Jump to content

Denis Nyangweso

Bisangiddwa ku Wikipedia
Denis Nyangweso
omuntu
Ekikulamusajja Kyusa
Ensi y’obutuuzeYuganda Kyusa
Yazaalibwa nga1978 Kyusa
Omulimumunnabyabufuzi Kyusa

Denis Nyangweso (yazaalibwa nag 28 Ogwomwenda, 1978) munnayuganda, munnabyabufuzi era mubaka wa paalamenti akiikirira Samia-Bugwe Central. [1] [2]

Mu paalamenti ey’ekkumi n’emu, Nyangweso aweereza ku kakiiko akavunaanyizibwa ku bakozi ba gavumenti ne Gavumenti ez’ebitundu. [3]

Obuto bwe n’okusoma

[kyusa | kolera mu edit source]

Nyangweso yazaalibwa Augustine ne Cissy Juma ng’omwana owookubiri mu maka. Yasomera mu Busikho Primary School mu Disitulikiti y’e Busia okufuna satifikeeti ye eya First School nga tannaba kwewandiisa mu Jinja College oluvannyuma n’akyusa n’agenda mu Greenville High School gye yamalira O’Level. Yafuna diguli mu Social Sciences mu 2003 ne diguli eyookubiri mu by’okuddukanya emirimu gya gavumenti (Human Resource Option) okuva mu yunivasite y’e Makerere . [1] Oluvannyuma lw’okutikkirwa, yalondebwa okubeera Personnel Officer/Human Resource Officer mu Minisitule y’abakozi ba gavumenti era n’asindikibwa ku kitebe kya poliisi gye yaweerereza okutuusa mu 2009, lwe yakuzibwa n’addamu okusindikibwa mu Minisitule y’abakozi mu kikula ky’abantu n’enkulaakulana y’abantu. Mu 2013, yakyusibwa okuva mu minisitule y’ekikula ky'abantu n’atwalibwa mu kakiiko k’ebyobulamu gye yava mu mirimu gya gavumenti n’ayingira ebyobufuzi. [1]

Nyangweso yasooka kwesimbawo mu 2016 bwe yavuganya ku kifo kya Samia-Bugwe South mu paalamenti kyokka nawangulwa Julius Maganda Wandera eyali mu ntebe . Oluvanyuma lw’okutondawo ekitundu kya Samia-Bugwe Central, yeesimbawo ku tikiti y’ekibiina kya National Resistance Movement n'afuna obululu 8,849 kyokka n’awangulwa Richard Wanyama Hamala ey’afuna obululu 14,423. [4] Nyangweso yagenda mu kalulu ka 2021 ng’avuganya ku bwannamunigina n’awangula n’obululu 13,919 n’akuba Richard Wanyama owa NRM eyafuna obululu 11,312. Nyangweso ye mubaka wa Paalamenti asoose okukulemebera ekifo kya Samia-Bugwe Central mu paalamenti ey’ekkumi n’emu. [5]

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. 1 2 3 "Nyangweso: Second time lucky pioneer Samia-Bugwe Central MP". Daily Monitor (in Lungereza). 26 June 2021. Retrieved 2021-09-06. Cite error: Invalid <ref> tag; name ":0" defined multiple times with different content.
  2. "Four charged over sh2b Police ghosts fraud". New Vision (in Lungereza). Retrieved 2021-09-06.
  3. "Committee on Public Service and Local Government – Parliament Watch" (in American English). Retrieved 2023-02-08.
  4. "Irene Muloni, Minister Kitutu win NRM primaries in Bugisu region". The Independent (Uganda) (in American English). 2020-09-05. Retrieved 2021-09-06.
  5. Amalemba, Robert. "Governor Ojaamong hosts Ugandan MPs to discuss border ties, Covid control". The Standard (in Lungereza). Retrieved 2021-09-06.