Jump to content

Ebibuuzo ku kumanya (Questions on knowledge)

Bisangiddwa ku Wikipedia

Ebibuuzo ku Kumanya(Questions on knowledge) okusinziira ku Charles Muwanga !!

Wali osoomozza omulengera gwo(your mind) ku mulamwa gw’okumanya(knowledge) ?


Mu butuufu tewali muntu asobola kunoonya kumanya nga tamanyi okumanya kye ki? Okusobola okutuuka okumanya ku buli kintu, yiga okwebuuza ebibuuzo nga bino ku kumanya:

a) Okumanya (knowledge) kye ki?


b) Omuntu atuuka atya ku kumanya?


• ng’atunula n’alaba n’amaaso ge?

• ng’akwatako?

• ng’alegako?

• Nga awuliriza?

• Oba ng’ogattika byonna?


c) Njawulo ki eri wakati w’okusegeera (sense perception), okutegeera (understanding), n’okumanya (knowing).


d) Omanya otya nti omanyi?


• Kuyita mu kusegeera okw'enketteso zo ez'omubiri(sense perception using his or her body senses) nga otunula n’olaba, nga owuliriza, nga owunyiriza, nga olegako, oba nga okwatako?

• Nga okozesa obwongo okwefumiitiriza ku ky’osegedde ne sensa zo ettaano?

• Ng’okola enkakaso (experimentation)?

• Oba ng’ogattika byonna?


e) Omuzadde oyamba otya omwana okuyiga okutuuka ku kumanya okwetengerevu?


• Ng’amuyigiriza okulambika ensonga?

• Ng’omuyigiriza okulambulula ensonga

• Nga omuyigiriza okunoonya fakikya, obutuufu, oba obukakafu?

• Oba byonna?

(f) Njawulo ki eri wakati w’okulambika n’okulambulula ensonga.