EBIKA BYA BEGAYIRIZI

Bisangiddwa ku Wikipedia
Jump to navigation Jump to search

1. Abegayirizi ekika kye’ngango. Omwegayirizi ono alina amaanyi, obbuyinza n’amafuta okusaba ekigambo, okwogera ekigambo, okuleeta ekiteeso eri omuntu yenna oba eri Katonda omuntu oyo gwebegayiririra mu kituli nafuna ekyo kyeyetaaga. Okugeza Esther mu Esther 5:7 ne 8 ne Abigail mu 1Sam 25:27 ne 28 ne Joseph. Awo okusinziira ku kigambo omwegayirizi owekika kino kyaba asabye, omuntu oyo ali mu massanganzira go kusalawo afuna ekigambo oba amagezi agamutwala mu maaso era enziji ziggulwawo kwekyo kyaba agobako oba ne ziggalwa kwekyo kyaba akooye mu bulamu bwe. 2. Omwegayirizi akusookerayo mu kukola ku nsonga zo. Omwegayirizi owekika kino abeera n’omutima omuvumu okukukubira ekkubo w’ogenda okuyita. Gwe omuntu owa’bulijjo oyanjulira omwegayirizi ensonga zo nekiggwa. Gwe olaba bulabi nga biteredde tomanya bifaayo mu kwegayirira. Bewayo neberekerza ebyabwe okukola ku nsonga zo. Omwegayirizi ono alaba akabi akagenda okuggya nadduka mangu mu maaso ga Mukama aziyize ekiruyi kyaba agenda okuleeta eri abantu. 3. Omwegayirizi owakabonero Waliwo abegayirizi nga batekebwa ku nsi oba nga bazalibwa nga akabonero. Obulamu bwabwe bwe batambula lubeera lugero eri abalala. Obulamu bwabwe bwoleka ekigambo kya Katonda. Okugeza obulamu obwo’bwetowaze n’okugonda mu mbeera ezenjawulo ezitakkiriziganya na diina oba nzikiriza. Ekyokulabirako Hosea yawasa Malaya, Isaaya yambula bukunya era nga tali mu ngatto. 4. Abegayirizi abalina omwoyo wa Eriya ku bbo. [ Malachi 4:6] Omwegayirizi owekika kino azimba olutindo wakati w’omulembe ogw’okusatu, okusobozesa abaana abo okusala olutindo obulungi bafune obusika bwabwe. Katonda awalana eggwanga okuva ku mulembe ogusooka ppaka ku gw’okuna era tasanyukira mu kufa kw’omubi kyava atekawo omwegayiriza ono atabaganye abaana ne b’akitaabwe ng’ayita mu kwenenya n’okwegeyirira kulwe butali butukirivu bwabwe. 5. Abegayirizi abekika kyobwakabona. Nga Yesu bwe yali omwana wa Katonda butereevu nga kiri mu musaayi gwe okwegayirira. Bano batera kusangibwa mu kkanisa nga begayirira kulw’abasumba mu kkanisa eyo mwaba atereddwa okwegayirira. Mu butukirivu ne mu butukuvu mwe bayima okukola emirimu gyabwe. 6. Omwegayirizi Omununuzi. Okugeza Musa ne Eriya mu kugondera ekigambo kya Katonda baawakanya amaanyi g’abafuzi ne bakabaka ba mawanga [Exodus 7:12, 8:18, ne 1Kings 18 :36 -39]. Ba Katonda ba mawanga ganobawangulwa Musa ne Eriya okusobozesa abaana ba Israel okuva mu busibe. Abegayiriza bano bakikola mu kulwana entalo ez’omwoyo ku lwabalala nga Katonda aleese obulokozi eri omuntu oyo oba n’akikola mu kulangirira omukisa eri obulamu bwa bantu abo Katonda babeera amutumyeko. Tewali kyebasobola kukola kulwabwe nga bbo nga Katonda tabatumye. Era bwebagezaako okwetumikiriza okukola Katonda kyatabagambye kukola, bakubibwa. 7. Omwegayirizi Omukuumi w’omulyango. Abegayirizi ab’ekika kino baweebwa obuyinza okuggulawo n’okuggalawo enziji ku bulamu bwa bantu. Obagerageranya ku bakabaka nabalamuzi b’ensi eno. Okulamula n’okusalawo kwe bakola kuva mu nneyisa yabwe n’okutambula n’Omwoyo Omutukuvu mu bulamu bwabwe obwa bulijjo. Okusalawo kwabwe kuva mu kuba nti baleese ensi eno byeyagala era byetambulirako nebatambulira mukwagala kwa Mukama Katonda. Amanya gange nze Kenneth Kizito nga ndi Mwegayirizi. Nsaba onkubire ku ssimu ku +256752076796 oba +256787846995 otegeere OMWEGAYIRIZI BYATEKEDDWA OKUKOLA. Abalala basomye Ekitambo,EKIKOLIMO,OBULOGOnebabitegeera.