Jump to content

Ebikulukusi (Liquids)

Bisangiddwa ku Wikipedia
amazzi nga gakulukuta

Gakuweebwa Charles Muwanga !!! Ebikulukusi(Liquids)

Embeera y’ekintu ey’okubiri y'ekikulukusi. Enkalubo bye bintu ebikaluba by’osobola okukwata ate ggaasi ziba zitengejja.

Kakulukusi kye ki?

Amazzi kikulukusi, omusayi gwo nagwo kakulukusi. Ebikulukusi biri wakati wa enkalubo ne ggaasi(Omukka) era tebirina kuba nga bikolebwa ebipooli bye bimu. Bw’oba ne matiiriyo ez’enjawulo mu kakulukusi, kiyitibwa kimerenguso (solution).

Ekintu ekimu ku kakulukusi kwe kuba nga ebugaana enkula y’ekikompe. Bw’oyiwa amazzi mu sefuliya oba mu kikopo gasooka kujjuza ntobo ne galyooka gabugaana awalala. Amazzi gasookera mu ntobo olw’ensika y’Ensi.

Amazzi mazibu okukkatira (to compress). Okukkatira kitegeeza okuteeka ekintu mu kifo ekitono. N’enkalubo ze zisinga obuzibu okukkatira ate ggaasi nnyangu nnyo okukkatira. Kakulukusi ziri mu makkati naye nazo ziba nzibu okukkatira.

Bw’okkatira ekintu owaliriza atomu okwekuma awamu. Akanyigirizi bwe kalinnya, sebusitansi ziba zekkatira. Kakulukusi ziba ne atomu zazo nga ziriraaniganye, ekizifuula enzibu okukkatira. Sekabuzooba za motoka nnyingi zikkatira kakulukusi mu tyubu.

Okufumuuka kwa kakulukusi (Evaporation of Liquids) Olumu kakulukusi ziba mu kifo kimu kyokka molekyu zazo ne ziba nga zifuuka ggaasi. iKino kiyitibwa kufumuuka(evaporation)kwa kikulukusi .Kiyinza okubeerawo ng'ekikulukusi kinnyogovu oba nga kibuguma kyokka kisinga kuba mu byokya. Okufumuuka kw'ebikulukusi kiva ku masoboza mu buli molekyu.

Oyinza okwewuunya ki ekibeerawo nga tempulikya eri wansi. Ekituufu kiri nti buli kikulukusi kisobola okufumuuka ku tempulikya eya bulijjo (room temperature) n’akanyigirizi aka bulijjo (normal air pressure). Si molekyu zonna mu bikulukusi nti zirina amasoboza ge gamu.

Molekyu ezirina amasoboza amanji ze zisobola okufuna embavu (effort) okufuuka ggaasi. Bwe zituuka ku mutendera gw’amasoboza ogwo, ne zemulula ku kikulukusi nga zifumuuka (evaporate).

Molekyu zitambula nga ziva awali akanyigirizi akali wansi okudda eri akali waggulu. Molekyu zibugaana wonna kino ne kyenkanyankanya akanyigirizi. 

Akanyigirizi k’enfuumo (vapor pressure) mu kifo bwe kalinnya okufumuuka nga kuddirira.

Weetegereze:

Omulamwa "ekikulukusi"(Liquid) gwa njawulo ku gwa "ekikulukuto".Ekikulukuto kika kya ndwadde !!