Ebikolwa ebigerekere(Instinctive acts)

Bisangiddwa ku Wikipedia

IALI NGO has been authorized by Muwanga Charles to post this article from his Luganda scientific works on Luganda Wikipedia for free public consumption.

Ebikolwa ebigerekere(Instinctive acts) . Noonya "engerekera z'Obutonde (the natural instincts).

Ebikolwa ebigerekere (instinctive actions) . Buli kikula (sipiisa) ya nsolo mu butonde erina enneeyisa oba ebikolwa ebyagigerekerwa Katonda esobole obutasaanawo. Ebikolwa oba enneeyisa zino ziyitibwa “ngerekela”(intincts) oba “ebikolwa ebigerekere” (instinctive acts). Waliwo engerekera (instincts) eziri mu nsolo zonna nga n’omuntu mw’omutwalidde ate ne wabaawo ezo ezeyolekera mu sipiisa oba ekikula ekimu kyokka.

Waliwo enjawulo wakati w’ebikolwa ebigerekere(instinctive acts) n’ebikolwa ebiyigirize oba ebiyige(Learned acts). Ebikolwa ebigerekere (instinctive acts) bikolebwa ensolo awatali kumala kutendekebwa yadde okulowooza. Ekyokulabirako, ensolo oluzaalibwa ayaayanira okufuna ekyokulya oba okuyonka. Kyokka era ebikolwa ebigerekere ebimu byekuusiza ku mbeera ensolo mweba eri.

Ekikolwa ekigerekere oba Engerekera (instinct) ky'ekikolwa ekitali kyeyagalire"(involuntary act) ate nga si kikolwa ekiyigirize(learned act) mu nsolo ekireetawo enneeyisa etakyuka. Enneeyisa engerekere (instinctive behaviour) nkola ya buzaale Katonda gye yateekawo mu butonde okusobozesa sipiisa (ebikula) z’ensolo obutasaanawo (survival). Buli kikolwa ekigeeekeee kieina ekikisikieiza/ekikisitimula (stimulus). Okutwaliea awamu, ebikolwa ebigeeekeee mulimu bino:

        Ekikolwa ekigerekere	         Ekikisikiriza(Ekikisitimula)


• Ssekaloopera enketteso z'omubiri(body senses)

• Okukozesa obwongo enketteso z'omubiri

• Okwerwanako kulumbibwa

• Okulya njala ,kuwunyiriza, kulaba

• Okukola omukwano bwetaavu, kutabagana, kwegomba

• Okwegadanga kwegomba , kufuna bwagazi

• Okuzaala kukola mukwano

• Okuva mu mbeela kukyankalanyizibwa, kunyigirizibwa, kusanyuka

• Okusinza Katonda kwewunya ekibalo ky’obutonde

• Okwetoowoloza olubuto okukola ku mmele omuntu gyalidde

• Okukwata obukusu okuwuliriza

Ebyo waggulu bye bimu ku bikolwa by’engerekera/ebikolwa by’omuntu ebigerekere oba ebikolwa ebigerekere omuntu (human instincts).

Okufa n’okuzaalibwa kyatutondelwa era bye bimu ku bibaawo mu bulamu bwaffe kyokka nga si bikolwa byaffe wabula bya Katonda kubanga tewali muntu akola kikolwa kya kufa oba akola ekikolwa ekyokuzaalibwa kwe; okufa n’okuzaalibwa bikolwa bya Katonda yekka. Tebyatugerekerwa kukola kyokka byatundolwa . Engerekera yeyolekela nyo mu kulwana n’okwegadanga kyokka engerekera esinga okweyoleka mu bwangu ye ya “ssekalopera” (reflex).

Ne mu butonde bw’ebisolo waliwo ebikolwa ebigerekere, ebimu nga bijjilawo mbagirawo, buli kisolo kyebikola mu ngeri “etali ya kyeyagalire” (involuntary)), bino byonna nga bigerekeddwa Katonda mu butonde, gamba nga okulya, okwegadanga, okwetaasa okuva mu kabi, okukwata obukusu ,nebirala ; kyokka ebisolo ebimu ng’embwa nga bitendekeddwa okukola ekintu bikola ekintu bulungi okuyita mu kukwata obukusu (conditioning).

“Okukwata obukusu” kiva mu kikolwa ekigelekele eky’ekinyonyi ekiyitibwa enkusu ekyokukoppa amaloboozi g’abantu ne kigegeegenya , si lwa kuba nti kikozesa bwongo okuba nga kitegeela kyekikola.

Ebikolwa ebigerekere eby’okwelwanako, okulya, okuzaala n’okuva mu mbeela biri mu nsolo zonna (ekitegeeza mu bantu ne mu bisolo). Naye ekikolwa ekyokukozesa obwongo n’okusinza Katonda kilabika nga kiri mu kikula kya muntu kyokka .

Ate ela mu butonde ensolo zonna nga n’omuntu mw’omutwalidde zikola ebintu ebigerekere kyokka omuntu akozesa obwongo okusalawo okwenjawulo ku kyokukola.

Omuntu alina obusobozi okulondamu oba okusalawo ku kikolwa ekigerekere nga akozesa obwongo. Ekyokulabirako, kikolwa kigerekere ensolo okulya naye ekisolo olulaba ekyokulya kiryabuli kyokka omuntu ye ayinza okusalawo okukilya oluvannyuma oba obutakirya olw’ensonga emu oba endala ,gamba ng’okuba nga kiddugala ,kyetaaga kwozebwako oba okuba nga waliwo bya kyayagala okukola.

Okukola omukwano nakyo kikolwa kigerekere era ekisolo ekisajja olulaba ekikazi nga kikirinyira lwa mpaka yadde mu kifo eky’olukale. Omuntu  alina ensonyi , yelondobozamu ate ela amala ku kkaanya takwata lwa mpaka.   

Yadde ng’omuntu akolera ku bikolwa ebigerekere, ebiteeketeeke mu butonde, alina amagezi agawaggulu agamuyamba okukozesa obwongo bwe okusalawo ddi lwaba akola ekintu oba obutakola kintu ekimu oba ekirala.

Mu butuufu ensolo endala ebintu byezikola tezimala kwefumitiriza lwaki zibikola wabula z’esanga zilina okukola ekyo olw’obutonde gamba ng’enkoko okubiika amagi n’egamaamira ate bw’emala okugaalula n’ebeera n’obukoko bwayo okutuuka bwebukula. Enkoko eno temala kwefumitiriza kukola kino wabula yesanga ekoze ekyo.

Ebisolo obudde obukya bitandika kulya kasita omuddo oba ekyokulya kibeerawo tezirina kwefumitiriza mu kikolwa kino y’ensonga lwaki ne bwe zikkuta zigenda mu maaso n’okulya ppaka ng’obudde buzibye.


Okukkaatiliza ku bikolwa ebigerekere

Bw’oba otambula n’osanga amaggwa mu kkubo oyimirira mangu oba n’odda emabega awatali kusooka kwebuuza kya kukola. Endegeya ng’ezimba enyumba yayo temala kulowooza naye ekikola mbagilawo awatali kukirowoozako. Bino bye bikolwa ebigerekere. Ani eyabigerekera ensolo? Namugereka ddunda!!

Ebikolwa ebigerekere biva ku bijjawo (reactions) mu kuddamu (in response) kasikiriza/okusitimuka (stimuli). Ebikolwa ebigerekere bilimu “sekaloopela”(reflex) atali muleetere/muteeketeeke(unconditioned ).

Omulamwa gw’ekikolwa ekigerekere ne ssekaloopera atali muleetere gifaanagana. Omulamwa gwa ebikolwa ebigerekere gutera okulaga sekaloopela ow’ekintabuli(complex) atali muleetere ow’enjawulo yekka ; gamba nga okulya, okwelwanako, okwegadanga so si sekaloopera atali muleetere ow’ngeri ennyangu nga okutemya, okunyiza, n’okukolola .

Buli kikolwa kigerekere kirina olujegele (chain) lw’enziramu (reactions). Okusinziira ku kino tuyinza okwawula ebikolwa eby’engerekera bwe tuti:

1. Engerekera y’okuva mu mbeera(the instict of emotion)

2. Engerekera y’Okulya:- yeragira mu lujegere olwelagira mu kukunganyiriza emmere, okukwata emmere, okutereka emmere n’ebirala.

3. Engerekera y’okwekuuma:- yeyorekera mu lujegere olulimu ebibaawo(reactions) nga okudduka , okwemulula, okwekweka, n’okwanganga ng’ensolo ekozesa ammannyo, enjala, amayembe , amagulu ,emikono , n’ebirala.

4. Engerekera y’okwegadanga:- omuli olujegere lw’okukola omukwano, okuzanyiikiriza, okuyimba, amazina, okuwubira, okugenda mu kifo ekyekusifu n’ebirala.

5. Engerekera y;Obuzadde:- eyeyolekera mu lujegere lw’okuzimba awokukuliza ebito,okutereka emmere y’ebito, okuliisa ebito, n’okutendeka ebito okwekuuma ,okuyigga , n’ebirala.

6. Engerekera y’Entabaganyi(Group instincts):- muno mulimu olujegere oluliko enkolagana oba okutabagana wakati w’abantu , ebisolo ebyeyolekera mu kwekuuma okwa wamu , okuzimba, n’ebirala.

7. Okumanya (okutegeera) Okwembagirawo (intuition)


Okumanya/okutegeera okwembagirawo kuyamba nnyo omuntu okukozesesa “amagezi aga bulijjo/amagezi agajjirawo” (common sense).

Mu kumanya okwembagirawo, okufaanana ng’ebikolwa ebigerekere ebirala, tewaba kulowooza wabula okutegeera kujjirawo. Okumanya okwembagirawo tekukontana na kikolwa kya kwefumiitiriza oba okwebuuza kuba nakyo kikolwa kya bwakalimagezi ekiva mu magezi agawaggulu omuntu gaalina.

Ssinga obadde otambula ekiro nga waliwo ensolo oba omuntu omukyamu ali mu maaso gy’olaga okwatibwa ensisi oba n’owulira nga enviiri ezikuva ku mutwe, ekintu ekikulabula nti gyogenda mu maaso waliwo ekikyamu. Kuno kuba kutegeera kwa mbagirawo, awatali kukirowoozaako oba okukiteekako ebirowoozo.

Omuzadde oba omuntu omulala yenna bwasanga omwana nga yebase mu musana afuna okutegeela okwembagirawo nti kirabika omwana ono mulwadde.Ate era bw’osanga omuntu atunula nga munakuwavu oba alabika ali mubilowoozo ofuna okutegeera okwembagilawo nti omuntu ono alabika alina okunyigirizibwa oba akyankalanyiziddwa.

Ate ssinga oba ovuga emmotoka n’otuuka mu koona ofuna okutegeera okwembagirawo nti eyo mu maaso oyinza okusanga ekikwekiise mu kkubo; okutegeera okwembagilawo kuno kukuyamba okukendeeza sipiidi ng’otuuse mu koona w’otolabira mu maaso gy’olaga.

Bw’olinnya ku lusozi oluwanvu n’otunuulira obwengula n’olengera obulungi bw’ensi na buli ekiriko ofuna okumanya okwembagirawo nti waliwo Katonda eyatonda buli ekiri n’ekibalo ekya waggulu. Bwova eri ng’odduka mu maaso n’olengerayo oluwonko okendeeza emisinde era n’oyimirira olwokutegeera nti kiyinza okuba ekyobulabe okugwa mu kinnya ekyo.

Okutegeera okwembagilawo kiraga nti waliwo ensibuko y’okumanya eyawaggulu eteekusiza ku “bwakalimagezi” (amagezi ag’obwongo) .

Bwoba otambula n’osanga omukka ogunyooka mu nju ofuna okumanya okwembagirawo nti enju egenda kukwata muliro. Ssinga osanga omuntu ng’ayimiridde ku balukoni ku kalina ey’emyaliiro abiri ofuna okutegeera okwembagirawo nti aliko ekikyaamu ku bwongo kubanga ekikolwa ekyo kiyinza okuteeka obulamu bwe mu katyabaga kyokka ye takiraba.

Mukumanya okwembagirawo mulimu n’olulimi lw’omubiri (body language) oba okwogelera mu bikolwa. Ssinga osanga omuntu ng’akutte ku ttama ofuna okutegeela okwembagirawo nti waliwo ekizibu ekiguddewo.

Okumanya okwembagirawo kusobozesa omuntu okuba omwegendeleza n’okwekengela okusinziira ku ki kyalabye. Ssinga omusajja atali mufumbo ayita omukazi agende amukyalireko ewuwe omukazi afuna okumanya okwembagirawo neyekengera nti oba oli awo omusajja oyo ayagala kumusobyako ; wano omukazi ono kyakola butagendayo oba kugendayo nga waliwo amuwerekeddeko.


Engerekera y’okuva  mu Mbeera 


Kino kikolwa kigerekere ekyatugerekerwa Katonda . Waliwo embeera ez’obutntu n’embeera ezitali za buntu omuntu zayiynza okuba nazo . Ez’obuntu mulimu okusanyuka, okunyumirwa, okunyiiga, okunakuwala, okusaasira, n’endala . Ezitali za buntu mulimu obukambwe , obukyayi , obutagambwako, okwemanyamanya, emputtu, n’endala.

Ssinga wali osobola okubaako wooli mu bwengula n’olaba buli ekikolebwa ensolo eziri ku nsi wandirabye katemba atali musasulire alimu ebisanyusa, ebyewunyisa, n’ebyennaku.

Katemba alimu ebisanyusa ayitibwa “komida ate oyo akomekkereza ne nnaku, obulumi n’okunyolwa ayitibwa “katemba ow'entiisa”. Muno mubaamu bakazannyirizi ab’enjawulo; wabaawo ayitibwa kazannyairizi omukulu, ayitibwa omuzira, “omupalataganyi” (protagonist) oba omuzira ow’ekikolimo.

Ne mu bulamu ku nsi kuno kyekyo kyennyini ekiriko ng’ensibuko yaakyo eri mu bintu bisatu:

(i) Okuva mu mbeera (y’obuntubulamu).

(ii) Obutaba na bwakalimagezi ku bikolwa bijja balala mu mbeera.

(iii) Emyoyo Emibi

Mu butonde, ensolo eyitibwa omuntu ebeela mu mbeera ey’obuntubulamu okujjako ng’eliko ekikyamu ku mutwe.

Obuntubulamu mulimu okusaasira, okulumirirwa, okuyamba, n’okumanya enneeyisa oba ebigambo ebiyinza okujja omuntu omulala mu mbeera.

Ng’ojjeeko embeera ey’obuntubulamu eyo buli muntu omulamu alina embeera ey’omubiri emulimu kyokka nga si y’emufuga. Embeera eno erimu okunyiiga, okunyumirwa, okulumwa, okunakuwala, okwejaakajaaka, okwemanyamanya, obutagambwako, n’obutafa ku balala.

Ebimu ebiri mu mbeera eno ssinga omuntu takozesa bwongo kubifuga oba kubikugira bifuula obulamu bwe obw’ekikolimo n’akomekkereza mu nnaku oluusi n’okufiira mu manyi oba mu ntiisa. Ono bwaba nga mukulembeze oba alina ekifo eky’enjawulo mu ntabaganyabantu ayitibwa “mupalattaganyi” (protoganist) oba omuzira ow’ekikolimo (tragic Hero).

Ekireetera omuntu okweyisa bwatyo “n’ava mu mbeera ey’obuntu (to become emotional) guba mubiri (mutima) so sikukozesa bwongo. “Okukozesa obwongo” kye kikakkanya omuntu avudde mu mbeera y’obumtu (ey’Obuntubulamu).

Omuntu avudde mu mbeela bwatakozesa bwongo kuzza mbeera ye mu nteeko asobola okwekyaawa era omuntu bwaba nga mu buzaale (genetically) bwe tasobola kufuga mbeera (control emotions) ye ey’obusungu bagamba nti muntu wa busungu (is tempered). Omuntu okuba omusunguwavu mu kiseera ekimu tekitegeeza nti wa busungu kubanga oyinza okusunguwalamu olw’ensonga emu oba endala eba ekujje mu mbeera naye olw’okukozesa obwongo n’oteeka oba n’okkakkana.

Awo aba asunguwadde naye olw’okuba akozesa obwongo okufuga embeela ze ezitali za buntu (bad emotions) tatwalibwa kuba musunguwavu wa lulango( wa busungu).

Okuva mu mbeera ey’obuntu kikolwa kya mubiri(mutima) ;tekolera ku kugerekera(instinct) kwa kukozesa bwongo . Omutima / omubiri okuva mu mbeera (emotion) ssi kye kimu n’obwongo okuva mu mbeela. Obwongo bwe buva mu mbeera omuntu aba atabuse omutwe oba agudde eddalu.

Kyokka Omuntu okuva mu mbeera omubiri gwe guba gufunye ekigukyankalanyizza ng’okunyigilizibwa oba ng’olwobuzaale (genetic factors) oba olw’emyoyo egya’ekizikiza egili mu nsi muno agaanyibugaanyi okukozesa obwongo.

Omuntu avudde mu mbeela ayinza okusanyuka, okunyumirwa , okunyiiga, okusunguwala, okwekyawa, okukyawa, okwetya, okutya, okuboggola, okukambuwala, okufuna obujja, obukyayi, obunakuwavu n’enneeyisa endala ezitali za bulijjo ow’ensonga ez’enjawulo.

Omuntu ava mu mbeela okumaala ekiseela ekiwanvu aba akyali mu mbeera ey’okunyigirizibwa muntu munne alina emyoyo emibi oba alina omubili omungi okusinga omwoyo wa Katonda akozesebwa omubiri oba emyoyo emibi okumunyigiriza oba oluusi ye yenyini ayinza okubaako emyoyo egy’ekizikiza oba ng'afugibwa nnyo omubiri okusinga omwoyo wa Katonda.

Okuva mu mbeera kikolwa kigerekere (instinctive act) , omuntu kyafananya n’ensolo endala kyokka ye n’asobola okukozesa obwongo oba okwekwasa Katonda okudda mu mbeera y’obuntu. Kino bwe kirema aba yeetaaga kulokolebwa (deliverance). Okulokolebwa kuno ssi kuyingira buyingizi mu ddiini wabula omuntu alina okwekwasa Katonda oba n’ayambibwa abalala okumumanyisa Katonda n’omutima gwe gwonna era n’atandika okumusinza nga yeekutula ku maanyi ag’ekizikiza.

Omuntu afugibwa omutima / omubiri nga takozesa bwongo / mulengera oba kwekwasa Katonda ava nnyo mu mbeera era ye afugibwa mbeera ya mutima / mubiri gwe sso ssi bwongo oba ekigambo kya Mukama. Omutima / omubiri gwegomba gunyiiga, tegusonyiwa, gulina okutya, gulina obujja, obukyayi, n’olwekyo guva mu mbeera; okukozesa obongo / mulengera n’okwekwasa Katonda kye kigukakkanya so sikugenda ku ndagu oba balubaale nabyo ebyerembeseemu amanyi ag’akizikiza.