Jump to content

Dingi dingi

Bisangiddwa ku Wikipedia
Acholi Dance
Amazina ga Acholi
Abaana bazina amazina ga dingi dingi

Amazina ga Dingi dingi, agamanyiddwa nga amazina g'Abacholi ag'abaana, mazina ga kinnansi agasibuka mu bantu b'e Acholi mu bukiikakkono bwa Uganda ababeera mu disitulikiti nga Gulu, Kitgum, Lamwo, Pader, ne Nwoya. Amazina gano Abacholi bagatambuzza okuyita mu milembe egyenjawulo.[1] Erinnya "dingi dingi" liva mu ddoboozi ery'ennyimba erikolebwa obugoma obutono obukubibwa abakubi b'engooma abakugu.[2][3]

Female Acholi Dancers.
Female Acholi Dancers.

Amazina ga Dingi dingi, agamanyiddwa ennyo mu by’obuwangwa mu bantu b’e Acholi, gasibuka mu mizannyo egyizannyibwa abawala abato. Ekika kyamazina kino kyakolebwa oluvannyuma lw’abazadde okwetegereza engeri ennungi gye gaakyusaamu abaana baabwe, era ne bagakubiriza n’okugawagira n’obunyiikivu, ne kyongera okugafuula eg’ettutumu.[2][4] Gatera nnyo okuzinibwa mu biseera by’emikolo gy’ekitundu n’enkuŋŋaana z’abantu.

Emitendera n’entambula ez’ennono

[kyusa | kolera mu edit source]

Entambula z’amazina z’abawala ba Acholi zisibuka mu bye bayitamu mu bulamu obwa bulijjo.[5] Mu kiseera ky’amazina, abawala bakoppa entambula ennungi eya antelopes ne ŋŋaali. Mu kiseera kye kimu, bayingizaamu entambula eziringa ez’abajaasi, mu byonna nga bagezaako okulaga obuntubulamu n'enkwe ng’omwana omuto.[2] Amazina gakolebwa ekibinja ky’abazinyi nga bakulemberwa kapiteeni, mu ngeri entuufu nga galimu omuwendo ogw’enjawulo ogw’abeetabye. Abalenzi bano bakuba ebivuga ebiwerekera amazina okuli obugoma obutono bubiri, eŋŋoma ennene, enkazaluggya, n’ekkondeere, ebikuba mu ngeri ekwatagana n'amazina. Mu kiseera kino, abawala bazina n’amaanyi mu ngeri zombi ez’ennyiriri n’enkulungo, nga bawuuba ekiwato, ebisambi, n’ebifuba nga bwe bawanise mpola emikono gyabwe waggulu ddala w’ekiwato, byonna nga bikwatagana n'amaloboozi agava mu bivuga.[2]

Male Acholi Dancers.
Abazinyi ba Acholi Abasajja.

Amakulu n’omugaso mu buwangwa

[kyusa | kolera mu edit source]

Amazina ga Dingi dingi mazina ga kinnansi ga Afirika agatera okukolebwa ku mikolo egy’okusanyuka. Kikola ng’engeri y’okulaga okubeerawo kw’abawala abato abanyiikivu mu kitundu. Mu buwangwa bw’Afirika obw’ennono, abazadde baakozesanga enkola ez’enjawulo okwekenneenya embeera y’omubiri n’obusobozi bw’abaana baabwe. Mu bantu b’e Acholi, amazina ga dingi dingi gaafuuka ekipimo eky’amaanyi mu nsonga eno, kubanga gazingiramu entambula ez’amaanyi nga galimu okuyimba okuzibu. Mu bivvulu bino, abawala abato baali balaga obukugu bwabwe mu kuzina nga bazadde baabwe beetegereza n’okwewuunya.[2]

Enkola ey’omulembe guno

[kyusa | kolera mu edit source]

Amazina ga Dingi dingi n'olwaleero gakyazinibwa mu bibiina by’ebyobuwangwa n’amasomero, mu bukiikakkono bwa Uganda ne ku mikolo gy’ennono egy’eggwanga ng'akabonero n’obusika bw’Abacholi.

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. "Showcasing the best of Acholi". New Vision (in Lungereza). 18 July 2022. Retrieved 2024-01-10.
  2. 1 2 3 4 5 "Dance away to the Acholi dingi dingi". Monitor (in Lungereza). 2021-01-05. Retrieved 2024-01-10.
  3. "We are the future of Uganda". New Vision (in Lungereza). Retrieved 2024-01-10.
  4. "Gulu's rich history". New Vision (in Lungereza). 13 September 2021. Retrieved 2024-01-10.
  5. "Showcasing the best of Acholi". New Vision (in Lungereza). 18 July 2022. Retrieved 2024-01-10.

Okusoma ebisingawo

[kyusa | kolera mu edit source]