Ebigendererwa, Ebiruubirirwa, n'Ebiruubiriro(Goals, Aims, and Pbjectives)

Bisangiddwa ku Wikipedia

From IALI NGO with authority from Terminologist Charles Muwanga.

Ebigendererwa ,ebiruubirirwa , n’ebiruubiriro (Goals, Aims & Objectives)

Enkuluze y’Olungereza eyitibwa “The Oxford English Dictionary” esonjola serinnya “ekiruubiriro” nga ekigendererwa oba ekiruubirirwa .Okiraba nti wano emiramwa gino giragibwa okutegeeza ekintu kye kimu kyokka ekituufu kirir nti mu bayivuwavu(among intellectuals) ekigendererwa, ekiruubirirwa , n’ekiruubiriro miramwa gya njawulo.

Ekigendererwa ky’ekyo ky’oyagala okutuukako .Okukituukako olina okubaako by’oluubirira okuyitamu era bino bye biruubirirwa (goals) .Omusambi w’omupiira okusoboka okutuuka ku ky’agala(target) alina okuzannya omupiira gw’asamba okulaba nga guyita mu kiteebero(goal) netuuka ku kiruubiriro(objective) eky’okuteeba . Okutuuka ku kuteeba olina okuluka obulungi enzannya zn’olyoka oteeba .Okuluka enzannya yo okutuuka ku kuteeba bye biyitibwa ebiruubiriro (objectives).

N’olwekyo wano oba okiraba nti ekiluubiriro ky’ekintu ky’oyinza okukola okutuuka ku ky’oyagala. Ekigendererwa kiyinza okuba kya kuwangula ,ekiruubirirwa ne kiba kya kuteeba ate ekiruubiriro ne kiba kya kuteeba ebiteebo bisatu ku ziro. Oyinza okuba n’ekigendererwa eky’okusitula omuntindo gw’obulamu bwo ate ekiruubirirwa ne kiba kya kukendeeza ku mubiri gw’olina olwo ekiruubiriro ne kiba kya kukendeera na kirogulaamu emu buli mwezi.Waano okiraba nti ekiruubiriro kibaako ekipimifu (measurable), kyesonjovu(specific) kituukibwako ate nga kitegeerekeka.

Omusuubiuzi bw’atandika okusuubula ebiseera bingi ayinza okuba ng’alina ebiruubirirwa n’ebiruubiriro ebitali birambulukufu.


Ekigendererwa kitegeeza wa bbizineezi gy’esuubirwa okutuuka mu ebiseera ebitali bya wala nnyo. Ekigendererwa kiba kigambululo ekiraga wa bizineesi w’oyagala etuuke mu maaso, ekiteebo .Kiba kigambululo ky’ekyo ky’oyagala okutuukako (statement of purpose) .Eky’okulabirako oyinza okugamba nti “twagala okugaziwa nga tutunda kasooli mu Sudani eya bukiikaddyo.

Ebigoberero by’omusuubuzi biba bipimifu nga biraga engeri gy’oyagala okutuukiriza ebigendererewa byo. . Eky’okulabirako Mu mwaga ogujja ogwa 214 twagala okwongeza obungi bwa kasooli gwe tutunda mu Sudan eya Bukiikaddyo


Ebigoberero bya bizineesi ebikulu biyinza okubaamu:

Obutasasika – ekigoberero kya bizineesi ezakatandika oba nga bizineesi empya eyingira akatale oba mu biseera eby’akasambattuko.

Okulinnyisa amagoba –gezaako okulaba nga okola ky’osobola okwongeza ku magoba .Kino kitera okuba ekigendererw kya nannyini bizineesi.

Okulinnyisa ebyettunzi– bizineesi era okusobola okusigala mu kuvuganya erina okulaba nga etunda ebintu bingi ddala nga bwe kisobola. Mu butuufu bizineesi obutasasika esinziira ku kuba nti ngazi. Bizineesi engazi eba eganyulwa okuva mu by’enfuna ebigazi( economies of scale).

Oluusi bizineesi eyinza okukizuula nti ebimu ku bigoberero byayo bikontana .Eky’okulabirako okugigaziya kiyinza okuba nga kikontana n’okukola amagoba.Eky’okulabirako okulinnyisa ebitundibwa mu kiseera ekimpi kiyinza okukendeeza amagoba eg’ekiseera ekimpi ka tugambe olw’okuba oba osaze ebisale osobole okutunda ennyo.

Okukyusa ebiruubiriro

Bbizineesi eyinza okukyusa ebiruubiriro oluvannyuma lw’ekiseera olw’ensonga ez’enjawulo ,omuli :

a) Okuba nti etuuse ku biruubiriro byayo ate era nga ejja kwetaaga okweyongerayo ku kiruubiriro ekirala .Eky’okulabirako , ekiruubiriro eky’obutasasika mu mwaka ogusooka singa kiba kituukiddwako bizineesi eyinza okugenda ku kiruubiriro ekiddako eky’okulinnyisa amagoba mu mwaka ogw’okubiri.

b) Embeera ey’okuvuganya eyinza okukyuka, singa bbizineesi z’ovuganya nazo ziba zitongozza ekyettunzi ekirara ku katale.

c) Tekinologiya ayinza okukyusa empunda y’ebikole. Ekitegeeza nti ebitundibwa bikyuka .