Jump to content

Dek Ngor

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

Dek Ngor era emanyiddwa nga (Dek Ngor Lapena, Dek-ngor, Dek Ngoo, Agira) nva z'ekinnansi mu Uganda ezikolebwa mu Nkoolimbo era zisibuka mu Mambuka ga Uganda mu bantu b’e Acholi . [1] [2] Enva zino era ziriibwa mu bitundu bya Lango ne West Nile mu Uganda. [1]

Ebirungo ebikulu

[kyusa | kolera mu edit source]

Ebirungo ebitali byabuwaze

[kyusa | kolera mu edit source]

Okuteekateeka

[kyusa | kolera mu edit source]

Enva z'enkoolimbo zinnyikibwa mu mazzi agabuguma okumala eddakiika 20. Epeke ziggyibwa mu mazzi, ne zaanikibwa mu musana okumala eddakiika nga 10. Empeke ezikaze zikoonebwa nezaasibwamu empeke bbiri. Oluvannyuma lw’okusekula, baziwewa okujjako ebikuta. [1] Empeke eza kyenvu enjaseemu nazo zisobola okukozesebwa okubuuka okusekulibwa wamu n'okuwewa wabula nezifumbibwa.

Oluvannyuma lw’okuwewa, empeke ezasiddwaamu zifumbibwa mu mazzi okutuusa nga zigonze. Mu kiseera ky’okufumba, baking soda asobola okugattibwamu okwanguya okufumba oba okujjiisa amangu. Omulawo kukozesebwa okutabula okutuusa enva lwezikwata. Omunnyo gugattibwa mu nva. Olwo enva nezigattibwaamu ekipoppili oba butto w'ebinazi okwongera ku kawoowo, obuwoomi, n'okukwasa enva. Moo-yaa asobola okugigattibwaamu naye nga ssi kya buwaze. [5] Enva ezivaamu zeeziyitibwa Dek-ngor . [1]

Dek Ngor zigabulwa ku mikolo egy’ennono ng’obufumbo, okubatiza, enkiiko z'amaka, okutuuma abaana amannya ne mu bifo ebitunda eby’okulya. Zirina okugabulwa ab'enganda z'omukyala bwebaba bakyadde mu maka muwala waabwe mweyayafumbirwa. [1] [5] [3]

Enva za Dek ngor zisobola okuliibwa nga tekuli mmere ndala oba osobola okuliirako omugaati ogukoleddwa mu bulo, Lumonde, Akawunga, Muwogo n'emmere endala . [1] [5] [2]

Ebiyungo eby’ebweru

[kyusa | kolera mu edit source]

Ebiwandiiko ebikozesebwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. 1 2 3 4 5 6 https://www.monitor.co.ug/uganda/special-reports/uganda-50/dek-ngor-traditional-sauce-that-also-works-as-food-on-its-own-1515754 Cite error: Invalid <ref> tag; name ":0" defined multiple times with different content
  2. 1 2 https://www.southworld.net/uganda-acholi-marriage-not-before-sunset/ Cite error: Invalid <ref> tag; name ":1" defined multiple times with different content
  3. 1 2 3 https://doi.org/10.3389%2Ffsufs.2023.1126020 Cite error: Invalid <ref> tag; name ":3" defined multiple times with different content
  4. "What to eat Uganda? culinary specialties and gastronomy". www.petitfute.co.uk. Retrieved 2024-02-20.
  5. 1 2 3 4 https://dailyexpress.co.ug/2023/09/18/the-green-gold-of-acholi-locals-form-cooperatives-to-conserve-the-wonder-shea-tree/ Cite error: Invalid <ref> tag; name ":2" defined multiple times with different content