Jump to content

EMMANUEL COLLEGE KAZO, KAMPALA

Bisangiddwa ku Wikipedia

Emmanuel College Kazo, KAMPALA, ssomero lya ssiniya erisangibwa mu kigo kye Bwayiise, mu ssaza ekkulu ery'e Kampala. Lisangibwa e Kazo ku kisomesa, awo wennyini awali amasiro g'Omumbejja Clara Nalumansi, omukyala eyattibwa Kabaka Mwanga olw'okusoma eddiini ye enkatoliki mu 1888. Essomero lino lisomesa abaana abawala n'abalenzi, abava ebweru n'ab'ekisulo, nga liva ku ssiniya esooka okutuuka ku ssiniya ey'omukaaga.. Lyatandika mu Ssebaaseka mu 1986. Mu ssomero lino, abaana basomesebwa eby'emikono okugeza: Okufumba ebintu eby'enjawulo okwetoolola ensi eno, okukanika emmotoka ne kompyuta, eby'obulimi, okubajja, ebyokutunga, n'ebirala bingi.