Doctor Achaye
Doctor Achaye amannya amatuufu ye Ali Achaye. Munnayuganda era yaliko omuduumizi w'eggye ly'abayeekera erya Lord's Resistance Army mu Uganda .
Obulamu bwe
[kyusa | kolera mu edit source]Yazaalibwa mu kitundu kye Pabbo mu Uganda, nga kiyinzika okuba nga yava mu Dog Olinga. Yali omu kubaali bakwasaganya eby'okwerinda bya Joseph Kony okumala ebbanga eliwerako. [1] Yawambibwa mu 1998 mu kabuga k'e Pabbo ng’ali mu P2 mu ssomero lya Agole primary school. [2]
Mu 2013 yakulembera abalwanyi 50. [3]
Ku nkomerero ya 2014, ekibinja ky’abaserikale ba LRA mu Uganda okuli Dominic Ongwen, baatandika okuluka olukwe lw’okwewaggula okuva mu LRA. Mu Gwekkuminogumu 2014, Achaye Doctor, omu kubasirikale abaali baludde mu LRA era omu ku baali mu lukwe ne Ongwen, yategeka okutoloka kw’abalwanyi ba Uganda mwenda, ate Ongwen n’asigala mu kibinja kya Kony. Ekibinja kya Achaye kyatandikawo enkambi mu kibira ekyali eky'esudde mu ssaza ly’e Bas-Uélé mu Bukiikakkono bwa Democratic Republic of Congo gye yaddukanyiza ekibiina kye eky'ali kyeyawuddemu. Mu 2016 yagenda mu Central African Republic gye baawamba abantu baabulijjo abawerako. [4]
Ku ntandikwa ya 2021 ab’obuyinza mu bitundu baatandikawo enkola z’okuleetawo emirembe n'obutebenkevu nga bakola n’ekibiina kya Achaye ng’okukkiriza abaana b'abamukwata mundu okugenda mu ssomero ly’omu kitundu n’abalwanyi okugula mu butale. Mu Gwokubiri 2022 yatandika enteeseganya mu butongole ez’okuggya abaserikale mu magye n’abobuyinza era mu makkati g'Ogwokuna y’awaayo ebimu ku by’okulwanyisa by’ekibiina. [5]
Nga 22 Ogwomusanvu 2023 yaddayo mu Uganda ng’ali wamu n’abalwanyi ba LRA abalala 13. [6]
Ebimukwatako eby'omunda
[kyusa | kolera mu edit source]Alina abakyala babiri, wabula mu 2023 yakomawo mu Uganda ng’alina omukyala omu yekka n’abaana musanvu, ate omulala n’asigala mu Central African Republic nga nnakawere wa lunaku lumu.
Ebiwandiiko
[kyusa | kolera mu edit source].mw-parser-output .reflist{margin-bottom:0.5em;list-style-type:decimal}@media screen{.mw-parser-output .reflist{font-size:90%}}.mw-parser-output .reflist .references{font-size:100%;margin-bottom:0;list-style-type:inherit}.mw-parser-output .reflist-columns-2{column-width:30em}.mw-parser-output .reflist-columns-3{column-width:25em}.mw-parser-output .reflist-columns{margin-top:0.3em}.mw-parser-output .reflist-columns ol{margin-top:0}.mw-parser-output .reflist-columns li{page-break-inside:avoid;break-inside:avoid-column}.mw-parser-output .reflist-upper-alpha{list-style-type:upper-alpha}.mw-parser-output .reflist-upper-roman{list-style-type:upper-roman}.mw-parser-output .reflist-lower-alpha{list-style-type:lower-alpha}.mw-parser-output .reflist-lower-greek{list-style-type:lower-greek}.mw-parser-output .reflist-lower-roman{list-style-type:lower-roman}
Ebijuliziddwa
[kyusa | kolera mu edit source]- ↑ https://www.icc-cpi.int/sites/default/files/Transcripts/CR2019_03508.PDF
- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2023-09-22. Retrieved 2025-10-24.
{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ https://smallarmssurvey.org/sites/default/files/HSBA-LRA-in-Kafia-Kingi-October-2013.pdf
- ↑ https://reliefweb.int/report/central-african-republic/dominic-ongwens-domino-effect
- ↑ https://invisiblechildren.com/blog/2022/06/15/flash-action-largest-lra-demobilization-in-20-years/
- ↑ https://english.news.cn/africa/20230723/efc1204f89e34195bdac97946538f66a/c.html