Jump to content

Ebinyege

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

Ebinyege era ebimanyiddwa nga orunyegye, enyege, obunyegye, obuyebe, enzebazebe, ndege za byakinaansi ezisibibwa ku magulu nezivaamu amaloboozi nga bikozesebwa amawanga agawerako mu Uganda, naddala mu bitundu by'Abanyankole, Bakiga, n'Abagisu.[1]Byambalibwa wansi w'ebigere era ng'Ebinyege bivaamu amaloboozi agagoberera egoma n’okuyimba mu mikolo egy’enjawulo egy’obuwangwa n’ebikujjuko.[2]

Ebikozesebwa n’okuzimba

[kyusa | kolera mu edit source]

Ebinyege bitera okukolebwa okuva mu ndeku ezibeera zikaziddwa oba obukuta obutono obulimu ebituli nga bujjudde ensigo, obululu oba amayinja. Bino bisibirwa ku bbandi oba obuguwa abazinyi byebasiba ku bukongovule. [3] Omuwendo n’ensengeka y'endege zino nezivaamu amaloboozi byawukana okusinziira ku kitundu n’amazina ag’enjawulo ge bikozesebwa. Ababazi b'eby'emikono eby’ekinnansi bakola Ebinyege nga bakozesa ebintu ebiva mu kitundu.[4]

Amakulu mu by’obuwangwa

[kyusa | kolera mu edit source]

Ebinyege bikulu nnyo mu mazina g’ekinaansi agawerako mu Uganda. Mu Banyankole n'Abakiga, zisinga kukozesebwa mu mazina ga Ekitaguriro era eddoboozi ly'ebintu bino linyweza ennyiriri n’amaanyi g’amazina.[5] Ku bantu b'e Bugisu, Ebinyege birabikira nnyo mu mikolo gy’embalu (okukomolebwa), abavubuka abakola omukolo gw’okuyita okuva mu mazina ag’amaanyi nga bawerekerezaako endege zino.[6] Era zikozesebwa mu mazina g'Orunyege-Ntogoro - amazina ag'ekinnansi okuva ew'Omukama wa Bunyoro ne Tooro mu bugwajuba bwa Uganda . Orunyege lusibuka okuva mu disitulikiti y’e Hoima ne Fort Portal, ate Ntogoro lusibuka okuva mu disitulikiti y’e Masindi. Amazina gano gazinibwa abavubuka n’abakazi abato abanoonya okusikiriza n’okusanyusa abaalwa mu bufumbo.[7] Okuwuuma kuno kuba kulaga amaanyi n'okubeera ne sipiidi n’obuvumu nga ebijaguzibwa ku mukolo.[8]

Enkozesa n’engeri gy'ebikolamu

[kyusa | kolera mu edit source]

Nga bazina, abazinyi, baambala Ebinyege ku magulu gombi, okukakasa nti buli mutendera n’entambula biyamba ku mudigido n'engeri gy'ebikolamu. Eddoboozi ly'endege likwatagana bulungi n’ebivuga by’engooma n’ennyimba ez’ekinnansi.[9] Mu bivulu by’ekibinja, abazinyi bakwataganya entambula zaabwe, ne bakola omuziki ogw’obumu era ogusikiriza.[10]

Enkwatagana obw’omulembe

[kyusa | kolera mu edit source]

Zikozesebwa mu bikujjuko by’eggwanga, ebikujuko by'obuwangwa, n’emikolo gy’eby'obulambuzi, nga zikuuma amazina g’ennono eri emirembe egijja.[11][12][13]Bannayuganda abamu nga bayimbi batadde Ebinyege mu muziki ow'omulembe ow'ensangi gino gwebabeera bakuba, ne bakwataganye amaloboozi g'ekinaansi n'ebivuga eby'omulembe.[14]

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. "Enjebajebe and Akajebajebe". music.africamuseum.be. Retrieved 2025-02-22.
  2. "Traditional Instruments of the Uganda people - text in English". www.face-music.ch. Retrieved 2025-02-23.
  3. https://link.springer.com/chapter/10.1057/978-1-137-55585-4_18
  4. https://nexusmedia.ug/understanding-ankoles-beautiful-culture-dance-meaning/
  5. "Ekitaguriro", Wikipedia (in Lungereza), 2024-08-06, retrieved 2025-02-23
  6. "Imbalu", Wikipedia (in Lungereza), 2025-02-15, retrieved 2025-02-23
  7. Mabingo, Alfdaniels (2017), Barton, Georgina; Baguley, Margaret (eds.), "Pedagogies of Adaptation: Teachers' Reflections on Teaching Traditional Ugandan Dances in Urban Schools in Kampala, Uganda", The Palgrave Handbook of Global Arts Education (in Lungereza), London: Palgrave Macmillan UK, pp. 285–304, doi:10.1057/978-1-137-55585-4_18, ISBN 978-1-137-55585-4, retrieved 2025-02-23
  8. "Runyege, Tooro's energetic dance". Monitor (in Lungereza). 2021-01-04. Retrieved 2025-02-23.
  9. https://link.springer.com/chapter/10.1057/978-1-137-55585-4_18
  10. https://nexusmedia.ug/understanding-ankoles-beautiful-culture-dance-meaning/
  11. Myuganda (2024-09-16). "Cultural festivals in Uganda | My Uganda" (in American English). Retrieved 2025-02-23.
  12. "Kitara Cultural Tours, Cultural Village and Cultural Festivals". Kitara Foundation for Regional Tourism: Transforming Communities through Travel Partnerships (in Lungereza). 2024-03-17. Retrieved 2025-02-23.
  13. "Events in Uganda: festivals & popular events - Exoticca". www.exoticca.com/us (in American English). Retrieved 2025-02-23.
  14. Myuganda (2024-09-16). "Cultural festivals in Uganda | My Uganda" (in American English). Retrieved 2025-02-23.