Ebipimiso (Measuring instruments)

Bisangiddwa ku Wikipedia

Muwanga agamba nti ekipimiso kitegeeza "ekintu ekipima"(that which takes measures). Ebipimiso (measuring instruments) birimu:

(i) Ekipimampeto (Protractor). Kino kipima mpeto (angles)

(ii) Ekipimankuba (Rain gauge)

(iii)Ekipimakanyigirizi(manometer). Kino kipima kanyigirizi (pressure)

(iv) Ekipimabwoki(Thermometer)

(v) Obufumbekevu (Acidity). "Ekipimiso ky'Obufumbekevu" (PH Scale)

"Ekipimiso ky'Obufumbekevu" oba "ekipimiso ky'ekifumbekero"(PH Scale) kiba kipimo kya ayidologyeni afumbekedde mu kikulukusi(hydrogen concentration in a liquid). Kino kipima bufumbekevu(acidity) oba ekijjulungo(base) mu kikulukusi(liquid).

Jjukira nti Omugeye Muwanga Charles akusosootoledde omulamwa gwa "ekifumbekero"(acid).Weetegereze:

(i) Ekifumbekerayidologyeni(hydrogen concentration) (ii) Ekifumbekero (Acid).

Okiraba nti bwe tusalira omulamwa gwa "ekifumbekerayidologyeni"(hydrogen concentration) tufuna "ekifumbekero:(acid). Mu butuufu singa ekikulukusi(liquid) kiba kifumbekeddemu(having a concentration of) obuzitoya bwa ayidologyeni(hydrogen molecules), kino kiba "kifumbekero"(acid).Kuno kugaziya makulu(semantic extension).

Ekitali kifumbekero kiba "kijjulungo"(base). Kino kiva mu kusalira kigambo "ekijjulungayidologyeni"(hydrogen dilution).


Weetegereze:

(a) Obwoki =Temperature

(b) Tempulikya (Temperature)