Dennis Ngabirano
Dennis Ngabirano Munnayuganda omusomesa, omukugu mu by’empisa era omutandisi w'emirimu. Ye mutandisi era akulira kkampuni ya Psalms Food Industries – kkampuni Sumz. [1][2][3][4][5][6]
Ebyafaayo n'ensibuko
[kyusa | kolera mu edit source]Yaggulawo saluuni y’abasajja n’abakazi okwongera ku musaala gwe, kyokka bizinensi eno n’ewangaala emyaka ebiri gyokka n’oluvannyuma n’aggulawo edduuka ly’eby'okulya nga nalyo laliddukanya mu nkola y’emu ng'eya bizinensi eyasooka – n’ewangaala emyaka ebiri gyokka nga tennagwa.[7]
Ngabirano yafuna oluwummula lw’okusoma okuva mu busomesa n’aweebwa ekifo mu yunivasite ya St. Lawrance okugenda mu pulogulaamu ya post graduate. Ng'asoma, yasabibwa okukola enteekateeka ya bizinensi ng’emu ku mirimu gye egy’okusoma, yalowooza ku kulunda embuzi kyokka enteekateeka eno n’agisuula mangu kubanga etwala kapito mungi. Nga akyasoma diguli ye ey’okubiri, Ngabirano yawasa mukyala we Maureen gwe yatwala e Mombasa, Kenya okuwumulako ng'abagaalana. E Mombasa, Ngabirano ne mukyalawe baliko omuvubuka gwebasisinkana ng'asiika obumonde obusaalesale ku luguudo era bwebabulyako nebawomerwa era nebalaba nga basobola okuleeta engeri eno mu Uganda.[8]
Obwetaaga bwe bweyongera, ebintu bye yabigaziya n’assaamu chips endala era n’assaamu amakolero agakola okulongoosa. [9][10][11][12][13][14]
Ebijuliziddwa
[kyusa | kolera mu edit source]- ↑ Dennis Ngabirano
- ↑ Dennis Ngabirano
- ↑ Dennis Ngabirano
- ↑ Dennis Ngabirano
- ↑ Dennis Ngabirano
- ↑ Dennis Ngabirano
- ↑ Dennis Ngabirano
- ↑ https://en.wikipedia.org/wiki/Mombasa
- ↑ https://en.wikipedia.org/wiki/Mombasa
- ↑ https://en.wikipedia.org/wiki/Mombasa
- ↑ https://en.wikipedia.org/wiki/Mombasa
- ↑ \https://en.wikipedia.org/wiki/Mombasa
- ↑ https://en.wikipedia.org/wiki/Mombasa
- ↑ https://en.wikipedia.org/wiki/Mombasa