Jump to content

Dorrys Mutahunga

Bisangiddwa ku Wikipedia
Dorrys Mutahunga
omuntu
Ekikulamukyala Kyusa
Ensi y’obutuuzeYuganda Kyusa
Ennimi z'amanyiLungereza Kyusa
Omulimusinger Kyusa

Dorrys Mutahunga muyimbi munnayuganda, omuwandiisi w’ennyimba, omusomesa w’ennyimba era omuyimbi okuva mu disitulikiti y’e Mbarara.[1][2][3]

Obulamu bwe obuto n'obuyigirize

[kyusa | kolera mu edit source]

Mutahunga muwala wa Mabanga Godfrey eyali omusomesa mu yunivasite ya Bishop Stuart era nga ye Ssentebe w’olukiiko lw’ettaka mu disitulikiti y’e Mbarara.[4] Alina diguli eyookubiri mu by’enjigiriza (Educational Administration & Planning) okuva mu Mbarara University of Science and Technology (MUST). Mutahunga yasoma ennyimba mu yunivasite, era alina diguli eyookubiri mu by’enjigiriza.[2][3]

Mutahunga amanyiddwa nnyo olw’ennyimba za folk‐pop, heritage / traditional music, classical, ne gospel era awandiise n’okuyimba ennyimba za folk‐pop ezisukka mu 100. Ezimu ku nnyimba ze ezimanyiddwa ennyo kuliko Keitetsi, Mugirenta, Ninkukunda, Barbara, Kwera, Believe.[1]

Ng’oggyeeko ekyo, yalondebwa State House mu pulojekiti y’okutumbula abavubuka n’eby’emikono. Mutahunga yatandikawo bizinensi y’ebintu eby’okwewunda, ng’addukanya empeereza ya ‘mobile money’ mu Bugwanjuba bwa Uganda era nga ye mukama wa kkampuni ya Dove Entertainment.[5][6][7]

Engule n'Ebitiibwa

[kyusa | kolera mu edit source]

Mutahunga yawangula omuyimbi asinga mu Bugwanjuba bwa Uganda mu mpaka za Western Music Awards (2014).[8]

Yasunsulwamu okuwangula engule ya Hipipo Award mu mutendera gw’ennyimba “Best Western Region”.[9]

Mutahunga yawangula engule ya PAM Award mu muyimbi asinga okuyimba folk pop mu 2007.[2]

Obulamu bw’omuntu ku bubwe

[kyusa | kolera mu edit source]

Mutahunga mufumbo ne Vincent Mutahunga omubalirizi w’ebitabo by’omunda mu Mbarara University of Science and Technology (MUST).[2]

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. 1 2 Unit, Pepper Intelligence (2023-06-15). "Folk Diva, Dorrys Mutahunga, to present a double video premier for"Mwiine Rukaari" and "Sacrifice" songs tonight". ONLINE (in American English). Retrieved 2025-11-15.
  2. 1 2 3 4 "We call each other honey". New Vision. Retrieved 2025-11-15.
  3. 1 2 BigEyeUg3 (2016-12-22). "Musician Dorrys Mutahunga completes Masters Degree program". BigEye.UG (in American English). Retrieved 2025-11-15.
  4. BigEyeUg3 (2017-02-19). "Musician Dorrys Mutahunga loses her father". BigEye.UG (in American English). Retrieved 2025-11-15.
  5. "Uganda Entertainment News Archives | BigEye.UG". bigeye74.rssing.com. Retrieved 2025-11-15.
  6. BigEyeUg3 (2017-11-01). "Singer Dorrys Mutahunga scoops State House deal". BigEye.UG (in American English). Retrieved 2025-11-15.
  7. BigEyeUg3 (2014-10-01). "Western Uganda's Dorrys Mutahunga Starts Beauty Products Business". BigEye.UG (in American English). Retrieved 2025-11-15.
  8. "Mutahunga takes West by storm". New Vision. Retrieved 2025-11-15.
  9. Writer, Staff (2015-02-04). "Dorrys Tipped To Bag the Prestigious Hipipo Award". ONLINE (in American English). Retrieved 2025-11-15.