ENTOBAZI

Bisangiddwa ku Wikipedia

ENTOBAZI {WETLANDS} N’ ETEEKA ERYAKOLEBWA OKUSOBOLA OKUKUUMA N’OKULABIRIRA ENTOBAZI ERYA LUKUMI MU KYENDA MU ETAANO -1995 MU {UGANDA}

{ NATIONAL POLICY FOR THE CONSERVATION AND MANAGEMENT OF WETLAND RESOUCRES IN UGANDA} 

Eteeka lino lyabagibwa minisitule evunanyizjbwa ku’butonde bwensi. Enyanjula Entobazi tuzingiramu ebidibba, emigga, ebiibira, enyanja,era nga bino byamugaso nnyo. Abantu abasinga beyunye nnyo entobazi olw’emigaso emingi zebiyina era nga abantu abamu bakozesa entobazi zino kubanga basobola okujjamu ebintu ebisoobola okuzimba, ebintu ebisoobola okukozesebwa mu kuluka nga enjulu eziruka ebibbo, ensansa eziruka emikeeka, ebitoogo ebiruka ebiwempe, n’ebintu ebirala bingi ebiyinza okukolebwa mu bintu ebisangibwa mu’ntobazi. Ebiibira nabyo emirundi egisinga tuyinza okubitwalira mu’ntobazi kubanga emigga egisinga n’enzizzi bitandiikira mu biibira. Ebiibira bino biyina emigaso mingi okugeeza tujjamu emmere, biyamba okuyonja empeewo, bituteerekera ebisolo byaffe, tujjamu ebintu ebikozesebwa mu ‘makolero g’ebibajje. Ate mu m’igga namwo tusangamu ebyenyanja n’ebisolo ebirala ebisangibwa mu mazzi. Mu 1986, abakkugu balambiika nti embeera y’emigga n’ebiibira yali ekosebbwa nnyo era nga emirimu tegigenda bulungi, era n’obutonde bw’ensi bwaali tebufiibwako nakamu. Mu kiseera ekyo wabagibwawo amateeka agakugira abantu obutayoonona butonde bw’nsi mu 1995, gamba nga okuzimba mu ‘ntobazi n’okulima mu’ntobazi. Amateeka gano gabagibwa okusoboola okukendeeza okwongera okwonoona obutonde era gagenderela okuteekawo enkola obutonde bw’esi gye bwaali bulina okukuumibwa okusoobola okuyamba abantu abensangi ezo, abensangi zino okuzikozesa mu nnkulakulana ate era ne mubiseera eby’omumaa nabo okuzisanga n’ekibasobozesa okuzikozesa obulungi {Sustainable Development} Amateeka gano gagendererwa kwongera ku migaso gy’obutonde nga mwotwalidde n’entobazi. Emigaso gy’entobazi Emigaso gino giyinza okwawulibwamu mu bitti bibbiri: Ejateekebwawo obutonde {ecological} N’Abantu gy’ebafunnyemu omugaso {social – economical} Entobazi ziyamba amazzi okubeera awamu era kiyamba ebimera okufunna amazzi. Entobazi ziyamba ettaka obutakulukuta naddala nga waliwo emiti. Emiti gino giyamba okukwata ettaka eryalikulukuse. Entobazi zikuuma ebimera n’ebisolo ebisangibwamu mu mbeera ennungi. Mu ntobazi tufunamu ebitoogo eby’eyambisibwa mu kuluka ebintu by’emikono nga okuluka emikeeka, ebibbo, tufuna enjulu era n’emiti egiyinza okukozesebwa mu kuzimba. Mu ntobazi tufunamu ebyenyanja ebituyamba okutuzamu amanyi. Ebisolo ebisinga bitwalibwa ku ntobazi nebisobola okufuna eky’okuzza eri omumwa naddala mu budde obw’ekkyeeya. Entobazi zituwa amazzi agatuyambako mu makolero , mu birime era n’ebisolo. Abalambuzi bajja nnyo okulaba entobazi zino era nebasasula ssente okusoboola okuzilaba, kino kiyamba nnyo eggwanga okulakkulanna. Newankubadde entobazi zirina emigaso mingi, naye ate era n’ebizibu ebisangibwamu biyitirivu. Abantu abasinga tebamanyi mugaso gwa ntobazi era bazonoona nga bazijjawo n’ebazimbamu amayumba n’okulima emmere, ekiretedde entobazi azisinga okusanawo, kino kitureteddwa ensonga y’obwaavu n’obufunda bw’ettaka. Ebigendererwa bya Gavumenti ku’mateeka agafuga obutonde bw’ensi. Gavumenti ya {Uganda} eteeka bino mu kukola: Okunyweezza amateeka agaakolebwa okusobola okukuuma obutonde era n’okukozesa obutonde okusoboola okuberawo kati ne jebulijja. Okubonerezza abantu abasangibwa nga bonoona obutonde okusobola okumalawo abazi be misango. Okukuuma emigaso gy’entobazi. Okukuuma obulamu bw’ebintu ebisangibwa mu ntobazi nga ensolo n’ebimera. Gavumenti ekiriza emirimu egitasanyawo butonde bw’ansi, gamba okufuna amazzi aganywebwa, okuvuuba mu nvuba ennungi n’okulunda. Era ekubirizza abantu n’ebitonole ebya nnakyewa okwongera okwogera ennyo n’okusasannya ku migaso gy’entobazi. Ref:WWF/lvceep