucas (2007). Unpacking Globalization: Markets, Gender, and Work. Lexington Books. pp. 270, 272, 278. ISBN 9780739162170.
- ↑ Cummings, Sarah. "An information and documentation project on gender training." Information development 13.1 (1997): 36-40.