ENSIRINGANYI BAZIZAALUKUSSA

Bisangiddwa ku Wikipedia

ENSIRINGANYI BAZIZAALUKUSSA [VIRMCULTURE or EARTH WORM FARMING][kyusa | edit source]

Okuzaalukussa ensiringanyi kwava dda kubajjajja ffe. Mu’ensi ezakula edda waliyo n’amalundiiro kwe bazaalukussiza ensiringanyi era nga bazigguza abavubbi abavubisa amalobo. Nga ojeko okuzilobesa ebyennyanja, ensiringanyi zirya kasassiro nakunkumuka navunda, najjimusa ettaka. Awo nno oba ofunye ekigimusa ekirimu ebirungo ebiretebwa ensiringanyi ebya fosifolasi [phosphorus], potasiyamu [potassium], kalisiyamu [calcium], n’e magineziyamu [magnesium] ebijimussa ebimea. Ensiringanyi zikola amakubo mu ttaka neziyamba emirandiira gy’ebimera okulandiira mu ttaka.. Ensiringanyi ziyamba abalimi okuvvunza n’akavvundia owabuli kkika nakozesebwa mu nnimiro ne mu mere y’ebisolo nga embizzi. ‘’Ensiringanyi zisangibwa wa?’’Zisangibwa kumpi buli awali entumu z’anakavundira oba mu ttaka eririranye ebitaba by’amazzi,oba emigga. Mu’ensi eziri obuvanjuba namaserengetta ga Africa [East and Southern Africa] tusangayo ebika by’ensiringanyi ebikumi bisattu 300, era nga ekika kyensiringanyi ekisinga okumannyika mu kukozesebwa abavubbi mu kuloba ebyennyanja , kye kika ekiyitibwa [ Tiger worm]. Erimu ku makolero agazaalukussa ensirinanyi mu nsi eya [South Africa], emanyiddwa ra esangibwa mu [ Parks department Nursery off Randles Road, Durban] Ekolero lino lizaalukussa era ligaba n’ensiringanyi eri abo abagala okutandiika okuzaalukussa ensiringanyi. ‘’Ensiringanyi ezaala etya?’’ Buli nsiringanyi elina ebitundu byombi ebizaala. Ebisajja n’ebikazzi. Ensiringanyi ebiri bweziba zaliraniganye ziwanyisiganya enkwaso enzaazi [sperm cells]. Ensiringanyi zirina ekitojji awo nga ku mutwe kyebayita [ clitellum] era ensiringanyi bwezimaa okuwanyisiganya enkwaso, enzaazi, amaggi nga gagenda mu ekyo ekitojji. Kino nno ate nga kivako nga kyetugga nga kifuuka essonko oba ekissu kye nsiringanyi. Oluvanyuma lwa sabitti sattu amaggigavamu ensiringanyi eziwereza ddala obuwanvu bwa [2mm] milimita bbiri ate nga ziri mu langi njeru.Bwewayitawo ennaku nga nnya ate zifuuka za langi myufu eyoluberela. ‘’Otadiika otya edundiiro ly’ensiringanyi?’’ Kozesa ekidomola oba sefuliya ejamu ekdomola ky’amazzi, . Giwumulemu ebituli mu ntobo ne mu mabali gayo,. Sefuliya eno gituuze ku matafaali anna empewo esobole okuyitamu. Tekamu omusennyu mutonotno gubikke ebituli ebisooka. Tekako olubaawo ku musennyu ng;olekayo ebanga , totuusa ku sefuliya naye lwetolooze olugoye lwona olunaziyiza ensiringanyi obutafuluma. Wagulu wolubaawo ywako ettaka lya nakavundia otekeko ensiringanyi . ate era wano ogatamu ne ku ttaka eritali lya nakavundira. Esefuliya gibikeko omukeeka oba ekiwempe , otandiike okufukirira okumala ennaku nnya. Muteeke okumala ennaku kumi nga tofukirira, era agya kuleeta ebugumu. Oluvanyuma lwe nnaku ekumi, mugyeko omukeeka awole bulungi. Nakavundiira ono mutabulemu layimu [lime], okusinzira ku bunfi bwe, kilo emu etabula obugazi bwa mita emu [1 cubic metre]. eya nakavundira. ‘’ Okuliisa ensiringanyi’’ Funa akataasa ka kalimbwe w’enkoko, kayiwe ku ngulu mu sefuliya ya nakavundira , obikeko okumala sabiti emu, awo nno ensiringanyi zitandiike okulya nakavundira. Buli sabiti satu obeera otabulamu afune ku mpewo ea osobola nokusekuliramu ebisosonkole bya’amaggi birise ku nsiringanyi. Tosulamu gamba nga ebikuta by’emikyungwa, oba eniimu, omuddo, oba ennyama , bijja kutta ensiringanyi. ‘’Enimiro y’ensiringanyi ogikuuma otya?’’ Esefuliya gyolundiramu ensiringanyi togiteeka mu musana oba mu bunyogovu obuyitiridde. ‘’ Okungula otya ensiringanyi’’ Oluvannyuma lw’emyezi esatu ensiringanyi ziba zituuse okufuluuma. Sabiti eweza emyezi esatu, wagulu wa sefuliya yanakavundira tekako attaka tonotono lija kusittula ensiringanyi zidde wagulu mu sefuliya. Funa ekifo nga emezza otekeko empapula, tekako ettaka lyanakavundira elyawagulu. Ettaka eririwansi mu sefuliya lyawuzemu, erimu likozese mu nimirozo eddala lisigalewo olikozese mu kuzaalukussa ensiringanyi endala. <ref>www.dsw.org Joyce Nanjobe Kawooya