Denis Ssebuggwawo Wasswa
| Ekikula | musajja | |
|---|---|---|
| Erinnya eriweereddwa | Denis | |
| Yazaalibwa nga | 1870 | |
| Gy'azaalwa | Uganda | |
| Olunaku lwe yafa | 25 Gwakutaano(Muzigo) 1886 | |
| Place of death | Munyonyo | |
| Cause of death | decapitation | |
| Omulimu | child actor | |
| Feast day | June 3 | |
Denis Ssebuggwawo (1870-25 Ogwokutaano,1886) mujulizi wa Uganda owa Ekereziya Katolika era Omutuukirivu. Yazaalibwa Kigoloba mu Ssaza ly'eBulemeezi. Kitaawe yali ayitibwa Kajansi ate nnyina yali Nsonga ow'e Busoga.[1] Nga wayise akaseera katono oluvannyuma lw'okuzaalibwa, jjajjaawe yattibwa era kitaawe n’asengula abantu n’abatwala mu kibanja ky’amaka gaabwe e Bunono mu Ssaza ly'eBusiro.[1] Ssebuggwawo yali wa Kika kya Musu.
Ssebuggwawo noomulongo we Kato baafuuka Babuulizi ba ddiini era baali balungamizibwa omutuukirivu Joseph Mukasa Balikuddembe.[1] Yabatizibwa nga 16 Ogwekkuminoogumu 1885, era nga eyamubatiza yali Père Simon Lourdel, M.Afr., amanyiddwa nga Faaza Mapera, era naalonda erinnya lya Denis nga Erinnya lye ery'eddiini.


Yali mukuumi wa Kabaka Muteesa I owa Buganda era omukuumi wa Kabaka Mwanga II owa Buganda.[2] Yatulugunyizibwa era naasoggebwa effumu Ssekabaka Mwanga II, olw’okuyigiriza enzikiriza eri Mwafu mutabani w'omukulembeze omukulu, bwe yali tannaba ku mukwasa omutirimbuzi Omukulu Mpinga Kaloke akawungeezi ka 25 Ogwokutaano, 1886.[1][2] Ku makya ga 26 Ogwokutaano, 1886, Mpinga yalagira basajja be babiri okwali Matembe ne Mulyowa okutemaatema omubiri gwe mu bitundutundu.[2] Ssebuggwawo yasooka kutemwako mutwe nga tebannaba kumutemaatema mu bitundutundu e Munyonyo.[2] Ajjukirwa ng'omujulizi eyasooka mu Bajulizi ba Uganda.
Laba ne
[kyusa | kolera mu edit source]Ebijuliziddwa
[kyusa | kolera mu edit source]- 1 2 3 4 "St. Denis Ssebuggwaawo". Munyonyo Martyrs' Shrine. 27 February 2018. Archived from the original on 25 May 2020. Retrieved 25 May 2020.
- 1 2 3 4 Muthua, Joseph Kamau (2015). "A Christian Response to Violence: Lessons to Learn from Students in Africa/ Kenya Urbana 2015" (PDF). Urbana. Archived from the original (PDF) on 10 June 2020. Retrieved 25 May 2020.
Ebijuliziddwa wabweru wa wikipedia
[kyusa | kolera mu edit source]- Biography of Denis Sebugwawo
- “Saint Denis Ssebuggwawo“. CatholicSaints.Info. 9 June 2017. Web. 24 December 2018.
- Abaazaalibwa mu 1870
- Abaafa mu 1886
- Abatukuvu Abakristaayo ab'omu kyasa ekyekkumi n'omwenda
- Abantu abattibwa e Uganda mu kyasa ekyekkumi n'omwenda
- Abajulizi b'eddiini Abakatoliki Ab'e Rooma ab'omu kyasa ekyekkumi n'omwenda
- Abaana Abatukuvu Abakatoliki Ab'e Rooma
- Abajulizi b'eddiini Abakristaayo abattibwa nga babakutuddeko mitwe
- Abajulizi ba Uganda
- Buganda