Ebinnya bya Tanda


Ebinnya bya Tanda(oba tanda archaeological site) [1]okumpi ne'kibuga Mityana, Uganda, kibinja kya binnya ebisukka mu 240 ebyekulungirivu mu kibira. Kigambibwa nti byava ku Walumbe, eyetolerwako mu lufumo lwo'kutonda Kintu. Walumbe ye katonda ow'okufa, era bw'eyalirizibwa okudda mu ggulu, asamba ku ttaka, ng'aggulawo ebinnya okukwekamu.[2]

Ebinnya bino, okusinziira ku Christopher Wrigley "mu butuufu biba bya kyuma ebikadde naye nga birowoozebwa ng'emiryango egiyingira mu nsi y'okufa", [3] byafuuka mangu "ekifo eky'obulambuzi ekimanyiddwa ennyo" mu mwaka gwa 2018. "Tanda Archives" zisangibwa mu kizimbe eky'omulembe, nga kikozesa amasannyalaze g'enjuba era nga kirimu "kaabuyonjo ennyonjo ezikuumibwa nga z'abagenyi". Okusinziira ku omu kwabo abalambuza abalambuzi , ebifo bitono ddala ebikozesebwa bye bizimbiddwa, okusobola okwewala "okukosa obutonde bw'ensi n'obutukirivu bw'obuwangwa". Abakwasaganya abalambuzi boogera ennimi ez’enjawulo omuli Olungereza, Olufaransa, n’Oluswayiri. [4]
Ekifo
[kyusa | kolera mu edit source]Ekifo kino eky'ebyafaayo kiri ku ludda olw'obugwanjuba olw'oluguudo lwa Fort Portal nga kiromita nga 48 mu maserengeta ga Kampala 's Busega Roundabout ne kiromita 9 mu buvanjuba bwa Enro Hotel e Mityana. Kumpi kiromita 2 okuva ku nkulungo okutuuka ku mulyango oguyingira. [5]

Ebiwandiiko ebijuliziddwa
[kyusa | kolera mu edit source]- ↑ https://ugandaradionetwork.net/story/tanda-pits-balancing-cultural-preservation-and-tourism
- ↑ https://www.monitor.co.ug/artsculture/Reviews/Tanda-Pits--Holding-the-legend-of-death-in-Buganda/691232-2109686-nv1e3c/index.html
- ↑ (367–83).
{{cite journal}}: Cite journal requires|journal=(help); Missing or empty|title=(help) - ↑ https://ugandaradionetwork.net/story/tanda-pits-balancing-cultural-preservation-and-tourism
- ↑ https://en.wikipedia.org/wiki/Special:BookSources/9781784776428